bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
1 Samuel 25
1 Samuel 25
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 24
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 26 →
1
Samweli n'afa; Yisirayeli yenna n'akuŋŋaana, ne bamukungubagira, ne bamuziika mu maka ge e Rama. Dawudi n'asitula, n'akkirira mu ddungu ly'e Mawoni.
2
E Mawoni waaliyo omusajja ng'alina eby'obugagga e Karumeli, nga mugagga nnyo; yalina endiga enkumi ssatu n'embuzi lukumi. Mu bbanga eryo yali amwa endiga ze ebyoya e Karumeli.
3
Erinnya ly'omusajja oyo nga ye Nabali, ate mukazi we ng'ayitibwa Abigayili. Omukazi yali mugezi ate ng'afaanana bulungi; naye bba, eyali Omukalebu, nga mukambwe era nga mukodo mu mpisa ze.
4
Dawudi mu ddungu bwe yawulira nga Nabali amwa endiga ze ebyoya,
5
n'atuma abavubuka kkumi, n'abagamba nti: “Mwambuke e Karumeli; bwe mutuuka ewa Nabali, mumutuuseeko okulamusa kwange.
6
Muganda wange mumugambe nti: ‘Emirembe gibeere ku ggwe. Emirembe gibeere ku nnyumba yo. Emirembe gibeere ku byonna by'olina.
7
Nawulidde nti abamwa endiga ebyoya bali wuwo. Abasumba bo bwe baali naffe mu ddungu, tetwabasobezaako, ebbanga lyonna lye baamala e Karumeli tewali kyabwe kyababulako.
8
Buuza abaweereza bo, bajja kukutegeeza. Kale nno abalenzi bano basange ekisa mu maaso go, kasita ekiseera bazze mu kirungi; kyonna omukono gwo kye gunaaba gusangirizza, kiwe abaweereza bo ne mutabani wo Dawudi.’ ”
9
Abaweereza ba Dawudi bwe bajja, ne bagamba Nabali ebigambo ebyo byonna mu linnya lya Dawudi, ne balinda.
10
Nabali n'ayanukula abaweereza ba Dawudi nti: “Dawudi ye ani oyo? Mutabani wa Yesse ye ani oyo? Ennaku zino abaweereza abatoloka ku bakama baabwe beeyongedde.
11
Awo nzirire emigaati gyange n'amazzi gange n'ennyama ey'omu magana gye nattidde abamwa endiga zange ebyoya mpe abasajja be simanyi na gye bava?”
12
Abaweereza ba Dawudi ne bafunyamu, ne baddayo; bwe baakomawo, ne bamubuulira byonna.
13
Awo Dawudi n'agamba basajja be nti: “Buli omu yeesibe ekitala kye.” Buli omu ne yeesiba ekitala kye; ne Dawudi ne yeesiba ekikye, ne bagoberera Dawudi, abasajja nga bikumi bina; ebikumi ebibiri ne basigala ku migugu.
14
Omu ku baweereza n'abuulira Abigayili muka Nabali nti: “Dawudi yayimye mu ddungu n'asindika ababaka balamuse ku mukama waffe, naye ye n'abakkako kubavuma.
15
Sso nno abantu bano baatuyamba nnyo; sibaatutawaanya; tewali na kimu kyatubulako obudde bwonna bwe twaba nabo mu ddungu.
16
Ennaku zonna baali kigo kyaffe ekiro n'emisana lwe twali tulundira amagana eyo gye baali mu ddungu.
17
Olwekyo, wekkaanye, lowooza ky'onookola, kubanga akabi kaleebaleeba okugwira mukama waffe n'ennyumba ye yonna. Ate ye muntu mubi; tewali asobola kwogera naye.”
18
Abigayili naye teyabandaala, n'akwata emigaati ebikumi bibiri, n'endyanga bbiri ez'evviini, n'endiga ennume ttaano eziwedde okufumba, ne seya ttaano ez'eŋŋano ensiike, ebirimba by'emizabbibu egy'omuwotokwa kikumi, n'ebitole ebikumi bibiri eby'entontogolo z'emikunyu enkaze, n'abissa byonna ku ndogoyi,
19
n'agamba abaweereza be nti: “Munkulemberemu, nze nzija kubavaako ennyuma.” Bba Nabali teyamubuulira.
20
Bwe yali ali ku ndogoyi ye ng'aserengeta mu kikko ky'olusozi, Dawudi ne basajja be nabo baali baserengeta gy'ali, n'abasisinkana.
21
Dawudi yali agamba nti: “Wamma namala biseera okukuumira ono ebintu mu ddungu n'atabulwako na kimu ku bibye. Ekirungi akinzirizzaamu na kibi.
22
Katonda akole bw'atyo Dawudi n'abalabe be bonna, ate asinze nawo, singa we bunaakeerera nnaaba nkyaleseewo ayitibwa omusajja n'omu mu bonna b'alina.”
23
Abigayili bwe yalaba Dawudi, n'ayanguwa, n'ava ku ndogoyi n'agwa wansi ku maaso ge mu maaso ga Dawudi, n'avunnama ku ttaka.
24
N'agwa ku bigere bye n'agamba nti: “Mukama wange omusango gusinze nze; nkwegayiridde omuzaana wo leka ayogere gy'oli, wuliriza omuzaana wo ky'agamba.
25
Nkwegayiridde, mukama wange, leka kufa ku musajja oyo Nabali empongabyoya, kubanga musiru ng'erinnya lye bwe ligamba, bulijjo akola bya kisiru; nze muzaana wo ssaalabye baweereza ba mukama wange be watumye.
26
Mazima Omukama nga mulamu, naawe ggwe ng'oli mulamu, ng'Omukama bwe yakuwonyezza okuyiwa omusaayi n'okuwoolera eggwanga n'emikono gyo gyennyini, abalabe bo n'abo abaagala okukukola akabi bafuuke nga Nabali.
27
Kale nno ekirabo kino omuzaana wo ky'aleetedde mukama wange kkiriza kiweebwe abaweereza abagoberera mukama wange.
28
Nkwegayiridde sonyiwa ensobi z'omuzaana wo. Kubanga Omukama ajja kukolera mukama wange ennyumba ennywevu, kubanga mukama wange alwana ntalo za Mukama Omuyinza; Mu ggwe nno muleme kusangibwamu nsobi ennaku zonna ez'obulamu bwo.
29
Ne bwe walisitukawo omuntu akuyigganya okukutta, obulamu bwa mukama wange buliba bukuumirwa wagumu mu nsawo y'obulamu n'Omukama Katonda wo. Naye obulamu bw'abalabe bo yennyini alibukanyuga eri ng'ejjinja bwe liva mu nsawo y'envuumuulo.
30
Omukama bw'alimala okukolera mukama wange byonna bye yasuubiza ku ye, ng'akutaddewo ng'omukulembeze wa Yisirayeli,
31
toliba na mmeeme ekubagana oba ekuluma nti ate wayiwa musaayi n'olw'okuwoolera eggwanga nga weewonya. Omukama bw'aliba awadde omukisa mukama wange, ojjukiranga omuzaana wo.”
32
Dawudi n'agamba Abigayili nti: “Omukama Katonda wa Yisirayeli akusindise olwa leero okujja okunsisinkana atenderezebwe.
33
Naawe oweebwe omukisa olw'ennamula yo entuufu, n'olw'okumponya okuyiwa omusaayi olwa leero n'okuwoolera eggwanga n'omukono gwange.
34
Mazima Omukama Katonda wa Yisirayeli nga mulamu, anziyizza okukola akabi, toba kwanguwa kujja kunsisinkana, we bwandikeeredde wandibadde nga tewakyali ayitibwa musajja Nabali gw'asigazizza.”
35
Dawudi n'atwala byonna bye yamuleetera, era n'amugamba nti: “Ddayo mirembe ewammwe; nzikirizza ky'ogambye era nkusonyiye.”
36
Abigayili n'addayo ewa Nabali. Yasanga akoze embaga ewuwe mu nnyumba ng'eri ng'eya kabaka. Nabali yali acamuse, ng'atamidde nnyo; Abigayili n'atamubuulira kantu konna okutuusa enkeera.
37
Ku makya, Nabali ng'evviini emwamuseeko, mukazi we n'amubuulira; omutima ne gumufa muli, n'akalambala ng'ejjinja.
38
Waayitawo ennaku kkumi, Omukama n'akuba Nabali, n'afa.
39
Dawudi bwe yawulira nga Nabali afudde, n'agamba nti: “Omukama agulumizibwe alamudde ensonga yange ey'okunyooma Nabali kwe yannyoomamu; awonyezza omuweereza we okukola ekibi, ekibi kya Nabali Omukama n'akizza ku mutwe gwe.” Awo Dawudi n'atuma ewa Abigayili n'amusaba abeere mukazi we.
40
Baweereza ba Dawudi ne bagenda e Karumeli ewa Abigayili, ne bamugamba nti: “Dawudi atutumye gy'oli tukutwale ofuuke mukazi we.”
41
Ye n'asituka n'avunnama ku maaso ge ku ttaka, n'agamba nti: “Nzuuno omuzaana wo, neetegese okukuweereza n'okunaaza ebigere by'abaddu ba mukama wange.”
42
Abigayili n'ayita mu byangu, ne yeebagala endogoyi, n'awerekerwako abazaana be bataano, n'agoberera Dawudi be yatuma, n'afuuka mukazi we.
43
Era Dawudi yawasa ne Akinowamu ow'e Yezureeli; bombi ne baba bakazi be.
44
Sawulo n'addira Mikali muwala we, mukazi wa Dawudi, n'amuwa Paluti mutabani wa Layisi, eyali ow'e Gallimu.
← Chapter 24
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 26 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31