bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
1 Samuel 23
1 Samuel 23
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 22
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 24 →
1
Ne babuulira Dawudi nti: “Baabali Abafilisitiini balumbye Keyila, banyagulula buli gguuliro.”
2
Dawudi ne yeebuuza ku Mukama, n'agamba nti: “Ŋŋende, nnumbe Abafilisitiini abo?” Omukama n'agamba Dawudi nti: “Genda, otte Abafilisitiini onunule Keyila.”
3
Abasajja abaali ne Dawudi ne bamugamba nti: “Olaba kati wano mu Yuda we tuli, tuli mu kutya, leero anaalabisa nga tugenze e Keyila okulumba amagye g'Abafilisitiini?”
4
Dawudi n'addamu okwebuuza ku Mukama; ye n'ayanukula nti: “Situka, genda e Keyila, kubanga nze ŋŋenda okuwaayo Abafilisitiini mu mikono gyo.”
5
Awo Dawudi n'agenda ne basajja be n'alwanyisa Abafilisitiini n'abagoba n'anyaga amagana gaabwe. Yakuba bubi Abafilisitiini. Dawudi n'anunula abantu b'e Keyila.
6
Abiyatari, mutabani wa Akimeleki bwe yaddukira ewa Dawudi e Keyila, efodi yali azze nayo.
7
Sawulo ne bamubuulira nti Dawudi agenze e Keyila. Sawulo n'agamba nti: “Oyo Katonda amuwaddeyo mu mikono gyange, kubanga Dawudi yeggalidde mu kibuga okuli enzigi n'emiyingo.”
8
Sawulo n'akuŋŋaanya eggye lye lyonna, baserengete e Keyila bazinde Dawudi ne basajja be.
9
Dawudi bwe yakimanya nti Sawulo ategeka okumuzinda, n'agamba Abiyatari kabona nti: “Ggyayo efodi.”
10
Dawudi n'agamba nti: “Ayi Mukama Katonda wa Yisirayeli, omuweereza wo awulidde nti Sawulo ateekateeka okujja e Keyila, ekibuga akizikirize olw'okubeera nze;
11
abantu b'e Keyila banampaayo mu mikono gye? Ddala Sawulo anaaserengeta eno, ng'omuweereza wo bw'awulidde? Ayi Mukama Katonda wa Yisirayeli, omuweereza wo mutegeeze.” Omukama n'agamba nti: “Ajja kuserengeta.”
12
Dawudi n'addamu okubuuza nti: “Abantu b'e Keyila banampaayo nze ne basajja bange mu mikono gya Sawulo?” Omukama n'agamba nti: “Banaakuwaayo.”
13
Awo Dawudi n'asituka n'abasajja be abawera nga lukaaga ne bava mu Keyila, ne babungeetanga nga bava wano badda wali. Sawulo bwe yategeezebwa nti Dawudi adduse mu Keyila, naye eby'okugendayo n'abisazaamu.
14
Dawudi yabeeranga mu ddungu, mu bigo ne mu nsozi z'omu ddungu ly'e Zifu; Sawulo n'amunoonya ennaku zonna, naye Katonda teyamuwaayo mu mikono gye.
15
Dawudi bwe yali mu ddungu ly'e Zifu mu Koresi, n'amanya nti Sawulo avuddeyo okunoonya obulamu bwe.
16
Yonatani mutabani wa Sawulo n'asituka n'alaga eri Dawudi mu Koresi, n'amuyamba okuzuula endasi mu Katonda; n'amugamba nti:
17
“Leka kutya, kitange Sawulo tajja kukukola kabi; ggwe ojja kubeera kabaka wa Yisirayeli; nze nzija kubeera akuddirira, ne kitange Sawulo ekyo akimanyi.”
18
Bombi ne bakola endagaano mu maaso g'Omukama. Dawudi n'asigala mu Koresi, Yonatani ye n'addayo ewaabwe.
19
Ab'e Zifu ne bambuka eri Sawulo mu Gibewa, nga bamugamba nti: “Dawudi wuuli yeekwese ewaffe mu bigo mu Koresi, ku lusozi Kakila oluli mu maserengeta ga Yesimoni.
20
Kale nno, ayi kabaka, wonna w'oba oyagalidde, serengeta; ogw'okumuwaayo mu mikono gya kabaka ogwo gwaffe.”
21
Sawulo n'agamba nti: “Omukama abawe omukisa kubanga mulumiddwa wamu nange.
22
Mugende, mwongere okwetegeka okusingawo; mwekkaanye ekifo w'ali n'oyo abeera amulabyeko, kubanga baŋŋambye nti mukujjukujju nnyo.
23
Mwekkaanye, mulabe enfo zonna gye yeekweka, mukomeewo gye ndi n'obukakafu; olwo ŋŋende nammwe; bw'aliba mu kitundu, nzija kumuwenja mu bika byonna ebya Yuda.”
24
Bo ne basituka ne balaga mu Zifu ne basookayo Sawulo. Ye Dawudi ne basajja be baali mu ddungu ly'e Mawoni, mu Araba, mu maserengeta ga Yesimoni.
25
Sawulo n'agenda okumunoonya ne basajja be. Dawudi bwe baamubuulira, n'aserengeta ku lwazi n'abeeranga mu ddungu Mawoni. Sawulo bwe yakiwulira, n'awondera Dawudi mu ddungu ly'e Mawoni.
26
Sawulo yagenderanga ku ludda olumu olw'olusozi, ne Dawudi ne basajja be nga bali ku ludda olulala. Dawudi yali ku misinde, ng'adduka Sawulo. Sawulo ne basajja be ne bagenda nga bafumbikiriza Dawudi n'abasajja be babakwate.
27
Mu kadde ako omubaka n'ajja eri Sawulo n'agamba nti: “Yanguwa, jjangu, kubanga Abafilisitiini bazinze ensi.”
28
Sawulo n'akomawo, n'alekayo okuwondera Dawudi, n'agenda okusisinkana Abafilisitiini. Olw'okubeera ekyo, ekifo ne kiyitibwa Sela-Ammakulekoti.
← Chapter 22
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 24 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31