bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
1 Samuel 24
1 Samuel 24
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 23
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 25 →
1
Awo Dawudi n'ava eyo, n'agenda yeekweka mu ddungu ly'e Engedi.
2
Sawulo bwe yakomawo, ng'amaze okuwereekereza Abafilisitiini, ne bamubuulira nti: “Dawudi wuuli mu ddungu ly'e Engedi.”
3
Sawulo n'addira enkumi ssatu ez'abasajja abalondobe mu Yisirayeli yonna, n'asitula okugenda okunoonya Dawudi ne basajja be ku lwazi lw'e Yerimu.
4
N'ayitira awaali ebisibo by'endiga. Awo waaliwo empuku; Sawulo n'ayingira omwo okweteewuluzaako; naye nno Dawudi ne basajja be mwe baali munda ddala mu mpuku nga beekukumye.
5
Basajja ba Dawudi ne bamugamba nti: “Luuluno olunaku Omukama lwe yakugambako nti: ‘Ndikuwa abalabe bo mu mikono gyo obakole nga bw'oliba olabye’ ” Dawudi n'asituka n'asala ekirenge ky'omunagiro gwa Sawulo nga tawulira.
6
Naye ate oluvannyuma emmeeme Dawudi yamuluma olw'okusala ekirenge ky'omunagiro gwa Sawulo.
7
N'agamba basajja be nti: “Omukama ansaasire! Kikafuuwe nze okukola ekifaanana kityo mukama wange, omusiige w'Omukama, oba okumugololera omukono, kubanga musiige wa Mukama.”
8
N'ebigambo ebyo Dawudi n'akoma ku basajja be, n'atabakkiriza kusitukira mu Sawulo. Sawulo bwe yavaayo mu mpuku n'ayongera olugendo lwe.
9
Dawudi naye n'asituka n'afuluma empuku, n'akoowoola Sawulo nti: “Mukama wange kabaka.” Sawulo n'akebuka emabega; Dawudi n'akutama wansi ku maaso ge ku ttaka, n'amuvunnamira.
10
Dawudi n'agamba Sawulo nti: “Lwaki owulira ebigambo by'aboogezi abagamba nti: ‘Dawudi akunoonya akukole akabi?’
11
Olwa leero weerabiddeko ddala wennyini ng'Omukama olwa leero abadde akumpadde eri mu mpuku. Abamu baŋŋambye nkutte, naye nze ne nkusaasira. Ne ŋŋamba nti: ‘Sijja kugololera mikono gyange mukama wange, kubanga musiige wa Mukama.’
12
Kale, kitange, tunuulira wekkaanye ekirenge ky'omunagiro gwo mu ngalo zange. Nasaze ekirenge ku munagiro gwo naye saakusse. Manya era otegeere nti mu ngalo zange temuli kibi wadde omusango. Sikukolanga kibi, sso ggwe onjigganya onzite.
13
Omukama y'aba atusalirawo. Omukama y'aba awoolera eggwanga olw'ebyo by'onkoze; nze sijja kukukola kabi.
14
Ng'ab'edda bwe baageranga nti: ‘Mu babi muvaamu bikolwa bibi,’ ogwange omukono tegujja kukukwatako.
15
Kabaka wa Yisirayeli, ani ono gw'ovuddeyo okuwondera? Ani oyo gw'ogoba? Mbwa nfu oba kakukunyi?
16
Omukama y'aba alamula, atusalirewo ffembi; atunuulire ensonga zange akutulewo; anejjeereze, anzigye mu mikono gyo.”
17
Dawudi bwe yasirissa okwogera ebyo, Sawulo n'amubuuza nti: “Ddala eddoboozi eryo liryo, mwana wange Dawudi?” Sawulo n'akuba omulanga munene,
18
n'agamba Dawudi nti: “Obadde mutuukirivu okunsinga; ggwe ompisizza bulungi, naye nze nkuyisizza bubi.
19
Olwa leero oŋŋambye ebirungi by'onkoledde. Omukama abadde ampaddeyo mu mikono gyo, naye ggwe n'otonzita.
20
Kale ani yali asanze omulabe we, n'amuleka bulesi agende mirembe? Omukama akuweere olw'okubeera ky'onkoledde olwa leero.
21
Kati ntegeeredde ddala nti ojja kubeera kabaka, nga n'obwakabaka bwa Yisirayeli bugenda kutebenkera mu mikono gyo.
22
Kati ndayirira mu Mukama nti tolikutulako zzadde lyange oba okusaanyaawo erinnya lyange mu nnyumba ya kitange.”
23
Dawudi n'alayirira Sawulo. Sawulo n'addayo ewaabwe; ye Dawudi ne basajja be ne baddayo mu kigo.
← Chapter 23
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 25 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31