bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
1 Samuel 26
1 Samuel 26
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 25
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 27 →
1
Ab'e Zifu ne bajja eri Sawulo mu Gibewa nga bagamba nti: “Dawudi si wuuli teyeekwese mu lusozi Kakila olutunuulidde Kesumoni?”
2
Sawulo n'asituka n'aserengeta mu ddungu ly'e Zifu, n'abasajja enkumi ssatu abalondobe mu Yisirayeli, n'agenda anoonye Dawudi mu ddungu ly'e Zifu.
3
Sawulo n'asiisira ku lusozi Kakila olutunuulidde Kesumoni; Dawudi ye yalinga mu ddungu. Bwe yalaba Sawulo ng'amuwondedde,
4
n'atuma abakessi, n'akakasiza ddala nti Sawulo azze.
5
Dawudi n'asituka n'ajja mu kifo Sawulo gye yali. Yalaba ekifo Sawulo ne Abuneri mutabani wa Neri omukulu w'eggye lya Sawulo we beebase mu lusiisira, eggye lyonna nga limwetoolodde,
6
Dawudi n'agamba Akimeleki Omukitti, ne Abisayi mutabani wa Zeruya muganda wa Yowabu nti: “Ani anaaserengeta nange ewa Sawulo mu lusiisira?” Abisayi n'agamba nti: “Nze nzija kuserengeta naawe.”
7
Dawudi ne Abisayi ne bagenda ekiro eri eggye, ne basanga Sawulo nga yeebase mu lusiisira, effumu lye nga lisimbiddwa mu ttaka awo emitwetwe; Abuneri n'abantu be baali beebase okumwetooloola.
8
Abisayi n'agamba Dawudi nti: “Olwa leero Katonda omulabe wo amukuwadde mu mikono gyo; leka mmutungire ku ttaka ku lufumita lumu, sijja kumufumita gwakubiri.”
9
Dawudi n'agamba Abisayi nti: “Tomuzikiriza. Ani agololera omukono gwe ku musiige w'Omukama n'atazza musango?”
10
Dawudi n'agamba nti: “ Mazima Omukama nga mulamu, Omukama alimutta; obudde bwe bulituuka n'afa, oba aliba akkiridde mu lutalo gy'alisaanyizibwawo.
11
Omukama ansaasire! Kikafuuwe nze okugololera omukono gwange ku musiige w'Omukama. Kale nno kwata effumu erimuli awo emitwetwe n'ensumbi y'amazzi tugende.”
12
Dawudi n'akwata effumu n'ensumbi y'amazzi eyali emitwetwe wa Sawulo, ne bagenda. Tewaaliwo n'omu yalaba wadde eyatunula, era tewaali yazuukuka, kubanga Omukama yali abeebasizza otulo tungi.
13
Dawudi n'asomoka, n'adda ku luuyi olulala, n'ayimirira ku lusozi waggulu nga yeesuddeko akabanga, mu makkati gaabwe nga waliwo ebbanga.
14
Dawudi n'akoowoola eggye ne Abuneri mutabani wa Neri nti: “Owange Abuneri, tooyanukule?” Abuneri n'ayanukula n'agamba nti: “Ggwe ani ayita kabaka?”
15
Dawudi n'agamba Abuneri nti: “Toli musajja? Mu Yisirayeli ani akufaanana? Lwaki tokuumye mukama wo kabaka? Kale waliwo omuntu eyazze okutta kabaka mukama wo.
16
Ekyo ky'okoze si kirungi. Nga njogera amazima mu maaso g'Omukama, ggwe ne basajja bo mugwanidde kufa, kubanga temwakuumye mukama wammwe, omusiige w'Omukama. Mulabe, effumu lya kabaka n'ensumbi ye ey'amazzi ebimubadde awo emitwetwe biri wa?”
17
Sawulo n'ategeera eddoboozi lya Dawudi, n'agamba nti: “Eryo eddoboozi liryo, mwana wange Dawudi?” Ko Dawudi nti: “Eddoboozi lyange, mukama wange kabaka.”
18
N'agamba nti: “Lwaki mukama wange ayigganya omuweereza we? Kiki kye nakola? Musango ki gwe nazza?
19
Kale nno, nkwegayiridde, mukama wange kabaka, wulira ebigambo by'omuweereza wo. Oba Mukama y'akusindika okunnumba, akkirize ekitone; oba bantu be bakikola, bavumirirwe mu maaso g'Omukama, kubanga bangobye olwa leero nneme kugabana mu busika bwa Mukama, nga bagamba nti: ‘Genda, oweereze balubaale.’
20
Nsaba omusaayi gwange guleme kuyiika mu nsi ewala okuva mu maaso g'Omukama, kubanga kabaka wa Yisirayeli avuddeyo awenje enkukunyi emu, ng'oli ayigga enkwale mu lusozi.”
21
Sawulo n'agamba nti: “Nkoze kibi. Komawo, mwana wange Dawudi; sijja kuddayo kukukolera bubi, kubanga olwa leero obulamu bwange obututte nga kya muwendo mu maaso go. Mazima nakola kya busiru; nawubwa nnyo.”
22
Dawudi n'ayanukula n'agamba nti: “Effumu lya kabaka liirino; omu ku baweereza asomoke ajje alitwale.
23
Omukama aweere buli omu ng'alabira ku butuukirivu bwe n'obwesigwa bwe. Olwa leero Omukama yakumpadde mu ngalo zange, ne ssaagala kugololera mukono gwange ku musiige wa Mukama.
24
Mazima obulamu bwo nga bwe bussiddwamu ekitiibwa olwa leero mu maaso gange, n'obwange bwe buba bussibwamu ekitiibwa mu maaso g'Omukama, amponye okubonaabona kwonna.”
25
Sawulo n'agamba Dawudi nti: “Mutabani Dawudi, oweebwe omukisa; okukola ojja kukola era ojja kuwangulanga.” Dawudi n'akwata amakubo ge, ne Sawulo n'adda eka.
← Chapter 25
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 27 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31