bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
1 Samuel 16
1 Samuel 16
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 15
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 17 →
1
Omukama n'agamba Samweli nti: “Onootuusa wa okukaabira Sawulo, ate nga nze mmubodde ku bwakabaka bwa Yisirayeli? Jjuza ejjembe lyo omuzigo, ogende, nkusindise ewa Yesse ow'e Beteleemu; omu ku batabani be mmwerondedde abeere kabaka.”
2
Naye Samweli n'agamba nti: “Nnaagenda ntya? Sawulo ajja kuwulira anzite.” Omukama n'agamba nti: “Kwata ennyana y'ente ogende nayo; ojja kugamba nti: ‘Nzize kutambirira Mukama.’
3
Ojja kuyita Yesse awali ekitambiro; nze nzija kukulaga ky'onookola. Ojja kunsiigira omuzigo yenna gwe nnaaba nkulaze.”
4
Samweli n'akola ng'Omukama bwe yamugamba; yagenda e Beteleemu. Abakadde mu kibuga ne beekanga; bwe baamusisinkana ne bamubuuza nti: “Ozze lwa mirembe?”
5
N'agamba nti: “Lwa mirembe; nzize kutambirira Mukama. Mwetukuze, mujje nange tutambire.” N'atukuza Yesse ne batabani be, n'abayita ku kitambiro.
6
Bwe bajja, n'alaba Eliyabu, n'alowooza nti: “Tewali kubuusabuusa, omusiige w'Omukama ali mu maaso g'Omukama.”
7
Naye Omukama n'agamba Samweli nti: “Totunuulira ndabika ye, wadde obuwanvu bwe, kubanga si gwe nnonze, kubanga siraba ng'omuntu bw'alaba. Omuntu alaba ebyo eby'okungulu, naye Omukama atunuulira mutima.”
8
Yesse n'ayita Abinadabu, n'amuyisa mu maaso ga Samweli. Samweli n'agamba nti: “N'ono Omukama tamulonze.”
9
Yesse n'ayisaawo Samma. Samweli n'agamba nti: “N'ono Omukama tamulonze.”
10
Yesse n'ayisaawo batabani be omusanvu mu maaso ga Samweli, Samweli n'agamba Yesse nti: “Omukama talonze mu bano.”
11
Samweli n'abuuza Yesse nti: “Bano be batabani bo bokka?” N'ayanukula nti: “Wakyasigaddeyo omuggalanda; alunda ndiga.” Samweli n'agamba Yesse nti: “Mutumye; tetujja kutuula ku lujjuliro ng'oyo tannatuuka wano.”
12
N'amutumya, n'amuleeta. Yali mumyufu, wa maaso malungi, ng'asanyusa okulaba. Omukama n'agamba nti: “Situka, omusiige; ye oyo.”
13
Samweli n'addira ejjembe ly'omuzigo n'amusiiga mu maaso ga baganda be. Okuva ku olwo omwoyo gw'Omukama ne gujja ku Dawudi. Samweli n'asituka n'agenda mu Rama.
14
Omwoyo gw'Omukama ne guva ku Sawulo, omwoyo omubi okuva ew'Omukama ne gumubonyaabonya.
15
Abaweereza ba Sawulo ne bamugamba nti: “Wuuno omwoyo omubi ogwa Katonda gukubonyaabonya.
16
Mukama waffe alagire, abaweereza bo abali mu maaso go banoonye omuntu amanyi okusuna ennanga. Omwoyo omubi ogwa Katonda bwe gunaakubangako, ng'asuna, olwo ng'obeera bulungiko.”
17
Sawulo n'agamba abaweereza be nti: “Munnoonyeze amanyi okusuna obulungi ennanga, mumundeetere.”
18
Omu ku baweereza n'agamba nti: “Nalaba mutabani wa Yesse Omubeteleemu; amanyi okusuna ennanga. Ate muzira, musajja mutabaazi, ayogeza magezi, musajja afaanana bulungi, n'Omukama ali naye.”
19
Sawulo n'atuma ababaka ewa Yesse, n'agamba nti: “Nsindikira Dawudi, mutabani wo alunda endiga.”
20
Yesse n'addira endogoyi eyeetisse emigaati n'endyanga y'evviini, n'akabuzi, n'abikwasa mutabani we Dawudi ng'abiweerezza Sawulo.
21
Dawudi n'ajja eri Sawulo, n'ayimirira mu maaso ge; Sawulo n'ayagala nnyo Dawudi, n'afuuka mwetissi wa byakulwanyisa bye.
22
Sawulo n'atumira Yesse n'agamba nti: “Dawudi k'ampeerezenga, kubanga mmusiimye.”
23
Buli mwoyo gwa Katonda lwe gwabanga ku Sawulo, Dawudi ng'akwata ennanga ng'asuna, olwo Sawulo ng'akkakkana, omwoyo omubi nga gumuvaako.
← Chapter 15
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 17 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31