bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
1 Samuel 15
1 Samuel 15
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 14
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 16 →
1
Samweli n'agamba Sawulo nti: “Omukama yantuma nze, nkusiige, obeere kabaka w'eggwanga lye Yisirayeli. Kale nno wulira Omukama ky'akugamba.
2
Omukama w'Amagye agamba bino. ‘Ŋŋenda kubonereza Amaleki olw'ebyo bye yakola Yisirayeli, bwe yamuteega mu kkubo lwe yali ayambuka ng'ava mu Misiri.
3
Kale nno, genda olumbe Amaleki osanyizeewo ddala ebibye byonna; tobaako ky'otaliza; wabula tta buli musajja n'omukazi, n'omwana, n'ebbujje, n'ente, endiga, eŋŋamiya, n'endogoyi.’ ”
4
Sawulo n'ayita abantu e Telayimu, n'abala abatabaazi ab'ebigere obusiriivu bubiri n'abasajja ab'omu Yuda omutwalo gumu.
5
Sawulo bwe yatuuka ku kibuga kya Amaleki, n'ateegera mu lukonko.
6
Sawulo n'agamba Abakeni nti: “Mugende, muve awali Abaamaleki, nneme kubazikiririza wamu nabo, kubanga mmwe mwagirira ekisa Abayisirayeli bonna lwe baali bayambuka nga bava mu Misiri.” Abakeni ne bava awali Amaleki.
7
Sawulo n'atta Amaleki okuva e Kavila okutuuka w'ogendera e Suru ekiri ebuvanjuba wa Misiri.
8
Yawamba Agagi kabaka w'Amaleki nga mulamu, naye abantu abalala bonna n'abatta n'ekitala.
9
Sawulo n'eggye baataliza Agagi n'endiga, ente, obuyana obusavuwaze, n'obuliga ebisinga obulungi, kwe kugamba buli kirungi kyonna. Ebirungi tebaayagala kubizikiriza, naye buli ekinyoomebwa n'ekinafu baabisaanyaawo.
10
Ekigambo ky'Omukama ne kituuka ku Samweli nti:
11
“Nnyoleddwa okulaba nga nassaawo Sawulo abeere kabaka, kubanga anjabulidde, ne bye namugambye tabituukirizza.” Samweli n'anakuwala, n'alaajanira Omukama ekiro kyonna.
12
Samweli bwe yazuukuka ku makya, n'agenda okusisinkana Sawulo, naye Samweli ne bamubuulira nti: “Sawulo agenze ku Karumeli; eyo yeetereddeyo ekijjukizo, bw'akomyewo, ayise buyisi n'akkirira e Gilugali.”
13
Samweli bwe yatuuka awali Sawulo, Sawulo n'amugamba nti: “Omukama akuwe omukisa. Ntuukirizza Omukama bye yaŋŋambye.”
14
Samweli n'amugamba nti: “Ate okukaaba kw'endiga okuvuga mu matu gange, n'okuŋooŋa kw'ente kwe mpulira, biki bino?”
15
Sawulo n'agamba nti: “Abantu be baabireese okuva mu Baamaleki; abantu baatalizza endiga n'ente ezisinga obulungi, balyoke babitambirire Omukama Katonda wo; naye ebirala twabisaanyizaawo ddala.”
16
Samweli n'agamba Sawulo nti: “Lindako, ka nkubuulire Omukama bye yaŋŋambye ekiro.” Sawulo n'amugamba nti: “Yogera.”
17
Samweli n'agamba nti: “Newandibadde nga bwe weetunuulira wali okyali mwana bwana, tewafuuka mutwe gwa bika bya Yisirayeli? Omukama yakusiiga n'oba kabaka wa Yisirayeli,
18
Omukama n'akutuma omulimu ng'agamba nti: ‘Genda, otte Amaleki, abo aboonoonyi; balwanyise okutuusa ng'obasaanyizzaawo ddala.’
19
Kale lwaki tewawuliriza ddoboozi lya Mukama, ate ggwe n'odda ku munyago, n'okola ekibi mu maaso g'Omukama?”
20
Sawulo n'agamba Samweli nti: “Mu butuufu nawuliriza eddoboozi ly'Omukama. Nagenda Omukama gye yantuma; Agagi kabaka wa Amaleki namuleeta; Amaleki ne mmusaanyizaawo ddala.
21
Abantu be baalonze mu byanyagibwa endiga n'ente ebisinga obulungi, ebyali bisaliddwa okuzikirizibwa, balyoke babitambirire Omukama Katonda wo e Gilugali.”
22
Samweli n'agamba nti: “Omukama asanyukira ebitambiro ebyokye n'ebitone okwenkana bw'asanyukira okugondera eddoboozi ly'Omukama? Kituufu, obuwulize bukira ekitambiro, okutegereza kukira amasavu g'endiga ennume.
23
Obujeemu, kibi kya kulagulwa; olunkulu luli ng'obubi obuli mu kusinza balubaale. Kubanga wagaana ekiragiro ky'Omukama, naye akubodde ku bwakabaka.”
24
Sawulo n'agamba Samweli nti: “Nnyonoonye, kubanga nagaya ekiragiro ky'Omukama n'ebigambo byo. Natya abantu, ne ŋŋondera eddoboozi lyabwe.
25
Kale nno nkwegayiridde, nsonyiwa ekibi kyange, tuddeyo ffembi, nsinze Omukama.”
26
Samweli n'agamba Sawulo nti: “Sijja kuddayo naawe, kubanga wagaana Omukama kye yayogera; n'Omukama akubodde okuba kabaka wa Yisirayeli.”
27
Samweli bwe yakyuka agende, Sawulo n'akwata omukugiro gw'omunagiro gwe, ne guyulika.
28
Samweli n'amugamba nti: “Olwa leero Omukama ayuzizza obwakabaka bwo ku Yisirayeli n'abuwa munno akusingako obulungi.
29
Anti ‘Oyo Ekitiibwa kya Yisirayeli’ talimba, takyusa birowoozo, kubanga ye si muntu nti akyusa ky'alowooza.”
30
Sawulo n'agamba nti: “Nayonoona; naye mpisa n'ekitiibwa mu maaso g'abakadde b'abantu bange ne mu maaso ga Yisirayeli. Tuddeyo ffembi, nsinze Omukama Katonda wo.”
31
Samweli n'addayo ne Sawulo; Sawulo n'asinza Omukama.
32
Samweli n'agamba nti: “Mundeetere Agagi, kabaka wa Amaleki.” Agagi n'ajja gy'ali n'oluggumuggumu naye muli ng'alowooza nti: “Mazima obubalagaze bw'okufa buyise.”
33
Naye Samweli n'agamba nti: “Ng'ekitala kyo bwe kyamalako abakazi abaana, ne nnyoko mu bakazi banne bw'anaasigala nga talina baana!” Samweli n'atemaatema Agagi ebifi mu maaso g'Omukama mu Gilugali.
34
Samweli n'agenda mu Rama; ye Sawulo n'ayambuka mu nnyumba ye mu Gibewa ekya Sawulo.
35
Samweli teyaddayo kulaba ku Sawulo okutuusa okufa kwe; kyokka Samweli yakaabiranga Sawulo, naye Omukama n'anyolwa okuba nga yalonda Sawulo okuba kabaka wa Yisirayeli.
← Chapter 14
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 16 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31