bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
1 Samuel 30
1 Samuel 30
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 29
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 31 →
1
Dawudi ne basajja be baatuuka e Zikulagi ku lunaku olwokusatu. Abaamaleki baali balumbye Negevu ne Zikulagi; baali bakubye Zikulagi ne bakiteekera omuliro;
2
ne bawamba abakazi na bonna abaakirimu, okuva ku baana okutuuka ku bakadde. Kyokka tebatta ku muntu n'omu, wabula bonna baabazingako buzinzi ne bagenda nabo.
3
Dawudi ne basajja be bwe baatuuka ku kibuga baasanga nga kyokeddwa omuliro, nga bakazi baabwe, batabani baabwe, ne bawala baabwe batwaliddwa mu busibe.
4
Dawudi n'abantu be yali nabo ne batema emiranga egy'omwanguka, ne balira okutuusa nga n'otwanyi otukaaba tubaweddemu.
5
Baka Dawudi ababiri baali bawambiddwa: Akinowamu ow'e Yezureeli ne Abigayili eyali muka Nabali ow'e Karumeli.
6
Dawudi n'awulira ennaku nnyingi nnyo, anti abantu baali bagamba kya kumukuba mayinja, kubanga buli musajja omutima gwe gwali gunyolwa olwa batabani be ne bawala be. Naye Dawudi n'asanga amaanyi mu Mukama Katonda we,
7
n'agamba Abiyatari kabona, mutabani wa Akimeleki nti: “Efodi ginzigireyo.” Abiyatari efodi n'agireetera Dawudi.
8
Dawudi ne yeebuuza ku Mukama nti: “Mpondere ekikwanga ky'abanyazi bano? Nnaabakwata ne nnunula abasibe?” N'amugamba nti: “Bawondere; ojja kubakwata n'okununula onunule bye banyaze.”
9
Dawudi n'agenda ko n'abasajja olukaaga abaali naye. Bwe baatuuka ku Kiwonvu Besori, abamu ne bakoma awo.
10
Ye Dawudi n'awondera ne basajja be ebikumi bina; abaasigalira, ebikumi bibiri, baali bakooye nga tebasobola kusomoka Kiwonvu Besori.
11
Ne basanga omusajja Omumisiri eyo ku ttale, ne bamutwala eri Dawudi, ne bamuwa emmere n'alya, n'amazzi n'anywa;
12
ne bamuwa n'ekitole ky'entontogolo z'omukunyu enkaze n'ebirimba bibiri eby'emizabbibu emiwotose. Bwe yamala okubirya, n'addamu endasi, kubanga yali amaze ennaku ssatu n'ebiro bisatu nga talidde mmere, tanywedde tuzzi.
13
Dawudi n'amubuuza nti: “Ggwe oli w'ani? Ye ova wa?” N'amugamba nti: “Ndi Mumisiri; ndi muddu wa Mwamaleki; mukama wange yansuula wano, kubanga nali mulwadde, kati ziweze ennaku ssatu.
14
Twalumba Negevu ow'Abakereti, ne Negevu owa Yuda, ne Negevu owa Kalebu, ne Zikulagi ne tukiteekera omuliro.”
15
Dawudi n'amugamba nti: “Oyinza okunserengesaayo eri ekikwanga ky'abanyazi abo?” N'amuddamu nti: “Ndayirira Katonda nga tojja kunzita, era tompe mu mikono gya mukama wange, ndyoke nkuserengese eri ekikwanga ky'abanyazi abo.”
16
N'amuserengesaayo; bali baali batudde awo wonna nga balya, banywa, beesanyusa olw'omunyago gwonna n'ebintu bye baggye mu nsi y'Abafilisitiini n'eya Yuda.
17
Enkeera, Dawudi n'abalwanyisa okuva ku makya okutuusa akawungeezi; tewaali n'omu yawonawo, okuggyako abasajja ebikumi ebina abavubuka abaalinnya eŋŋamiya ne badduka.
18
Dawudi yanunula byonna Abaamaleki bye baali batutte, omwali ne bakazi be ababiri.
19
Tewaali yabulako, wadde omuto wadde omukulu, ku balenzi ne ku bawala; tewali kyabulako ku munyago ne ku buli kintu kyonna ekyali kitwaliddwa; byonna Dawudi yabikomyawo.
20
Dawudi n'akwata endiga n'ente, basajja be ne babigoba nga bamukulembeddemu, nga bagenda boogera nti: “Guno munyago gwa Dawudi.”
21
Dawudi n'ajja eri abasajja ebikumi ebibiri, abaasigalira nga bakooye ne batasobola kumugoberera, amale abalagire okusigala ku Kiwonvu Besori. Ne bajja okusisinkana Dawudi n'abantu abaali naye; Dawudi n'abasemberera, n'abalamusa.
22
Naye abamu ku basajja abaali bagenze ne Dawudi, ababi empongabyoya, ne bagamba nti: “Nga bwe bataagenda naffe, tetujja kubawa ku munyago gwe tununudde, wabula buli omu afune mukazi we n'abaana, bagende.”
23
Naye Dawudi n'agamba nti: “Baganda bange, temukola mutyo ku bino Omukama by'atuwadde; yatukuuma, ebikwanga by'abanyazi ebyali bitulumbye n'abituwa mu mikono gyaffe.
24
Ani anaabawuliriza nga mwogera ebyo? Omugabo gunaaba gwe gumu eri eyaserengeta ku lutalo n'oli eyasigala ku migugu; bonna ba kugabana kyenkanyi.”
25
Okuva ku olwo, ekyo ne kifuuka etteeka n'enkola mu Yisirayeli n'okutuusa ku lunaku lwa leero.
26
Awo Dawudi bwe yadda mu Zikulagi, ku munyago n'aggyako ebimu n'aweerezaako abakadde mu Yuda abaali mikwano gye, ng'agamba nti: “Akalabo kaako akaggyiddwa ku munyago oguggyiddwa ku balabe b'Omukama.”
27
N'aweereza abaali mu Beteli, mu Ramoti ow'omu Negevu, ne mu Yattiri;
28
mu Aroweri, mu Sifumoti, ne mu Esutemowa;
29
mu Rakali, mu bibuga by'Abayerakumeeli, ne mu bibuga by'Abakeni;
30
mu Koruma, mu Bori-Asani, ne mu Ataki;
31
mu Keburoni, ne mu bifo ebirala Dawudi ne basajja be mwe baabungeeteranga.
← Chapter 29
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 31 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31