bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
1 Samuel 13
1 Samuel 13
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 12
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 14 →
1
Sawulo yafuuka kabaka nga wa myaka (asatu). Yafugira Yisirayeli emyaka (ana mu) ebiri.
2
Sawulo yalonda abasajja enkumi ssatu okuva mu Yisirayeli, ate mu Mikumasi ne mu Beteli waaliyo enkumi bbiri abaali naye; ate olukumi lwali ne Yonatani mu Gibewa ekya Benyamiini. Abantu abalala n'abasiibula, buli omu n'adda mu weema ye.
3
Yonatani yalumba enkambi y'Abafilisitiini eyali mu Geba. Abafilisitiini ne bakiwulira. Sawulo n'afuuwa eŋŋombe mu ggwanga wonna, n'agamba nti: “Abeebureeyi bawulire.”
4
Yisirayeli yenna n'awulira; ne bagamba nti: “Sawulo amaze n'akuba enkambi y'Abafilisitiini, Yisirayeli akyayiddwa mu Bafilisitiini.” Abantu ne bayitibwa eri Sawulo mu Gilugali.
5
N'Abafilisitiini ne bakuŋŋaana okulwanyisa Yisirayeli: ebigaali enkumi ssatu, n'abeebagazi b'oku bigaali kakaaga, n'abantu abalala nkumu, nga bangi ng'omusenyu ku lubalama lw'ennyanja. Ne bambuka ne basiisira e Mikumasi ebuvanjuba wa Beti-Aveni.
6
Abayisirayeli bwe baalaba nga bali mu kattu, anti baali banyigiriziddwa; abantu ne beekweka mu mpuku ne mu busaka, ne mu njazi ne mu binnya ne mu nzizi.
7
Abeebureeyi abalala ne basomoka Yorudani, ne balaga mu nsi ya Gaadi n'eya Gileyaadi. Sawulo yasigala Gilugali, abantu bonna ab'omu ggye lye abaali bamugoberera ne bakankana olw'okutya.
8
N'alindirira ennaku musanvu okutuusa ku kadde Samweli ke yali alaze, naye nga Samweli tatuuka mu Gilugali; abantu ne batandika okusaasaana.
9
Sawulo n'agamba nti: “Mundeetere ekitone eky'ekitambiro ekyokye n'eky'ekitambiro eky'okussa ekimu;” n'aweereza ekitambiro ekyokye.
10
Aba amaliriza ati okuweereza ekitambiro ekyokye, ne Samweli n'atuuka; Sawulo n'agenda okumusisinkana amwanirize.
11
Samweli n'amugamba nti: “Kiki ky'okoze?” Sawulo n'ayanukula nti: “Bwe ndabye ng'abantu batandise okusaasaana, nga naawe tozze mu nnaku ze walaga, bo Abafilisitiini nga beekuŋŋaanya e Mikumasi,
12
awo ne ndowooza nti Abafilistini bajja kukkirira okunnumba e Gilugali ate nange nga sinnaba kusaba Mukama mukisa, ne mpalirizibwa okuweereza ekitambiro ekyokye.”
13
Samweli n'agamba Sawulo nti: “Okoze kya busiru; tewakuumye kiragiro kya Mukama Katonda wo kye yakulagira; singa bwe wabadde okoze, tewali kubuusabuusa Omukama yandinywezezza obwakabaka bwo ku Yisirayeli emirembe gyonna.
14
Naye kati obwakabaka bwo tebukyanywedde; Omukama yeenoonyerezzaayo omusajja omutima gwe gwe gusiimye; amutaddewo abeere omukulembeze w'abantu be, kubanga ggwe tokuumye Mukama bye yalagira.”
15
Samweli n'asituka, n'ava e Gilugali ne yeetambulira gage. Bo abantu abalala ne bagoberera Sawulo okusisinkana eggye ly'abatabaazi. Ne bava e Gilugali ne balaga e Gibewa ekya Benyamiini. Sawulo n'abala abantu abaali naye ku olwo baali bawera abasajja nga lukaaga.
16
Sawulo yali mu Geba ekya Benyamiini ne Yonatani mutabani we, n'abantu be baali nabo; bo Abafilisitiini baali basiisidde Mikumasi.
17
Mu nsiisira z'Abafilisitiini waavangayo ebibinja bisatu ebyagendanga okunyaga: ekimu kyakwatanga kkubo ly'e Ofura mu kitundu ky'e Suwali;
18
ekirala kyagendanga Beti-Koroni, n'ekyokusatu nga kigenda mu bitundu by'ensalo ebitunudde wansi mu Kiwonvu Zeboyimu okwolekera eddungu.
19
Mu nsi ya Yisirayeli mwonna temwali muweesi, kubanga Abafilisitiini baali bagambye nti: “Sikulwa ng'Abeebureeyi baweesa ebitala n'amafumu.”
20
Yisirayeli yenna yakkiriranga eri Abafilisitiini okuwagala enkumbi zaabwe, obusimo, embazzi n'ebiwabyo.
21
Okuwagaza enkumbi n'obusimo nga basasula ebyokusatu bibiri ebya sekeli eya ffeeza; ate okuwagaza embazzi n'okusongoza emiwunda nga basasula kyakusatu ekya sekeli eya ffeeza.
22
Ku lunaku olw'okulwana e Mikumasi abatabaazi bonna abaali ne Sawulo ne Yonatani tewaali yasangibwa na kitala wadde effumu, okuggyako Sawulo ne Yonatani be baasangibwa nabyo.
23
Ekibinja ekimu eky'enkambi y'Abafilisitiini ne kyolekera omukutu gw'e Mikumasi.
← Chapter 12
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 14 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31