bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
1 Samuel 14
1 Samuel 14
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 13
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 15 →
1
Olumu Yonatani, mutabani wa Sawulo yagamba omwetissi w'ebyokulwanyisa bye nti: “Jjangu tulage eri enkambi y'Abafilisitiini eri emitala.” Ekyo teyasooka kukimanyisaako kitaawe.
2
Sawulo yali abeera ku njegooyego za Gibewa, wansi w'omuti omukomamawanga ogwali e Miguroni; abantu abaali naye nga bawera abasajja nga lukaaga,
3
ne Akiya, mutabani wa Akitubu, muganda wa Yikabodi, mutabani wa Finekasi eyasibuka mu Eli. Ye yali kabona w'Omukama mu Silo, nga y'ayambala efodi. Abantu baali tebamanyi nti Yonatani yali agenze.
4
Ku mukutu Yonatani we yayagala okuyita atuuke ku nkambi y'Abafilisitiini waaliwo ebbanga ery'olwazi ku buli luuyi; erinnya ly'ebbanga erimu ery'olwazi nga ye Bozezi, n'ery'eddala nga ye Sene.
5
Ebbanga erimu nga lyesimbye emambuka nga litunuulidde Mikumasi, eddala maserengeta nga litunuulidde Geba.
6
Yonatani n'agamba omwetissi w'ebyokulwanyisa bye nti: “Jjangu, tulage eri enkambi y'abatali batayirire, osanga Omukama abaako ky'atukolera; kubanga Omukama tewali kisobola kumuziyiza kununula, abeere n'abangi oba n'abatono.”
7
Omwetissi w'ebyokulwanyisa bye n'agamba nti: “Kola kyonna omwoyo gwo kye gwagala. Genda mu maaso, nange ndi naawe nga bw'oyagala.”
8
Yonatani n'agamba nti: “Ka tugende eri abasajja bano tubeerage.
9
Bwe batugamba nti: ‘Musigale awo tubasange awo,’ tujja kusigala awo we tuli, tetujja kwambuka gye bali.
10
Naye bwe banaatugamba nti: ‘Mwambuke gye tuli,’ nga twambuka, kubanga ekyo kinaategeeza nti Omukama abawaddeyo mu mikono gyaffe.”
11
Awo bombi ne beeraga enkambi y'Abafilisitiini. Abafilisitiini ne bagamba nti: “Mulabe Abeebureeyi baabo bakukunukayo mu bunnya mwe babadde beekukumye.”
12
Abasajja b'omu nkambi ne bagamba Yonatani n'omwetissi w'ebyokulwanyisa bye nti: “Mwambuke gye tuli tubalage enkola.” Yonatani n'agamba omwetissi w'ebyokulwanyisa bye nti: “Ngoberera, twambuke, kubanga Omukama abawaddeyo mu mikono gya Yisirayeli.”
13
Yonatani n'alinnyira ku magulu n'emikono nga n'omwetissi w'ebyokulwanyisa bye amuvaako emabega; Abafilisitiini ne bagwa, ng'eno omwetissi w'ebyokulwanyisa bye amuvaako ennyuma ajja atta.
14
Mu lulumba olwo olwasooka Yonatani n'omwetissi w'ebyokulwanyisa bye batta abasajja amakumi abiri mu kibangirizi nga kya kitundu kya lubimbi lwa nte.
15
Entiisa n'egwa mu nsiisira wonna, mu baali mu lusiisira, mu baali ku ttale, mu baali mu nkambi ne mu baali ku gw'okwaya; ensi n'ekankana. Katonda ye yakuba entiisa eyo.
16
Endabirizi za Sawulo abaali e Gibewa ekya Benyamiini ne balengera ng'eggye liggweekerera, libuna emiwabo.
17
Sawulo n'agamba abantu abaali naye nti: “Mukuŋŋaanye abantu tulabe eyagenze okuva mu ffe.” Ne bazuula nga Yonatani n'omwetissi w'ebyokulwanyisa bye tebaliiwo.
18
Sawulo n'agamba Akiya nti: “Ggyayo efodi;” anti mu bbanga eryo ye yalina efodi mu Yisirayeli.
19
Sawulo aba ayogera ne kabona, oluyoogaano ne lweyongera mu lusiisira lw'Abafilisitiini; ne lugenda nga lugejja n'okukanguka. Sawulo n'agamba kabona nti: “Ssa omukono gwo.”
20
Sawulo n'abantu bonna abaali naye ne bakuŋŋaana, ne bagenda awaali okulwana. Baasanga wonna waliwo akatabanguko kanene nnyo, nga buli omu ekitala akyolekezza munne.
21
N'Abeebureeyi abaalinga n'Abafilisitiini mu kusooka, abaali bagenze nabo mu lusiisira, ne bakomawo ne beegatta ku Bayisirayeli abaali ne Sawulo ne Yonatani.
22
N'Abayisirayeli bonna abaali beekukumye mu nsozi za Efurayimu, bwe baawulira nti Abafilisitiini badduse, nabo ne beegatta ku bannaabwe mu lutalo.
23
Ku olwo Katonda n'anunula Yisirayeli. Okulwana ne kweyongerayo n'okuyisa e Beti-Aveni.
24
Basajja ba Yisirayeli baali bakoowu ku olwo, kubanga Sawulo yali abalayizza nti: “Yenna anaakomba ku mmere ng'akawungeezi tekannatuuka, nga sinnawoolera ggwanga ku balabe bange, wa kuvumirirwa.” Tewaali n'omu yalya ku kantu.
25
Eggye lyonna ne liyingira mu lukoola; mwalimu omubisi gw'enjuki nga guvuluuja ku ttaka.
26
Bwe baayingirira olukoola ne balaba omubisi nga guvuluuja guti, naye tewaali yagukwatako n'alya; abantu baali batya ekirayiro.
27
Ye Yonatani yali tawulidde nti kitaawe yali alayizza abantu; yakununkiriza akasammambiro k'omuggo gwe yalina mu ngalo n'akannyika mu kisassalala ky'omubisi gw'enjuki. Bwe yassa omukono gwe ku mumwa, amaaso ge ne gacamuka.
28
Omu ku batabaazi n'amugamba nti: “Kitaawo yakuutidde abatabaazi ng'alayira n'okulayira nti: ‘Anaalya ku mmere olwa leero, wa kuvumirira;’ kwe kulaba ng'abatabaazi bayenjebuse.”
29
Yonatani n'agamba nti: “Kitange yaleetedde ensi omutawaana. Mulaba, amaaso gange gacamuse bwe nkombye katono ku mubisi gw'enjuki guno.
30
Kale singa abantu baalidde ku munyago gwe baggye ku balabe, ekikoleddwa Abafilisitiini tekyandisinzeewo?”
31
Ku olwo batta Abafilisitiini okuva e Mikumasi okutuukira ddala e Ayaloni; abantu ne bakoowa nnyo.
32
Kwe kukka ku munyago ne bakwata ente, endiga n'obuyana, ne babittira ku ttaka, ne babirya nga mukyalimu n'omusaayi.
33
Ne babuulira Sawulo nti: “Abantu basobezza eri Omukama. Baabali balya ennyama erimu omusaayi.” N'agamba nti: “Temubadde beesigwa. Muyiringise ejjinja lino eddene kati mulisse wano we ndi.”
34
Sawulo n'agamba nti: “Mubune wonna mu bantu mubagambe nti: ‘Buli omu andeetere ente ye n'endiga ye, mubittire kuno, mubirye; naye temusobya eri Mukama nga mulya ennyama erimu omusaayi.’ ” Buli omu ekiro ekyo n'aleeta ente gye yalinawo, ne bazittira eyo.
35
Sawulo n'azimbira Omukama omwaliiro. Ogwo gwe mulundi gwe ogwasooka okuzimbira Omukama omwaliiro.
36
Sawulo n'agamba nti: “Tuzinde Abafilisitiini mu kiro, tubaaye okutuusa obudde okukya; temulekaamu n'omu nga mulamu.” Abantu ne bagamba nti: “Kola ky'osiimye.” Naye kabona n'agamba nti: “Twebuuze ku Katonda.”
37
Sawulo ne yeebuuza ku Katonda nti: “Mpondere Abafilisitiini? Onoobawaayo mu mikono gya Yisirayeli?” Omukama teyamwanukula ku olwo.
38
Sawulo n'agamba nti: “Mwenna abagabe b'eggye, musembere wano, muzuule ani eyakoze ekibi kino.
39
Mazima Omukama omununuzi wa Yisirayeli nga mulamu, ne bw'anaaba mutabani wange Yonatani, ajja kuttibwa.” Mu bantu tewali yamunyega.
40
Awo n'agamba Yisirayeli yenna nti: “Mwenna mudde ku ludda lumu, nange ne mutabani wange Yonatani tusigale ku luuyi luno.” Abantu ne baanukula Sawulo nti: “Kola ky'osiimye.”
41
Sawulo n'agamba nti: “Mukama Katonda wa Yisirayeli, lwaki omuweereza wo tomwanukudde leero? Oba nze musobya, oba Yonatani mutabani wange nga y'ataakoze kituufu, Mukama Katonda wa Yisirayeli, wa Wurimu; naye oba ensobi eri na bantu bo Yisirayeli, wa Tummimu.” Akalulu ne kalonda Yonatani ne Sawulo; abantu ne bejjeerera.
42
Sawulo n'agamba nti: “Mukube akalulu ku nze ne ku Yonatani, mutabani wange.” Yonatani n'alondebwa
43
Sawulo n'agamba Yonatani nti: “Ntegeeza kye wakoze.” Yonatani n'amutegeeza nti: “Nakombye ku mubisi gw'enjuki ogwabadde ku kasongezo k'omuggo gwange; laba kati ŋŋenda kufa!”
44
Sawulo n'agamba nti: “Katonda ankole bw'atyo, ate asinze nawo, singa Yonatani toli wa kufa.”
45
Abantu ne bagamba Sawulo nti: “Ddala Yonatani afe? Eyanunudde Yisirayeli obwenkana awo? Kikafuuwe! Mazima Omukama nga mulamu, n'oluviiri teruumuve ku mutwe kugwa mu ttaka, kubanga olwa leero kye yakoze, yakikoze na buyambi bwa Katonda.” Abantu ne bawonya batyo Yonatani, n'atattibwa.
46
Sawulo n'akoma awo okuwondera Abafilisitiini; Abafilisitiini ne bagenda mu nsi yaabwe.
47
Sawulo obwakabaka bwe bwe bwamala okunywera ku Yisirayeli, n'alwanyisa abalabe be ku njuyi zonna: Mowabu, Abammoni, Edomu, bakabaka b'e Zoba n'Abafilisitiini. Buli gye yaddanga, ng'ababonereza.
48
Yalwana na buzira n'atta Amaleki, n'anunula Abayisirayeli mu mikono gy'abo abaabanyagululanga.
49
Batabani ba Sawulo be bano: Yonatani, Yisuvi ne Maluki-Suwa; amannya g'abawala be ababiri gaali: omuggulanda nga ye Merabu, ate muto we nga ye Mikali.
50
Muka Sawulo erinnya lye nga ye Akinowamu, muwala wa Akimaazi; erinnya ly'omuduumizi w'eggye lye nga ye Abuneri, mutabani wa Neri, kitaawe omuto owa Sawulo.
51
Kisi, kitaawe wa Sawulo ne Neri, kitaawe wa Abuneri, baali batabani ba Abiyeli.
52
Mu budde bwa Sawulo, olutalo n'Abafilisitiini lwakalambira; buli musajja ayeesobola oba omuzira nga Sawulo amugatta ku ggye lye.
← Chapter 13
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 15 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31