bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
1 Samuel 12
1 Samuel 12
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 11
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 13 →
1
Samweli yagamba Yisirayeli yenna nti: “Mpulirizza byonna bye mwaŋŋamba, ne mbateerawo kabaka.
2
Kati wuuyo mulina kabaka ow'okubakulembera. Nze nkaddiye, ndi wa nvi; bo abaana bange bali nammwe. Mbakulembedde okuva mu buvubuka n'okutuusa ku lunaku lwa leero.
3
Nzuuno nno. Munnumirize mu maaso g'Omukama ne mu maaso g'omusiige we: Ani gwe nali ntwalidde ente ye? Ani gwe nali ntwalidde endogoyi ye? Ani gwe nali ndyazaamaanyizza? Ani gwe nanyigiriza? Ani gwe nali nzigye enguzi mu ngalo ze n'enziba amaaso? Bw'abaawo, nzija kumugatta.”
4
Ne baddamu nti: “Totulyazaamaanyanga oba okutunyigiriza; toliiko gwe wali oggyeeko kintu n'omu.”
5
N'abagamba nti: “Omukama ye mujulirwa anaabalumiriza olwa leero, era n'omusiige we, nti temuzudde kintu na kimu mu mikono gyange.” Ne bakkiriza nti: “Ye mujulirwa.”
6
Samweli n'agamba abantu nti: “Omukama ye yalonda Musa ne Aroni, era eyaggya bajjajjammwe mu nsi y'e Misiri.
7
Kale nno muyimirire wano mu maaso g'Omukama, kubanga ŋŋenda okubalumiriza n'eby'ekisa byonna Omukama bye yabakolera ne bye yakolera bajjajjammwe.
8
Yakobo bwe yajja mu Misiri, bajjajjammwe baalaajanira Omukama, Omukama n'atuma Musa ne Aroni, ne baggya bajjajjammwe mu Misiri, ne babassa mu kifo kino.
9
Beerabira Omukama Katonda waabwe, naye n'abawaayo mu mikono gya Sisera omukulu w'eggye ly'e Kazori, ne mu mikono gy'Abafilisitiini, ne mu mikono gya kabaka w'Abamowabu, abaabalwanyisa.
10
Oluvannyuma baalaajanira Omukama ne bagamba nti: ‘Tukoze ekibi, kubanga tulese Omukama ne tuweereza Babaali ne Baasutoreti; naye kati tununule mu mikono gy'abalabe baffe, tujja kukuweereza.’
11
Omukama n'atuma Yerubbaali, ne Baraki, ne Yefuta, ne Samweli, ne babanunula mu mikono gy'abalabe bammwe ku njuyi zonna; ne mutuula ntende.
12
“Bwe mwalaba nga Nakasi kabaka w'Abammoni abalumbye, mwaŋŋamba nti: ‘Nedda. Ka kabaka atufuge,’ sso ng'Omukama Katonda wammwe ye yali abafuga.
13
Kale nno kabaka wammwe wuuyo gwe mwalonda, gwe mwasaba; Omukama wuuyo abateereddewo kabaka.
14
Bwe muliba mutidde Omukama, ne mumuweereza, ne mumuwulira, ne mutajeemera biragiro bye, mmwe ne kabaka wammwe abafuga ne mugoberera Omukama Katonda wammwe, kale.
15
Naye bwe mutaliwulira ddoboozi lya Mukama, ne mujeemera ebiragiro bye, Omukono gw'Omukama gugenda kubanyigiriza nga bwe gwanyigiriza bajjajjammwe.
16
“Kati muyimirire, temunyeenya, mulabe ekintu kino ekikulu Omukama ky'agenda okukola mu maaso gammwe.
17
Kati si makungula ga ŋŋano? Ŋŋenda kukowoola Omukama aleete laddu n'enkuba; munaamanya ne mulabira ddala nti ensobi yammwe yali nnene gye mwakola mu maaso g'Omukama okwesabira kabaka.”
18
Samweli n'akoowoola Omukama, Omukama n'ata laddu n'atonnyesa n'enkuba ku olwo. Abantu bonna ne batya nnyo Omukama ne Samweli.
19
Abantu bonna ne bagamba Samweli nti: “Sabira abaweereza bo eri Omukama Katonda wo, tuleme kufa; anti twongedde nsobi ku bibi byaffe byonna okwesabira kabaka.”
20
Samweli n'agumya abantu nti: “Muleke kutya. Mukoze ekibi ekyenkana wano, naye muleme kuva ku Mukama, wabula muweereze Omukama n'omutima gwammwe gwonna.
21
Temukyukira eri bifaananyi bya balubaale ebitagasa; tebijja kubaako kalungi ke bibakolera era tebijja kubawonya, kubanga temuli kantu.
22
Mu mazima, Omukama tajja kwabulira bantu be olw'okubeera erinnya lye ekkulu, kubanga Omukama ye yasiima okubeefuulira abantu be.
23
Naye nze mwene, kikafuuwe okukola ekibi ekyenkana awo eri Omukama, nga ndekayo okubasabira n'okubayigiriza ekkubo eddungi, ettuufu.
24
Awo nno mutye Omukama, mumuweereze mu bwesimbu n'omutima gwammwe gwonna; mwefumiitirize by'akoze mu mmwe.
25
Bwe muliba mugugubidde mu bubi bwammwe, mmwe ne kabaka wammwe mugenda kusaanyizibwawo.”
← Chapter 11
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 13 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31