bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
1 Samuel 19
1 Samuel 19
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 18
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 20 →
1
Sawulo n'abuulira Yonatani mutabani we n'abaweereza be bonna ku ky'okutta Dawudi; naye nno Yonatani mutabani wa Sawulo yali ayagala nnyo Dawudi.
2
Yonatani n'alabula Dawudi nti: “Kitange Sawulo anoonya kakisa ka kukutta. Awo nno nkwegayiridde, weerinde ku lw'enkya; genda aweekusifu osigale eyo.
3
Nze nzija kufuluma nyimirire kumpi ne kitange ku ttale w'onobeera; nzija kukwogerako eri kitange; kyonna kye nnaaba nfunye, nzija kukikubuulira.”
4
Yonatani n'ayogera bulungi ku Dawudi eri kitaawe Sawulo, n'amugamba nti: “Kabaka aleme kukola kibi ku muweereza we Dawudi, kubanga takukolanga kibi, ne by'akoze bikugasizza nnyo.
5
Yamira omwoyo n'atta Omufilisitiini, Omukama n'awa Yisirayeli yenna obuwanguzi obw'ettendo. Walaba, n'osanyuka. Lwaki okola ekibi ku musaayi ogutaliiko musango ng'otta Dawudi ataliiko musango?”
6
Sawulo n'awuliriza Yonatani kye yali amugambye, n'alayira nti: “Mazima Omukama nga mulamu, tajja kuttibwa.”
7
Yonatani n'ayita Dawudi, n'amutegeeza byonna bye baali boogeddeko. Yonatani n'aleeta Dawudi ewa Sawulo, Dawudi n'addamu okuweereza Sawulo nga bwe gwali mu kusooka.
8
Ate olutalo ne lubaluka buto; Dawudi n'agenda n'alwana n'Abafilisitiini, n'abakuba bubi, ne babadduka.
9
Omwoyo gw'Omukama omubi ne gugwira Sawulo; yali atudde mu nnyumba ye ng'akutte effumu, ye Dawudi ng'asuna ennanga.
10
Sawulo n'agezaako okutungira Dawudi ku kisenge n'effumu, naye Dawudi ne yeemulula ku Sawulo, effumu ne lifumita kisenge. Dawudi n'adduka, ekiro ekyo n'awona.
11
Sawulo n'atuma abasajja ku nnyumba ya Dawudi bagikuume, bamutte ku makya. Naye Mikali mukazi we n'alabula Dawudi nti: “Bw'oteewonya kiro kino, enkya ojja kuttibwa.”
12
Mikali n'amuyisa mu ddirisa; Dawudi n'adduka n'awona.
13
Mikali n'addira ekifaananyi ekibajje ekya kalubaale k'awaka n'akigalamiza ku ndiri, n'akibikkako olugoye, ku mutwe gwakyo n'assaako akaliba k'embuzi akalina ebyoya.
14
Sawulo n'atuma ababaka bakwate Dawudi; Mikali n'abagamba nti: “Mulwadde.”
15
Sawulo n'addamu okutuma ababaka ogwokubiri, balabe Dawudi, ng'abagambye nti: “Mumundeetera wano ng'ali ku ndiri ye, mutte.”
16
Ababaka bwe bajja, mu kitanda baasangamu kifaananyi ekibajje eky'akalubaale k'awaka n'akaliba k'embuzi ku mutwe.
17
Sawulo n'agamba Mikali nti: “Lwaki wannimbyerimbye ababaka bange n'obagamba okudda, n'oleka omulabe wange n'adduka?” Mikali n'ayanukula Sawulo nti: “Kubanga yantiisatiisa nti: ‘Ndeka ŋŋende, lwaki nandikusse?’ ”
18
Dawudi n'adduka, n'awona; n'agenda ewa Samweli mu Rama, n'amubuulira byonna Sawulo bye yali amukoze. Ye ne Samweli ne bagenda e Nayoti mu Rama ne babeera eyo.
19
Sawulo n'ategeezebwa nti: “Dawudi ali mu Nayoti mu Rama.”
20
Sawulo n'atuma ababaka bakwate Dawudi. Bwe baalaba ekibinja ky'abalanzi abalanga, Samweli yali ayimiridde awo ng'abakulembeddemu, omwoyo gwa Katonda ne gubajjako, nabo bennyini ne batandika okulanga.
21
Sawulo bwe baakimubuulira, n'atuma ababaka abalala, era nabo ne balanga. Sawulo n'atuma abalala ogwokusatu, nabo ne balanga.
22
Ne Sawulo yennyini n'agenda mu Rama, n'atuukira ddala ku kidiba ekinene ekiri e Seku, n'abuuza nti: “Samweli ne Dawudi bali ludda wa?” Ne bamubuulira nti: “Bali Nayoti e Rama.”
23
N'agenda e Nayoti, mu Rama. Naye omwoyo gwa Katonda ne gumukwata, n'agenda ng'akumba nga bw'alanga, okutuusa lwe yatuuka mu Nayoti mu Rama.
24
Naye ne yeeyambulamu engoye, n'alanga wamu n'abalala mu maaso ga Samweli; n'agwa eri bwereere, n'asigala bw'atyo olunaku olwo lwonna n'ekiro. Kyebaava bagambanga nti: “Ne Sawulo ali mu balanzi?”
← Chapter 18
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 20 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31