bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
1 Samuel 22
1 Samuel 22
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 21
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 23 →
1
Dawudi yavaayo, n'addukira mu mpuku y'e Adullamu; baganda be bwe baakiwulira, n'ennyumba ya kitaawe yonna, ne baserengetayo gye yali.
2
Bonna abaali mu nnaku na bonna abaalina amabanja na bonna abaalina ennyiike ku mutima ne bamukuŋŋaanirako gy'ali, ye n'aba mukulembeze waabwe; abasajja abaali naye nga bawera ng'ebikumi bina.
3
Dawudi n'avaayo, n'agenda mu Mizupa mu Mowabu, n'agamba kabaka w'e Mowabu nti: “Nkwegayiridde, Kitange ne mmange basigale nammwe okutuusa lwe nnaamanya Katonda ky'anankolera.”
4
N'abaleka ne kabaka w'e Mowabu, ne basigala naye ennaku zonna Dawudi ze yamala mu bwekwekero.
5
Omulanzi Gaadi n'agamba Dawudi nti: “Leka kusigala mu bwekwekero. Genda mu nsi ya Yuda.” Dawudi n'avaayo, n'ajja mu kibira ky'e Kereti.
6
Sawulo n'awulira nga Dawudi n'abasajja abaali naye bazuuse. Sawulo yali Gibewa ng'atudde wansi w'omumyulira oguli ku kasozi k'e Gibewa, ng'akutte effumu, abakungu be bonna nga bamwetoolodde.
7
Sawulo n'agamba abakungu be abaali naye nti: “Muwulire, Ababenyamiini, nammwe mwenna, mutabani wa Yesse alibawa mwenna ebibanja n'ennimiro z'emizabbibu? Alibafuula bagabe b'enkumi n'ebikumi?
8
Lwaki mwenna munneekobedde? Tewali yambuulira nti mutabani wange yatta omukago ne mutabani wa Yesse; mu mmwe tewali annumirwa, wadde okumbuulira nti mutabani wange yajeemesa omuweereza wange anteegenga nga bw'akola olwa leero.”
9
Dowegi Omwedomu, eyali awamu n'abakungu ba Sawulo, n'ayanukula nti: “Nalaba mutabani wa Yesse mu Nobu ewa Akimeleki mutabani wa Akitubu;
10
yamubuuliza ew'Omukama n'amuwa n'entanda, n'ekitala kya Goliyati Omufilisitiini.”
11
Kabaka n'atumya Akimeleki kabona, mutabani wa Akitubu n'ennyumba yonna eya kitaawe, abaali bakabona e Nobu; bonna ne bajja eri kabaka.
12
Sawulo n'agamba nti: “Mutabani wa Akitubu, wulira.” Ye n'ayanukula nti: “Ndi wano, ssebo.”
13
Sawulo n'amugamba nti: “Lwaki mwanneekobera, ggwe ne mutabani wa Yesse, n'omuwa omugaati n'ekitala n'omubuuliza n'ewa Katonda, anjeemere era anteegenga nga bw'akola leero?”
14
Akimeleki n'ayanukula kabaka nti: “Mu baweereza bo bonna ani ayenkana Dawudi mu bwesigwa, mukoddomi wa kabaka, omukulu w'abakuumi bo, ow'ekitiibwa mu nnyumba yo?
15
Olwo lwe nasooka okumubuuliza ewa Katonda? Kikafuuwe! Kabaka aleme kuteerera muweereza we n'ennyumba yonna eya kitange kintu kyenkana awo; omuweereza talina ky'amanyi ku byonna ebiriwo.”
16
Kabaka n'amugamba nti: “Oli wa kufa, Akimeleki, ggwe n'ennyumba ya kitaawo yonna.”
17
Kabaka n'agamba abakuumi abaali bayimiridde awo w'ali nti: “Mukyuke, mutte bakabona b'Omukama, kubanga beetabye ne Dawudi; baamanya ng'adduse, ne batammanyisa.” Naye abaweereza ba kabaka ne batayagala kugololera bakabona ba Mukama mukono.
18
Kabaka n'agamba Dowegi nti: “Ggwe kyuka otte bakabona.” Dowegi Omwedomu n'akyuka n'akuba bakabona; ku olwo n'atta abasajja kinaana mu bataano abambadde efodi eya kitaani.
19
Ne Nobu, ekibuga kya bakabona, n'akisaanyaawo n'obwogi bw'ekitala; n'atta n'obwogi bw'ekitala buli ky'alimu: abasajja, abakazi, abaana, amabujje, ente, endogoyi n'endiga.
20
Omwana omu owa Akimeleki, mutabani wa Akitubu, gwe bayita Abiyatari, ye yasumattuka, n'addukira eri Dawudi.
21
N'abuulira Dawudi nga Sawulo bwe yali asse bakabona b'Omukama.
22
Dawudi n'agamba Abiyatari nti: “Nali mmanyi ku luli nti nga Dowegi Omwedomu bwe yaliyo, tewaali kubuusabuusa yali wa kubuulira Sawulo; nze nvunaanibwa olwa ku bonna abafudde mu nnyumba ya kitaawo.
23
Sigala nange, totya; anoonya obulamu bwo, y'anoonya n'obwange; tojja kubeera na kabi we ndi.”
← Chapter 21
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 23 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31