bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
1 Samuel 10
1 Samuel 10
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 9
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 11 →
1
Samweli n'addira ensale y'omuzigo, n'agumuyiwa ku mutwe, n'amunywegera nga bw'agamba nti: “Omukama akusiize omuzigo obeere omukulembeze w'obusika bwe Yisirayeli. Ggwe onoofuga abantu b'Omukama, obawonye mu mikono gy'abalabe baabwe ababeetoolodde. Kuno kw'onootegeerera nga Katonda akusiize obeere omulangira ku busika bwe.
2
Bw'onoova we ndi olwa leero, ojja kusanga abasajja babiri okumpi n'ekiggya kya Rakeli e Zeluza ku nsalo ne Benyamiini. Bajja kukugamba nti: ‘Endogoyi ze wagenda okunoonya, zaazuuse; naye kitaawo alekedde awo okulowooza ku ndogoyi, wabula yeeraliikirira mmwe; abuuza nti: “Nkole ki olw'omwana wange?” ’
3
Bw'onoovaawo ne weyongerayo, bw'onootuuka ku muvule Tabori, abasajja basatu bajja kukusisinkana awo nga bambuka eri Omukama mu Beteli; omu ajja kubeera ng'atwala obubuzi busatu, omulala emigaati esatu egy'oluwewere, ate owookusatu ng'atwala endyanga y'evviini.
4
Bajja kukulamusa, bakuwe emigaati ebiri; gikkirize ogibaggyeko.
5
Ebyo nga biwedde, ojja kutuuka e Gibewa ekya Katonda, awali enkambi y'Abafilisitiini; bw'onooba oyingira mu kibuga, ojja kusisinkana abalanzi nga bakumba baserengeta nga bava mu kifo ekigulumivu, nga bakuba entongooli, obugoma, ennanga n'okufuuwa endere, era nga bwe balanga.
6
Omwoyo gw'Omukama gujja kukujjako n'amaanyi, naawe olange wamu nabo; ojja kufuuka muntu mulala.
7
Obubonero buno bwe bunaatuukirira, kola kyonna ky'olaba ekyetaagibwa, kubanga Omukama ali naawe.
8
Nkulemberaamu oserengete e Gilugali. Nange nzija kuserengeta nkusange, mpeereze ebitone eby'ebitambiro ebyokye n'eby'okussa ekimu. Kyokka ojja kulindako ennaku musanvu, okutuusa lwe najja gy'oli nkulage ky'onookola.”
9
Sawulo bwe yakyuka agende, ave awali Samweli, omutima gwe Katonda n'agufuula mulala. Obubonero bwonna bwatuukirira ku olwo.
10
Bwe batuuka e Gibewa, abalanzi abakumba ne bamusisinkana; omwoyo gwa Katonda ne gumujjako, n'abeegattako mu kulanga.
11
Abaali bamumanyi mu kusooka bwe baamulaba ng'ali n'abalanzi ate ng'alanga, ne bagambagana nti: “Kiki ekigudde ku mutabani wa Kisi? Ne Sawulo ye omu ku balanzi?”
12
Omusajja ow'omu kifo ekyo n'ayanukula nti: “Ate kitaabwe ye ani?” Okuva olwo yafuuka njogera nti: “Ne Sawulo ye omu ku balanzi?”
13
Bwe yalekera awo okulanga, n'ayambuka ku kifo ekigulumivu e Gibewa.
14
Kitaawe wa Sawulo omuto n'abuuza Sawulo n'omuweereza we nti: “Mwagenze wa?” Ne bamwanukula nti: “Kunoonya ndogoyi; bwe tutaazisanze, ne tugenda ewa Samweli.”
15
Kitaawe omuto n'amugamba nti: “Ntegeeza Samweli kye yakugambye.”
16
Sawulo n'agamba kitaawe omuto nti: “Yatukakasizza nti endogoyi zaazuuse.” Eby'obwakabaka, Samweli bye yali amugambye, teyabibuulira kitaawe omuto.
17
Samweli n'akuŋŋaanyiza abantu ba Yisirayeli eri Omukama e Mizupa,
18
n'agamba Abayisirayeli nti: “Kino ky'agamba Omukama Katonda wa Yisirayeli nti: ‘Naggya Yisirayeli mu Misiri, ne mbawonya mu mikono gy'Abamisiri, ne mu mikono gya bakabaka bonna abaababonyaabonyanga.
19
Naye kati mwemansudde Katonda wammwe oyo eyabanunula mu bubenje bwonna ne mu nnaku zammwe, ne mugamba nti: “Tewali! Ffe tuteerewo kabaka.” Kale nno muyimirire mu maaso g'Omukama, nga mugoberera ebika byammwe n'amasiga gammwe.’ ”
20
Samweli bwe yakuŋŋaanya ebika bya Yisirayeli byonna, ekika kya Benyamiini ne kirondebwamu.
21
Ekika kya Benyamiini bwe yakissa kyokka mu masiga gaabwe, essiga lya Bamaturi ne lirondebwamu; namwo ne mulondebwamu Sawulo mutabani wa Kisi. Ne bamumagamaga, n'abula.
22
Ne beebuuza ku Mukama nti: “Omusajja yazze wano?” Omukama n'abaanukula nti: “Wuuli yeekwese mu migugu.”
23
Ne badduka ne bamuggyayo. Bwe yayimirira mu bantu wakati, ng'asooloobye ku bantu bonna okuva ku kibegabega okudda waggulu.
24
Samweli n'agamba abantu bonna nti: “Mumulabye omusajja Omukama gw'alonze? Mu bantu bonna tewali amufaanana.” Abantu bonna ne baleekaana nti: “Kabaka awangaale!”
25
Samweli n'annyonnyola abantu etteeka ly'obwakabaka, n'aliwandiika mu kitabo n'akissa mu maaso g'Omukama; n'asiibula abantu bonna, buli omu n'adda ewuwe.
26
Ne Sawulo n'agenda ewaabwe mu Gibewa; yawerekerwako abasajja abatabaazi Katonda be yali akutteko ku mitima.
27
Naye abasajja endalagge ne bamugaya nga bagamba nti: “Oyo anaasobola okutununula?” Ne bamunyooma era tebaamuleetera na birabo, naye Sawulo teyanyega kantu.
← Chapter 9
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 11 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31