bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
1 Samuel 9
1 Samuel 9
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 8
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 10 →
1
Mu Benyamiini mwalimu omusajja, erinnya lye Kisi, mutabani wa Abiyeli, mutabani wa Zerori, mutabani wa Bekorati, mutabani wa Afiya, Omubenyamiini, nga musajja mugagga
2
Yalina mutabani we ayitibwa Sawulo, nga muvubuka mulungi, atalina amwenkana bulungi mu bantu ba Yisirayeli, mu buwanvu ng'asooloobye ku bantu bonna okuva ku kibegabega okudda waggulu.
3
Olumu endogoyi za Kisi, kitaawe wa Sawulo zaabula; Kisi n'agamba mutabani we nti: “Genda n'omu ku balenzi, onoonye endogoyi.”
4
Sawulo n'ayita mu nsozi za Efurayimu, ne mu nsi y'e Salisa, naye tezaaliyo; n'agenda ne mu bitundu by'e Saalimu, era tezaaliyo; n'asalira mu nsi y'e Yemiini, era tebaazisanga.
5
Bwe batuuka mu nsi y'e Zufu, Sawulo n'agamba omulenzi gwe yali naye nti: “Gira tuddeyo, sikulwa nga kitange eby'okweraliikirira endogoyi abivaako, ate ne yeeraliikirira ffe.”
6
Omulenzi n'amugamba nti: “Mu kibuga muno mulimu omuntu wa Katonda, musajja wa kitiibwa, buli ky'ayogera mazima kituukirira; gira tugendeyo oboolyawo anaatutegeeza ekkubo lye twandikutte.”
7
Sawulo n'agamba omulenzi nti: “Bwe tugendayo; kiki kye tunaawa omusajja? Mu nsawo zaffe temukyali mugaati; tetulinaawo kalabo ka kutwalira muntu wa Katonda. Tulina ki?”
8
Omulenzi n'addamu Sawulo nti: “Wano nninawo ekyokuna kya sekeli eya ffeeza; nzija kugiwa omuntu wa Katonda, atutegeeze ekkubo lye tuba tukwata.”
9
Edda, mu Yisirayeli yenna, buli yenna eyagendanga okwebuuza ewa Katonda, yagambanga nti: “Tugende eri omulabi;” kubanga kati ayitibwa omulanzi edda yayitibwanga mulabi.
10
Sawulo n'agamba omulenzi nti: “Oyogedde bulungi; tugende.” Ne bagenda mu kibuga omusajja wa Katonda gye yali.
11
Bwe baali bambuka akasozi okulaga mu kibuga, ne basanga abawala nga bafuluma okukima amazzi, ne bababuuza nti: “Muno mulimu omulabi?”
12
Bo ne baanukula nti: “Mw'ali; akuli awo mu maaso. Mwanguyire; azze olwa leero mu kibuga, kubanga olwa leero waliwo ekitambiro ky'abantu eri ku kifo ekigulumivu.
13
Bwe munaaba muyingira muti mu kibuga, mujja kumusanga nga tannayambuka mu kifo ekigulumivu okulya; anti abantu tebayinza kulya ye nga tannatuuka, kubanga alina okuwa ekitambiro omukisa, ababa bayitiddwa ne balyoka balya. Mwambuke mangu; mujja kumusanga mu kadde kano.”
14
Ne bambuka mu kibuga. Baali bayingira bati mu kibuga, nga ku Samweli ono; yali afuluma ng'ajja gye bali, ayambuke ku kifo ekigulumivu.
15
Ku lunaku olwakulembera, Omukama yali amaze okubikkulira Samweli nti:
16
“Mu budde nga buno enkya nzija kukutumira omusajja ow'omu nsi ya Benyamiini. Musiige omuzigo, abeere omukulembeze w'abantu bange Yisirayeli; y'alinunula abantu bange mu mikono gy'Abafilisitiini. Kubanga ndabye abantu bange; okulaajana kwabwe kutuuse gye ndi.”
17
Samweli bwe yalaba Sawulo, Omukama n'amugamba nti: “Oyo ye musajja gwe nakugambyeko; y'oyo anaafuga abantu bange.”
18
Sawulo n'asembera eri Samweli ku mulyango, n'agamba nti: “Ssebo, mbuulira, ennyumba y'omulabi eri ludda wa?”
19
Samweli n'ayanukula Sawulo nti: “Nze mulabi; nkulemberaamu oyambuke eri ku kifo ekigulumivu, kubanga leero ojja kulya nange ate enkya nkuleke ogende, na byonna ebiri mu mutima gwo nzija kubikwoleka.
20
Endogoyi ezaakubulako kati ennaku ssatu, tozeeraliikirira, kubanga zizuuse. Ani kati Yisirayeli gw'esinga okwetaaga? Si ye ggwe n'ennyumba ya kitaawo yonna?”
21
Sawulo ye n'ayanukula, n'agamba nti: “Nze siri Mubenyamiini, ekika kyange si kye kisingirayo ddala obutono mu Yisirayeli? N'essiga lyange si lye lisemberayo ddala mu masiga gonna mu kika kya Benyamiini? Lwaki oŋŋambye ebigambo ebyo?”
22
Samweli n'ayingiza Sawulo n'omuweereza we mu ddiiro, n'abatuuza ku lubu olukulembera endala zonna ez'abaali bayitiddwa; baali bawera ng'amakumi asatu.
23
Samweli n'agamba omufumbi nti: “Weereza ekifi ky'ennyama kye nakuwadde ne nkugamba okyawuleko.”
24
Omufumbi n'asitula ekisambi n'ebigenderako, n'abissa mu maaso ga Sawulo, Samweli n'amugamba nti: “Kino kye kyakuterekeddwa, kwata olye; kubanga kyaterekeddwa okutuusa ku kadde akalagiddwa, okuva lwe nagambye abantu nti ‘Nnina abagenyi abayite.’ ” Ku olwo Sawulo yalya wamu ne Samweli.
25
Bwe baava ku kifo ekigulumivu, ne baserengeta mu kibuga, Samweli n'anyumya ne Sawulo ku bbalaza waggulu.
26
Mmambya ng'asala ne bazuukuka, Samweli n'ayita Sawulo ku bbalaza waggulu nti: “Zuukuka, nkusiibule.” Sawulo n'azuukuka; ne bafuluma bombi, ye ne Samweli.
27
Bwe baali baserengeta nga batuuse ekibuga we kiggweerako, Samweli n'agamba Sawulo nti: “Omulenzi mugambe yeeyongereyo mu maaso gaffe.” Omulenzi ne yeeyongerayo mu maaso. Samweli n'agamba Sawulo nti: “Ggwe yimiriramu katono nkubuulire ekigambo kya Katonda.”
← Chapter 8
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 10 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31