bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
1 Samuel 18
1 Samuel 18
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 17
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 19 →
1
Dawudi bwe yamala okwogera ne Sawulo, omutima gwa Yonatani ne gusigala ku Dawudi, Yonatani n'amwagala nga bwe yeeyagala.
2
Ku olwo Sawulo n'asigaza Dawudi, teyamuleka kuddayo mu nnyumba ya kitaawe.
3
Yonatani n'akola ne Dawudi endagaano, anti yali amwagala nga bwe yeeyagala.
4
Yonatani n'ayambulamu omunagiro gwe n'aguwa Dawudi, n'ekkanzu ye, n'ekitala kye, n'omusaale gwe, n'omusipi gwe.
5
Dawudi gye yagendanga mu byonna Sawulo bye yamutumanga, nga Dawudi abeera wa mukisa. Sawulo n'amufuula mugabe mu ggye. Kino ne kisanyusa abantu bonna, n'abakungu ba Sawulo.
6
Naye abatabaazi lwe baakomawo, Dawudi ng'amaze okutta Omufilisitiini, abakazi ne bavaayo mu bibuga byonna ebya Yisirayeli okwaniriza kabaka Sawulo nga bayimba n'okuzina ku bugoma, ku nnyimba ez'essanyu ne ku ntongooli.
7
Baazinanga nga bwe bayimba nti: “Sawulo asse enkumi ze, ne Dawudi obukumi bwe.”
8
Sawulo n'asunguwala nnyo; ennyimba eyo n'etemusanyusa, n'agamba nti: “Dawudi bamuwadde bukumi, ate nze bampadde nkumi; esigadde ki, si kutwala bwakabaka?”
9
Okuva ku olwo Sawulo n'atandika okutunuuliza Dawudi eriiso ery'obuggya.
10
Enkeera, omwoyo omubi ogwa Katonda ne gujja ku Sawulo, n'alogojjanira mu nnyumba; Dawudi yali asuna ennanga nga bwe yakolanga buli lunaku. Sawulo yalina effumu mu ngalo.
11
Sawulo n'akasuka ng'asuubira nti: “Nzija kutungira Dawudi ku kisenge.” Naye Dawudi n'amwemululako emirundi ebiri.
12
Sawulo n'atya Dawudi kubanga Omukama yali naye, ate ye Omukama ng'avudde ku Sawulo.
13
Sawulo kyeyava amweggyako, n'amuwa okukulira ekibinja eky'olukumi. Dawudi n'abakulemberanga mu ntabaalo.
14
Mu buli kye yakolanga, Dawudi yabanga n'omukisa, kubanga Omukama yabanga naye.
15
Sawulo bwe yalaba nga Dawudi wa mukisa nnyo, n'atandika okumutya.
16
Naye Yisirayeli yenna ne Yuda baayagalanga Dawudi, kubanga yabakulemberanga mu ntabaalo zaabwe.
17
Sawulo n'agamba Dawudi nti: “Laba muwala wange omukulu Merabu wuuyo awo; nzija kumukuwa abeere mukazi wo, kasita onooba omuzira ku lwange, n'olwana entalo z'Omukama.” Muli munda Sawulo yali alowooza nti: “Nze sijja kumwettira, wabula Abafilisitiini be banaakikola.”
18
Dawudi n'agamba Sawulo nti: “Leero nze ani? Amaka ga kitange, n'eŋŋanda zange be baani mu Yisirayeli, ndyoke nfuuke mukoddomi wa kabaka?”
19
Naye obudde bwe bwatuuka, Merabu muwala wa Sawulo lwe yali ow'okuweebwa Dawudi, ate yaweebwa Aduryeli Omumekola abeere mukazi we.
20
Kati ate Mikali muwala wa Sawulo yayagala Dawudi; ne babuulira Sawulo, naye ne kimusanyusa.
21
Sawulo n'agamba muli munda nti: “Nzija kumumuwa, amufuukire omutego, Abafilisitiini balyoke bamuyigganye.” Sawulo n'agamba Dawudi nti: “Leero ofunye omukisa omulundi ogwokubiri okufuuka mukoddomi wange.”
22
Sawulo n'alagira abaweereza be nti: “Mugambe Dawudi mu kyama nti: ‘Wuuno kabaka omusanyusa, n'abaweereza be bonna bakwagala; kale nno beera mukoddomi wa kabaka.’ ”
23
Abaweereza ba kabaka ne bagamba Dawudi ebigambo bino byonna. Dawudi n'agamba nti: “Mmwe mukiyita kitono okubeera mukoddomi wa kabaka? Nze ndi musajja mwavu, anyoomebwa.”
24
Abaweereza ba Sawulo ne bamunyumiza nti: “Dawudi agambye bino na bino.”
25
Sawulo n'agamba nti: “Dawudi mumugambe bwe muti nti: ‘Kabaka takusalidde mutwalo mulala, wabula obuliba kikumi obw'Abafilisitiini, owoolere bw'otyo eggwanga ku balabe ba kabaka.’ ” Sawulo yali asalira Dawudi lukwe attibwe Abafilisitiini.
26
Abaweereza be bwe baategeeza Dawudi Sawulo bye yali agambye, eky'okufuuka mukoddomi wa kabaka ne kimusanyusa. Ennaku zaali tezinnaba na kuggwaayo,
27
Dawudi n'asituka n'abasajja b'ekibinja kye, n'atta Abafilisitiini ebikumi bibiri, n'aleeta obuliba bwabwe, n'abubalira kabaka, alyoke afuuke mukoddomi we; Sawulo n'amuwa muwala we Mikali abeere mukazi we.
28
Sawulo bwe yalaba nti Omukama ali ne Dawudi, nga ne Mikali muwala we ayagala Dawudi,
29
Sawulo n'ayongera okutya Dawudi; Sawulo n'afuukira ddala mulabe wa Dawudi ennaku ze zonna.
30
Abagabe b'Abafilisitiini bajjanga okulwana, buli lwe baalumbanga, Dawudi ng'aba wa mukisa okusinga abaweereza ba Sawulo bonna; erinnya lye ne litutumuka nnyo.
← Chapter 17
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 19 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31