bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
1 Samuel 11
1 Samuel 11
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 12 →
1
Nakasi Omwammoni yagenda n'azingiza Yabesi-Gileyaadi. Abantu bonna ab'e Yabesi ne bagamba Nakasi nti: “Kola naffe endagaano, tujja kukuweereza.”
2
Nakasi Omwammoni n'abaanukula nti: “Kano ke kakalu k'endagaano: mwenna nzija kubanokolamu buli omu eriiso erya ddyo, nswaze bwe ntyo Yisirayeli yenna.”
3
Abakadde ba Yabesi ne bamusaba nti: “Tuweeyo ennaku musanvu, tutume ababaka mu Yisirayeli yenna; bw'eneebulayo atuwonya, tujja kwewaayo mu mikono gyo.”
4
Ababaka ne bajja mu Gibewa ekya Sawulo, ne babuulira abantu obukalu obuteereddwawo. Abantu bonna ne baleekaana, ne bakaaba.
5
Mu kadde ako kennyini Sawulo yali ava mu nnimiro ng'ajja agoba ente ezirima; n'abuuza nti: “Abantu babadde ki abakaaba?” Ne bamubuulira ebigambo by'ababaka b'e Yabesi.
6
Sawulo bwe yawulira ebigambo ebyo, omwoyo gw'Omukama ne gumujjako, obusungu bwe ne bwesera nnyo.
7
N'akwata omugogo gw'ente n'azitemaatema ebifi, n'atuma ababaka babituuse mu bitundu byonna ebya Yisirayeli n'obubaka nti: “Buli yenna ataaveeyo kugoberera Sawulo ne Samweli, ente ze bwe zinaakolebwa ziti.” Entiisa y'Omukama n'ekwata abantu, bonna ne bavaayo ng'omuntu omu.
8
Bwe yabalambula e Bezeki, abaali bavudde mu Yisirayeli baali obusiriivu busatu, ate abavudde mu Yuda emitwalo esatu.
9
Ne bagamba ababaka abaali bazze nti: “Mugambe abantu b'omu Yabesi-Gileyaadi nti: ‘Enkya, obudde we bunaakaalamira, mujja kubeera nga mununuddwa.’ ” Ababaka ne bagenda ne babuulira abantu b'e Yabesi, nabo ne basanyuka.
10
Abantu b'e Yabesi ne bagamba Abammoni nti: “Enkya ku makya tujja kwewaayo mu mikono gyammwe; mutukole kyonna kye mwagala.”
11
Enkeera, Sawulo n'atereeza abantu mu bibinja bisatu; mu matulutulu n'azinda olusiisira lw'Abammoni, n'abakuba okutuukira ddala obudde okukaalaama. Abaasigalawo ne babuna emiwabo, ne watasigalawo wadde ababiri abali awamu. Sawulo akakasibwa ku bwakabaka
12
Abantu ne bagamba Samweli nti: “Baani abo abagamba nti: ‘Sawulo y'anaatufuga?’ Mubatuwe tubatte.”
13
Sawulo n'agamba nti: “Tewabaawo attibwa olwa leero, kubanga olwa leero Omukama awonyezza Yisirayeli.”
14
Samweli n'agamba abantu nti: “Mujje, tugende e Gilugali, tukakase buto obwakabaka.”
15
Abantu bonna ne balaga e Gilugali, eyo Sawulo ne bamufuula kabaka mu maaso g'Omukama. Ne batambirirayo ebitambiro eby'okussa ekimu mu maaso g'Omukama. Sawulo n'abantu bonna aba Yisirayeli ne bajaguza nnyo.
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 12 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31