bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
1 Samuel 6
1 Samuel 6
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 7 →
1
Ssanduuku y'Omukama ng'emaze mu nsi y'Abafilisitiini emyezi musanvu,
2
Abafilisitiini ne bayita bakabona n'abalaguzi, ne bagamba nti: “Ssanduuku y'Omukama tugikolere ki? Mututegeeze nga bwe tunaagizzaayo mu kifo kyayo.” Ne bagamba nti:
3
Oba muzzaayo Ssanduuku ya Katonda wa Yisirayeli, temugizzaayo nnangasa, naye muweererezeeko ekitambiro olw'omusango, olwo mujja kuwona, era mujja kumanya ensonga omukono gwe kyeguva gutabaggyibwako.
4
Ne bagamba nti: “Kitambiro ki olw'omusango kye tuteekwa okuweereza?” Ne babaanukula nti: “Anti abafuzi mu Bafilisitiini bali bataano, awo nno mukole ebizimba bitaano ebya zaabu n'emmese ttaano eza zaabu, kubanga ekibonerezo kyakwata mwenna, mmwe n'abafuzi bammwe.
5
Mujja kukola ebifaananyi by'ebizimba byammwe, n'ebifaananyi by'emmese zammwe ezizikiriza ensi; bwe mutyo muliwa Katonda wa Yisirayeli ekitiibwa; mpozzi olwo lw'aliddiriza ku mukono gwe ku mmwe, ku balubaale bammwe ne ku nsi yammwe.
6
Lwaki mugugubya emitima gyammwe nga Faraawo bwe yagugubya ogugwe n'Abamisiri? Bwe yamala okubajooga, tebaabata nabo ne bagenda?
7
Awo nno kati musitukireemu, mukole ekigaali kimu ekipya, musseeko ente enkazi bbiri eziyonsa, ezitasibwangako kikoligo, muzisibe ku kigaali; ennyana zaazo muziggalire mu kiyu.
8
Muddire Ssanduuku y'Omukama mugisse ku kigaali, n'ebifaananyi bya zaabu olw'ekitambiro olw'omusango mubisse mu kasanduuku, mukasse mu mbiriizi zaayo; mugisindike egende.
9
Naye mugikuumise amaaso; bw'enekkirira n'ekwata ekkubo eriraga mu nsi yaabwe, n'edda e Beti-Semesi, nga Omukama ye yatukola akabi akanene kati; bwe gutaabe gutyo, tunaamanya nti si mukono gwe gwe gwatukuba, wabula kyaguddewo bugwi.”
10
Ne bakola batyo; ne baddira ente bbiri eziyonsa, ne bazissa ku kigaali; ennyana zaazo ne baziggalira mu kiyu.
11
Ne bassa Ssanduuku ya Katonda ku kigaali, ko akasanduuku omwali emmese eza zaabu n'ebifaananyi by'ebizimba.
12
Ente ne zigenda butereevu mu kkubo eriraga e Beti-Semesi; zaakwatira ddala eryo mukungujjo, eno bwe ziŋooŋa, awatali kukyama kudda ku ddyo oba ku kkono. N'abafuzi b'Abafilisitiini baazigoberera okutuukira ddala ku nsalo za Beti-Semesi.
13
Ab'e Beti-Semesi baali bakesa ŋŋano mu kiwonvu; bwe baasitula amaaso, ne balaba Essanduuku, ne basanyuka okugiraba.
14
Ekigaali ne kijja mu nnimiro ya Yoswa ow'e Beti-Semesi ne kiyimirira omwo. Mwalimu omwo ejjinja eddene, ne batemaatema emiti gy'ekigaali, ente ne baziweereza Omukama mu kitambiro ekyokye.
15
Abaleevi ne batikkula Ssanduuku y'Omukama n'akasanduuku akaali okumpi nayo omwali ebifaananyi ebya zaabu, ne babissa ku jjinja eddene. Ku olwo abantu b'e Beti-Semesi, ne baweereza Omukama ebitambiro ebyokye n'ebitone.
16
Abafuzi abataano Abafilisitiini bino byonna baabiraba, ne baddayo e Ekuroni ku olwo.
17
Bino bye bizimba ebya zaabu Abafilisitiini bye baaweereza ew'Omukama ng'ekitambiro olw'omusango: Asudodi kimu, Gaza kimu, Esukaloni kimu, Gati kimu ne Ekuroni kimu.
18
N'emmese eza zaabu zaali zenkana n'omuwendo gw'ebibuga eby'abafuzi abataano Abafilisitiini; ekibuga okwali ebigo n'ebyalo byabyo. Ejjinja eddene kwe bassa Ssanduuku y'Omukama mu nnimiro ya Yoswa ow'e Beti-Semesi, ye mujulirwa n'okutuusa ku lunaku lwa leero.
19
Naye Katonda yatta abantu b'e Beti-Semesi olw'okutunula mu Ssanduuku y'Omukama; Omukama yattamu abasajja nsanvu. Abantu ne bakungubaga kubanga Omukama abantu yali abakubye bubi.
20
Abasajja b'e Beti-Semesi ne bagamba nti: “Ani anaasobola okuyimirira mu maaso g'Omukama Katonda, Omutuukirivu Ono? Ssanduku bw'eva mu ffe eraga waani?”
21
Ne batuma ababaka eri abatuuze b'omu Kiriyati-Yewarimu nga bagamba nti: “Abafilisitiini bakomezzaawo Ssanduuku y'Omukama. Muserengete mugyambuse eyo ewammwe.”
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 7 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31