bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
1 Samuel 27
1 Samuel 27
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 26
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 28 →
1
Dawudi n'alowooza mu mutima gwe nti: “Mu nnaku zino nnyinza okusaanyizibwawo Sawulo. Ekisingako kati kwe kuddukira mu nsi y'Abafilisitiini, olwo Sawulo eby'okunnoonya mu Yisirayeli mwonna alibivaako, nange olwo ndiba nsumattuse mu mikono gye.”
2
Dawudi n'asituka, ye n'abasajja be olukaaga abaali naye, n'agenda eri Akisi mutabani wa Nawoki, kabaka w'e Gati.
3
Dawudi ne basajja be ne babeera e Gati ne Akisi. Basajja be buli omu yali n'ab'omu maka ge, ne Dawudi yennyini yali ne bakazi be ababiri, Akinowamu ow'e Yezureeli ne Abigayili, eyali mukazi wa Nabali ow'e Karumeli.
4
Sawulo bwe baamubuulira nti Dawudi addukidde mu Gati, teyayongera kumunoonya.
5
Dawudi n'agamba Akisi nti: “Obanga nsanze ekisa mu maaso go, nfuniraayo akafo mu kimu ku bibuga byo mu nsi eno gye mba mbeera. Lwaki omuweereza wo abeera naawe mu kibuga kya kabaka?”
6
Akisi ku olwo kwe kumuwa Zikulagi; Zikulagi okuva olwo kyafuuka ekibuga kya bakabaka ba Yuda n'okutuusa ku lunaku lwa leero.
7
Dawudi yamala mu nsi y'Abafilisitiini omwaka mulamba n'emyezi ena.
8
Dawudi n'agendanga ne basajja be ne banyaganga Abagessuri, Abagiruzi n'Abaamaleki. Amawanga ago ge gaaberanga mu nsi eyatuukanga e Suru ne ku Misiri.
9
Dawudi bwe yazindanga ekitundu, nga talekaamu musajja oba mukazi mulamu, kyokka yatwalanga endiga, ente, endogoyi eŋŋamiya, n'ebyambalo. N'akomangawo ewa Akisi.
10
Akisi bwe yamubuuzanga nti: “Mwalumbye wa olwa leero?” Dawudi yaddangamu nti mu Negevu owa Yuda, oba Negevu ow'omu Bayerakumeeli, oba Negevu ow'Abakeni.
11
Teyatalizanga musajja na mukazi, era teyabaleetanga Gati, ng'agamba nti: “Sikulwa nga batuloopa ne bagamba nti: ‘Dawudi akola bino na bino.’ ” Era eyo ye yali enkola ye ennaku zonna ze yamala mu kitundu ky'Abafilisitiini.
12
Akisi n'akkiriza Dawudi ng'agamba nti: “Yeekyayisizza eri abantu be mu Yisirayeli, kati wa kubeera muweereza wange ebbanga lyonna.”
← Chapter 26
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 28 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31