bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
1 Samuel 8
1 Samuel 8
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 9 →
1
Samweli bwe yakaddiwa, n'assaawo batabani be balamule Yisirayeli,
2
mutabani we omuggulanda nga ye Yoweli, ate owookubiri nga ye Abiya; baalamuliranga Beeriseba.
3
Naye batabani be tebaatambulira mu makubo ge; baawugulwa omululu gw'okufuna, ne balya enguzi, era nga basaliriza.
4
Awo abakadde bonna mu Yisirayeli ne bakuŋŋaana, ne bajja eri Samweli mu Rama,
5
ne bamugamba nti: “Wuuno ggwe okaddiye n'abaana bo tebatambulira mu makubo go, kale nno tuteerewo kabaka y'aba atulamula nga bwe kiri mu mawanga gonna.”
6
Bwe baagamba nti: “Tuteerewo kabaka atulamule,” ebigambo ebyo ne bitasanyusa Samweli; Samweli ne yeegayirira Omukama;
7
Omukama n'agamba Samweli nti: “Abantu bawulirize mu byonna bye bakugamba; si ggwe gwe bagaanyi, wabula nze gwe bagaanyi okuba kabaka waabwe.
8
Nga bwe bazze bakola bukya mbaggya Misiri n'okutuusa ku lunaku lwa leero, nga bandekawo ne baweereza balubaale, naawe bwe bakukoze.
9
Kale nno bawulirize; kyokka balabulire ddala obamanyise enkola ya kabaka agenda okubafuga bw'eneeba.”
10
Samweli n'abuulira abantu abaali basabye kabaka byonna Omukama bye yali ayogedde.
11
N'agamba nti: “Kabaka anaabafuga bino by'ajja okubakola: ajja kussa batabani bammwe ku kulabirira ebigaali bye n'embalaasi ze; banaddukanga nga bakulembeddemu ebigaali bye.
12
Abamu ajja kubafuula bagabe ba bibinja eby'enkumi n'eby'ekikumi, abalala balimenga mu nnimiro ze n'okukungulanga mu makungula ge; abandi abasse ku gw'okuweesa eby'okulwanyisa n'ebyuma eby'oku bigaali bye.
13
Ajja kutwala bawala bammwe bakolenga omuzigo ogw'okusaaba, bafumbenga, era bakolenga emigaati.
14
Ennimiro zammwe ez'emizabbibu n'oliva ezisingira ddala obulungi alizitwala n'aziwa abaweereza be.
15
Ajja kuddira ekyekkumi ku ebyo bye mukungudde mu nnimiro zammwe, ne ku bye munoze ku mizabbibu n'oliva, abiwe abakungu be n'abaweereza.
16
Abaddu bammwe n'abazaana n'ente zammwe ezisingira ddala obulungi n'endogoyi wa kubitwala abikozese.
17
Amagana gammwe wa kuggyangako ekyekkumi, nammwe mulifuuka baddu be.
18
Ku olwo muliwanjaga olwa kabaka wammwe gwe mwerondedde, naye Omukama tagenda kubawuliriza.”
19
Abantu baagaana okuwuliriza Samweli, wabula baagamba bugambi nti: “Tewali! Kabaka y'anaatufuga.
20
Naffe tunaaba ng'amawanga amalala gonna, nga tulina kabaka anaatulamulanga anaatukulemberangamu era anaatulwaniranga entalo zaffe.”
21
Samweli n'awulira byonna abantu bye bagamba, n'abibuulira Omukama.
22
Omukama n'agamba Samweli nti: “Wuliriza kye bagamba obawe kabaka.” Samweli n'asiibula abantu ba Yisirayeli nti: “Buli omu adde mu kibuga kye.”
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 9 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31