bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
1 Samuel 20
1 Samuel 20
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 19
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 21 →
1
Dawudi n'adduka e Nayoti ekiri mu Rama, n'ajja eri Yonatani n'amugamba nti: “Kiki kye nakola? Nazza musango ki? Kibi ki kye nakola kitaawo alyoke annoonye okunzita?”
2
N'amugamba nti: “Kikafuuwe! Tojja kufa; kitange takola kintu kibeere kinene oba kitono kitya nga tamaze kummanyisaako? Lwaki kino yandikinkisizza? Si bwe kiri.”
3
Dawudi n'alayira nti: “Kitaawo amanyidde ddala nti ndi muganzi mu maaso go; kyava agamba nti: ‘Kino Yonatani taakimanyeeko, aleme kunakuwala.’ Mazima Omukama nga mulamu, naawe ggwe ng'oli mulamu, okufa sikuli wala.”
4
Yonatani n'agamba Dawudi nti: “Buli ky'oyagala nzija kukikukolera.”
5
Dawudi n'agamba Yonatani nti: “Laba, enkya y'embaga y'Okuboneka kw'Omwezi. Ku olwo ntera okutuula ne kabaka ku lujjuliro; leka neekweke ku ttale okutuusa akawungeezi k'oluddirira.
6
Kitaawo bw'aba anneebuuza, omunnyonnyola nti: ‘Dawudi yansabye agende bunnambiro e Beteleemu mu kibuga kye, kubanga ab'ekika kye bonna balinayo ekitambiro ekya buli mwaka.’
7
Bw'anaagamba nti: ‘Kirungi,’ olwo omuweereza wo ali mirembe; naye bw'anaasunguwala, olwo onoomanya nti amaliridde okunkola akabi.
8
Ggwe nno omuweereza wo mugirire ekisa, kubanga wamukozesa endagaano naawe mu maaso g'Omukama; oba nninawo ekitatuuse, ggwe nzita. Lwaki wandimpaddeyo ewa kitaawo?”
9
Yonatani n'agamba nti: “Kikafuuwe ekyo okukutuukirira! Singa mba ntegedde akabi kitange k'ateesezza okukukola, nnyinza obutakubuulira?”
10
Dawudi n'ayanukula Yonatani nti: “Ani anambuulira nga kitaawo akuzzeemu na bukambwe?”
11
Yonatani n'agamba Dawudi nti: “Jjangu, tugendeko ku ttale.” Ne bagenda bombi ku ttale.
12
Yonatani n'agamba Dawudi nti: “Ku lw'Omukama Katonda wa Yisirayeli, nzija kwekkaanya kitange mbeere nga njize ky'asazeewo we bunaatuukira mu budde nga buno enkya. Bwe wanaabaawo ekirungi ku Dawudi nzija kukutumira mangu nkumanyise.
13
Naye kitange bw'anaaba akyayagala okukukola akabi, Omukama ankole bw'atyo, ate asinze nawo, singa sikumanyisa ne nkuyamba ogende mu ddembe. Omukama abeere naawe nga bw'abadde ne kitange.
14
Bwe ndiba nkyali mulamu, ongiriranga ekisa ky'Omukama nneme kufa.
15
Ennyumba ya kitange tolemanga kugigirira kisa emirembe gyonna, Omukama ne bw'aliba amazeewo abalabe ba Dawudi bonna ku nsi.”
16
Awo Yonatani n'akola endagaano n'ennyumba ya Dawudi ng'agamba nti: “Omukama abalabe ba Dawudi agubasalire gubasinge.”
17
Awo Yonatani n'addamu okulayiza Dawudi olw'omukwano gwe yamulinako, kubanga yali amwagala nga ye yennyini bwe yeeyagala.
18
Yonatani n'agamba Dawudi nti: “Enkya y'embaga y'Okuboneka kw'Omwezi; bajja kukwebuuza, ekifo kyo bwe kinaaba ekikalu.
19
Okwosa enkya, akawungeezi, oyanguwangako n'oserengeta mu kifo we weekweka luli, kiri lwe kyagwawo; olindiranga kumpi n'ejjinja Ezeli.
20
Ndirasa obusaale busatu okumpi nalyo ng'aliko ky'ateeba.
21
Ndituma omulenzi ne mmugamba nti: ‘Genda ozuule obusaale.’ Bwe ndigamba omulenzi nti: ‘Obusaale buli ludda eno mu mbiriizi zo, buleete,’ ng'ovaayo; Mazima Omukama nga mulamu, kiriba mulaala, tewaliba kabi.
22
Naye omulenzi bwe ndimugamba nti: ‘Obusaale buli eri mu maaso go,’ olwo ogendanga bugenzi, kubanga Omukama aliba akusiibudde.
23
Omukama y'aba abeera omujulirwa emirembe gyonna wakati wange naawe ow'ebigambo bye twogedde.”
24
Dawudi ne yeekweka ku ttale; embaga y'Okuboneka kw'Omwezi bwe yatuuka, kabaka n'atuula ku mmeeza okulya.
25
Yatuula ku ntebe ye nga bw'amanyidde, kumpi n'ekisenge; Yonatani n'amutuula wa mberi, ate Abuneri n'amutuula mu mbiriizi; naye ekifo kya Dawudi nga kikalu.
26
Ku olwo Sawulo tewali kye yayogera; yali alowooza nti: “Oboolyawo waliwo ekimuleetedde obutaba mulongoofu, mazima si mulongoofu.”
27
Ku lunaku olwaddirira, lwe lunaku olwokubiri olw'omwezi, era ekifo kya Dawudi kyali kikalu. Sawulo kwe kubuuza Yonatani mutabani we nti: “Lwaki mutabani wa Yesse jjo teyajja kulya, n'olwa leero tazze?”
28
Yonatani n'ayanukula Sawulo nti: “Dawudi yanneegayiridde, mmuleke agende e Beteleemu.
29
Yaŋŋambye nti: ‘Ka ŋŋende, kubanga ab'ennyumba yaffe bajja kuweereza ekitambiro mu kibuga, ne muganda wange yennyini yandagidde mbeeyo; kale nno bw'emba nga nsanze ekisa mu maaso go, ka ŋŋende mangu ndabe ku baganda bange.’ Kwe kulaba nga taliiwo ku kijjulo kya kabaka.”
30
Obusungu bwa Sawulo ne bweserera ku Yonatani, n'amugamba nti: “Ggwe omwana w'omukazi omugwagwa, omujeemu! Olowooza nti simanyi ng'osemba mutabani wa Yesse, ekintu ekikuswaza ne kiswaza n'enda ya nnyoko?
31
Ennaku zonna nga mutabani wa Yesse akyali ku nsi, togenda kukkalira, wadde obwakabaka bwo okutebenkera; awo nno mutumye mangu, omundeetere, kubanga agwanidde kufa.”
32
Yonatani n'ayanukula Sawulo kitaawe nti: “Lwaki wa kufa? Kiki ky'akoze?”
33
Sawulo n'amukasukira effumu amufumite; awo Yonatani n'ategeera nti kitaawe amaliridde okutta Dawudi.
34
Yonatani n'asituka ku mmeeza nga n'obusungu bumwesera. Ku lunaku olwaddirira olw'omwezi teyalya mmere; yali munakuwavu nnyo olwa Dawudi, n'olw'okubeera nga kitaawe yali amuswazizza.
35
Enkeera Yonatani n'agenda ku ttale okusisinkana Dawudi; yagenda n'akalenzi akato.
36
N'agamba akalenzi nti: “Dduka ondeetere obusaale bwe ndasa.” Akalenzi bwe kadduka, n'alasa akasaale ne kakasukka.
37
Akalenzi bwe kaatuuka akasaale Yonatani we yali akalasizza, Yonatani n'akalaamiriza nti: “Akasaale tekali eri mu maaso go?”
38
Yonatani n'ayongera okulaamiriza akalenzi nti: “Yanguwa, dduka, toyimirira.” Akalenzi ne kalondawo obusaale bwa Yonatani ne kadda eri mukama waako.
39
Akalenzi tekaategeera kyagendererwa; Yonatani ne Dawudi bokka be baali bakimanyi.
40
Yonatani n'awa akalenzi ebyokulwanyisa bye, n'akagamba nti: “Genda, bizzeeyo mu kibuga.”
41
Akalenzi bwe kaamala okugenda, Dawudi n'avaayo mu maserengeta g'ejjinja, n'agwa wansi ku maaso ge ku ttaka, n'avunnamira Yonatani emirundi esatu; ne banywegeragana, bombi ne bakaaba, naye Dawudi ye yasinga okukaaba.
42
Yonatani n'agamba Dawudi nti: “Genda mu ddembe; anti ffenna twalayira mu linnya ly'Omukama okuba ab'omukwano, ne tugamba nti: ‘Omukama ye mujulirwa wakati wange naawe, wakati w'ezzadde lyange n'ezzadde lyo emirembe gyonna.’ ”
← Chapter 19
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 21 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31