bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
1 Samuel 21
1 Samuel 21
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 20
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 22 →
1
Dawudi n'asituka n'agenda; ne Yonatani n'addayo mu kibuga.
2
Dawudi n'agenda e Nobu ewa Akimeleki kabona; Akimeleki n'akankana bwe yasisinkana Dawudi, n'amugamba nti: “Lwaki oli bw'omu, tewali n'omu ali naawe?”
3
Dawudi n'agamba Akimeleki kabona nti: “Kabaka yantumye omulimu, n'agamba nti: ‘Tewabaawo amanya kantu ku ebyo bye nkutumidde, n'ebiragiro bye nkuwadde.’ Bo abasajja bange nabagambye mbasisinkane mu kifo ekimu.
4
Kale nno oba olinawo emigaati etaano, gimpe, oba kyonna ky'onooba osanze.”
5
Kabona n'ayanukula Dawudi n'amugamba nti: “Sirinaawo kati migaati gya bulijjo, wabula emigaati emitukuvu; kasita basajja bo baba nga tebeeriraanyizza bakazi.”
6
Dawudi n'ayanukula kabona nti: “Kituufu, abakazi baakuumiddwa wala ne we tuli, era nga bwe kibadde n'okutuusa kati buli lwe ŋŋenda okutabaala. Emibiri gy'abasajja bange bulijjo giba mitukuvu, newandibadde ku ŋŋendo eza bulijjo; leero alabisa kati; emibiri gyabwe mitukuvu.”
7
Kabona n'amuwa emigaati emitukuvu, engeri gye wataali migaati mirala, wabula Emigaati egy'Okwolesebwa egyali giggyiddwa mu maaso g'Omukama, mu kifo kyagyo ne wateekebwawo emisu ku olwo.
8
Awo waaliwo omusajja omu ku baweereza ba Sawulo, eyali asibiddwa mu maaso g'Omukama ku olwo, erinnya lye Dowegi Omwedomu, omukulu w'abalunzi ba Sawulo bonna.
9
Dawudi n'agamba Akimeleki nti: “Olinawo wano effumu oba ekitala? Kubanga ekitala kyange n'ebyokulwanyisa byange sazze nabyo; kabaka yantumye bya mangu.”
10
Kabona n'agamba nti: “Wano waliwo ekitala kya Goliyati Omufilisitiini gwe wattira mu Kiwonvu Ela; kizingiddwa mu lugoye, emabega wa efodi. Oba okyagala kitwale, anti tewali kirala, okuggyako ekyo.” Dawudi n'agamba nti: “Mpaawo kikyenkana, kimpe.”
11
Dawudi bw'atyo n'asituka, n'adduka Sawulo ku olwo, n'ajja ewa Akisi kabaka w'e Gati.
12
Abaweereza ba Akisi ne bamugamba nti: “Ono si ye Dawudi kabaka w'ensi? Si y'ono gwe baali bayimba nga bazina nga bagamba nti: “ ‘Sawulo asse enkumi ze, ne Dawudi obukumi bwe.’ ”
13
Dawudi ebigambo ebyo n'abissa mu mutima gwe, n'atya nnyo Akisi, kabaka w'e Gati.
14
Ne yeefuula ng'omulalu mu maaso gaabwe; bwe baamukwata ne yeesuulamu akalogojjo, ne yeewandiisa ku nzigi z'omulyango, n'aleka n'amalusu ne gakulukutira mu kirevu kye.
15
Akisi n'agamba abaweereza be nti: “Mulabe, omuntu mulalu. Lwaki mumundeetedde?
16
Abalalu sirina abamala okuyingiza ono alalukire we ndi? Oyo asaana okuyingira mu nnyumba yange?”
← Chapter 20
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 22 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31