bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
1 Samuel 28
1 Samuel 28
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 27
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 29 →
1
Mu nnaku ezo Abafilisitiini ne bakuŋŋaanya amagye okulwanyisa Yisirayeli. Akisi n'agamba Dawudi nti: “Manya nti ggwe ne basajja bo mujja kugenda nange okulwana.”
2
Ne Dawudi n'agamba nti: “Naawe ojja kumanya omuweereza wo ky'asobola okukola.” Akisi n'amugamba nti: “Ggwe ojja kubeera mukuumi wange ennaku zonna.”
3
Samweli yali amaze okufa; Yisirayeli yenna yamukungubagira, ne bamuziika mu kibuga kye e Rama. Sawulo yali mu nsi agobyemu abalaguzi n'emmandwa.
4
Abafilisitiini ne bakuŋŋaana, ne basiisira e Sunemu. Ne Sawulo n'akuŋŋaanya Yisirayeli yenna, ne basiisira e Gilubowa.
5
Sawulo bwe yalaba ensiisira z'Abafilisitiini, n'atya, n'atengera.
6
Ne yeebuuza ku Mukama, naye Omukama n'atamwanukula, si mu birooto, si na Wurimu, si mu balanzi.
7
Sawulo n'agamba abaweereza be nti: “Munnoonyeze omukazi omulaguzi, ŋŋende mmwebuzeeko.” Abaweereza be ne bamugamba nti: “Mu Endori waliyo omukazi omulaguzi.”
8
Awo Sawulo ne yeefuusa, n'ayambala ebyambalo ebirala, n'agenda n'abasajja babiri ne batuuka ew'omukazi ekiro. N'agamba omukazi nti: “Ndagula ew'omuzimu, ompitireyo gwe nnaakugamba.”
9
Omukazi n'amugamba nti: “Naawe omanyi Sawulo kye yakola, nga bwe yagoba mu nsi abalaguzi bonna n'emmandwa. Lwaki obulamu bwange obussa mu katego okunzita?”
10
Sawulo n'amulayirira mu Mukama nti: “ Mazima Omukama nga mulamu, tojja kubonerezebwa olwa kino.”
11
Omukazi n'amugamba nti: “Nkuyitireyo ani?” Sawulo n'amugamba nti: “Mpitiraayo Samweli.”
12
Omukazi bwe yalaba Samweli, n'aleekaana mu ddoboozi eddene, n'agamba Sawulo nti: “Lwaki wannimbye? Ggwe Sawulo!”
13
Kabaka n'amugamba nti: “Totya! Olabye ki?” Omukazi n'agamba Sawulo nti: “Ndabye omuzimu nga guva mu ttaka nga gwambuka.”
14
N'amubuuza nti: “Afaanana atya?” N'amuddamu nti: “Musajja mukadde; ayambadde omunagiro.” Sawulo n'ategeera nti ye Samweli, n'akutama wansi ku maaso ge ku ttaka, n'avunnama.
15
Samweli n'agamba Sawulo nti: “Lwaki ontawaanyizza n'onzigyayo?” Sawulo n'agamba nti: “Nsobeddwa nnyo. Abafilisitiini bannwanyisa, ate Katonda yanvaako, takyanziramu, si mu mulanzi, si mu birooto; kyenvudde nkuyita ondage kyemba nkola.”
16
Samweli n'amuddamu nti: “Lwaki weebuuza ku nze ate ng'Omukama yakuvaako dda n'afuuka mulabe wo?
17
Omukama akoze nga bwe yagamba ng'ayita mu nze. Omukama ayuzizza obwakabaka mu mikono gyo, n'abuwa munno, Dawudi.
18
Kubanga tewawulira ddoboozi lya Mukama, n'otoleka busungu bwe kweserera ku Amaleki, Omukama kyavudde akukola ekiringa ekyo olwa leero.
19
Omukama anaakuwaayo ne Yisirayeli mu mikono gy'Abafilisitiini. Era ggwe ne batabani bo mujja kubeera nange olunaku lw'enkya. Omukama ajja kuwaayo eggye lya Yisirayeli mu mikono gy'Abafilisitiini.”
20
Amangu ago Sawulo n'agwa bulambalamba ku ttaka; ebigambo bya Samweli nga bimukanze nnyo; yali talinaamu twanyi, kubanga olunaku lwonna n'ekiro kyonna yali talidde mmere.
21
Omukazi n'asembera eri Sawulo n'alaba ng'atidde nnyo; n'amugamba nti: “Omuzaana wo yakuwulirizza; nawaddeyo obulamu bwange ne nkola nga bwe waŋŋambye, ne ŋŋondera ebigambo byo.
22
Kale nno naawe wuliriza omuzaana wo nkuweeyo ku kagaati olyeko, oddemu endasi, ogende.”
23
N'agaana, n'agamba nti: “Sijja kulya.” Abaweereza be n'omukazi ne bamusindirira, kyaddaaki n'abawuliriza. Yasituka, n'ava ku ttaka n'atuula ku buliri.
24
Omukazi oli yali alina akayana akasavuwaze, n'ayanguwako n'akatta; n'addira obuwunga n'abugoya, n'afumba emigaati egitazimbulukuse.
25
Yabissa mu maaso ga Sawulo n'ag'abaweereza be, ne balya. Ekiro ekyo ne basitula, ne bagenda.
← Chapter 27
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 29 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31