bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
1 Samuel 3
1 Samuel 3
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 4 →
1
Omulenzi Samweli yaweerezanga Omukama mu maaso ga Eli. Mu nnaku ezo Omukama okwogera nga kya bbalirirwe, nga n'okulabikirwa tekutera kugwawo.
2
Lwali lumu, Eli yali yeebase mu kifo kye, amaaso ge nga gasoose okufuma; yali takyasobola kulaba.
3
Ettawaaza y'Omukama yali tennazikira, ne Samweli yali yeebase mu Kiggwa ky'Omukama awaali Ssanduuku y'Endagaano.
4
Omukama n'ayita Samweli; Samweli n'ayitaba nti: “Nzuuno.”
5
N'adduka n'alaga eri Eli, n'agamba nti: “Nzuuno, kubanga ompise.” Eli n'agamba nti: “Sinnayita; ddayo weebake.” N'agenda, ne yeebaka.
6
Era Omukama n'addamu okuyita Samweli. Samweli n'azuukuka, n'alaga eri Eli, n'agamba nti: “Nzuuno, kubanga ompise.” Ye n'ayanukula nti: “Mwana wange, sinnayita. Ddayo weebake.”
7
Samweli yali tannamanya Mukama, n'ekigambo ky'Omukama nga tekinnamubikkulirwa.
8
Omukama n'ayita Samweli ogwokusatu; ye n'azuukuka, n'alaga eri Eli
9
n'agamba nti: “Nzuuno, kubanga ompise.” Awo Eli n'amanya ng'Omukama ye yali ayita omulenzi. N'agamba Samweli nti: “Genda weebake. Bw'addamu okukuyita, mugambe nti: ‘Yogera, ayi Mukama, kubanga omuweereza wo awulira.’ ” Samweli n'agenda, ne yeebaka mu kifo kye.
10
Omukama n'ajja, n'ayimirira awo, n'ayita nga bwe yayita mu kusooka nti: “Samweli, Samweli.” Samweli n'agamba nti: “Yogera, kubanga omuweereza wo awulira.”
11
Omukama n'agamba Samweli nti: “Nzuuno ŋŋenda okukola ekigambo mu Yisirayeli, buli yenna anaaba akiwuliddeko amatu ganaamuwaawaala.
12
Ku olwo nzija kukola Eli byonna bye nayogera ku nnyumba ye okuva ku kisooka okutuuka ku kisembayo.
13
Anti namubuulira dda nti ennyumba ye nzija kugisalira omusango emirembe gyonna olw'ebitatuuka bye yamanyaako; kubanga abaana be baakola ebibaweebuula, n'atabakomako.
14
Awo nno nalayirira ennyumba ya Eli nti ebitambiro n'ebitone tebiriddaabiriza musango gwa nnyumba ye emirembe gyonna.”
15
Samweli ne yeebaka okutuusa enkeera; n'aggulawo emiryango gy'Ennyumba y'Omukama. Samweli yali atya okutegeeza Eli ku kulabikirwa.
16
Eli n'ayita Samweli nti: “Samweli mwana wange,” ye n'ayitaba nti: “Nzuuno.”
17
N'amubuuza nti: “Kigambo ki kye yakugambye? Nkwegayiridde, tonkisa. Omukama akukole bw'atyo, ate asinze nawo, singa ononkisa ekigambo kyonna ku bye yakugambye.”
18
Samweli n'amutegeeza byonna, n'atamukisa. Eli n'ayanukula nti: “Ye Mukama. Akole nga bw'ayagadde.”
19
Samweli n'asuumuka; n'Omukama yabeeranga ne Samweli, era ku bigambo bye byonna tekwali kyagwa butaka.
20
Yisirayeli yenna, okuva e Daani okutuuka e Beeriseba, n'amanya nti Samweli akakasiddwa ng'omulanzi w'Omukama.
21
Omukama n'ayongera okulabikiranga e Silo, kubanga Omukama yeeyolekanga Samweli mu Silo, ng'ayita mu kigambo kye.
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 4 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31