bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
1 Samuel 2
1 Samuel 2
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 3 →
1
Anna ne yeegayirira, n'agamba nti: “Omutima gwange gujaguliza mu Mukama, N'obwanga bwange bugulumiziddwa mu Mukama wange; akamwa kange keewaanira ku balabe bange, kubanga neenyumiriza mu bulokozi bwo.
2
“Teri mutuukirivu ali nga Mukama, teri na mulala okuggyako ggwe; era teri Lwazi luli nga Katonda waffe.
3
“Muleke kubeera awo nga mwegulumiza ebitaggwa, n'akamwa kammwe okwogera eby'olunkulu; kubanga Katonda ye Mukama ow'amagezi, ye y'apima obuzito bw'ebikolwa.
4
“Emisaale gy'abazira gimenyese; abaali abanafu bakindikiddwa amaanyi.
5
Ababadde abakkufu kati bazze ku kusaka, naye abayala tebakyalumwa njala. Omugumba azadde musanvu, naye eyali aweza abaana asigalidde awo.
6
“Omukama y'awa okufa n'awa n'obulamu, atwala emagombe, ate n'aggyayo.
7
Omukama ayavuwaza, ate n'agaggawaza, atoowaza ate n'agulumiza.
8
Omwavu amusitula n'amuggya mu kkukuuzi, omunkuseere n'amuggya ku lubungo; abatuuza wamu n'abakungu, n'abawa okusikira entebe ey'ekitiibwa. Anti emisingi gy'ensi gya Mukama, ku gyo kwe yabanga enkulungo y'ensi.
9
“Alikuuma ebigere by'abatuukirivu be, ababi balibasirisiza eyo mu nzikiza; kubanga omuntu tawangula lwa maanyi ge.
10
Omukama alimerengula abamuwakanya, aliyima mu ggulu n'ababwatukira nga laddu; Omukama aliramula enkingi z'ensi. Aliwa kabaka we obuyinza; aligulumiza amaanyi g'omusiige we.”
11
Elukana n'addayo ewaabwe e Rama. Ye omwana yaweerezanga mu maaso g'Omukama, mu maaso ga Eli kabona.
12
Batabani ba Eli baali bantu mpongabyoya, nga tebafa ku Mukama.
13
Bakabona baalina empisa gye baayisangamu abantu, ng'oli bwe yabanga aweereza ekitambiro, ng'omuweereza wa kabona ajja akutte entoozo ey'ennimi essatu, awo ng'ennyama etandise okutokota,
14
ng'agisogga mu kikalango, oba mu bbiga, oba mu nsaka, oba mu ntamu; kyonna entoozo kye yasitulangamu nga kabona akitwala. Bwe baakolanga batyo Abayisirayeli bonna abajjanga e Silo.
15
N'amasavu gaabanga teganaggya ng'omuweereza wa kabona ajja, ng'agamba atambira nti: “Mpa ennyama ngyokere kabona; tajja kukkiriza nnyama yo nfumbe, wabula embisi.”
16
Atambira bwe yagambanga nti: “Waakiri olwa leero leka amasavu gamale okwokebwako ku muliro, olyoke otwale kyonna ky'onooba oyagadde,” ye ng'ayanukula nti: “N'akatono! Gampe kaakati, oba si ekyo nzija kutooza maanyi.”
17
Ekibi ky'abavubuka ne kiba kinene nnyo mu maaso g'Omukama, kubanga baanyomoolanga ebyaweerezebwanga Omukama.
18
Samweli ye yaweerezanga mu maaso g'Omukama; kaali kalenzi akaayambalanga efodi eya kitaani.
19
Buli mwaka nnyina yamutungirangayo akakanzu, n'akamuleetera bwe bajjanga ne bba okuweereza ekitambiro ekya buli mwaka.
20
Eli yawanga omukisa Elukana ne mukazi we, n'abagamba nti: “Omukama akuwe abaana mu mukazi ono, badde mu kifo ky'ono gwe yasaba ate n'amuddiza Omukama.” Olwo ne bagenda ewaabwe.
21
Omukama yali wa kisa eri Anna, n'afunanga embuto, n'azaala abaana ab'obulenzi basatu n'ab'obuwala babiri. Ye omwana Samweli n'akulira mu maaso g'Omukama.
22
Eli yali mukadde nnyo; n'awulira byonna batabani be bye baali bakola Yisirayeli yenna, nga bwe beebakanga n'abakazi abaaweerezanga ku mulyango gwa Weema ey'Ensisinkano.
23
Kwe kubagamba nti: “Lwaki mukola ebintu ebifaanana bityo, ebikolwa byammwe ebibi bye mpulira mu bantu bonna?
24
Nedda, baana bange; bye mpulira ebigenda byogerwa mu bantu b'Omukama si birungi.
25
Omuntu bw'asobya ku muntu munne, Katonda akyayinza okumuwolereza; naye bw'asobya eri Omukama, ani alimuwolereza?” Naye bo batabani be tebaawuliriza ddoboozi lya kitaabwe, kubanga Omukama yali ayagala abatte.
26
Ye omwana Samweli n'agenda ng'asuumuka nga bwe yeeyongera okuganja mu maaso g'Omukama n'ag'abantu.
27
Ne wabaawo omuntu wa Katonda eyajja eri Eli n'amugamba nti: “Bino by'agamba Omukama nti: ‘Ennyumba ya kitaawo bwe yali mu Misiri nga mufugibwa Faraawo, saabeeraga bulungi?
28
Kitaawo namulonda mu bika bya Yisirayeli byonna abeere kabona wange, ayambukenga ku mwaliiro gwange, anyookeze obubaani, ayambalenga n'efodi mu maaso gange. Ennyumba ya kitaawo nagiwa byonna ebiva ku bitone ebiwongebwa Abayisirayeli n'omuliro.
29
Lwaki munyooma ekitambiro kyange n'ebitone byange bye nalagira olw'Ekisulo kyange? Lwaki batabani bo b'ossizzaamu ekitiibwa okusinga nze nga mwegezzeza ku bitundu bisinga obulungi ebya buli biweerezebwa abantu bange Yisirayeli?’
30
Kale nno Omukama Katonda wa Yisirayeli agamba nti: ‘Mazima nali nsuubizza nti ennyumba yo n'ennyumba ya kitaawo za kumpeereza mu maaso gange emirembe gyonna.’ Kale nno Omukama agamba nti: ‘Kikafuuwe, si nze! Wabula aliba ampadde ekitiibwa oyo nange ndikimuwa; aliba angayizza, nange ndimugaya.
31
Ennaku zijja lwe nnaakendeeza ku maanyi go ne ku maanyi g'ennyumba ya kitaawo, mu nnyumba yo ne mubulamu atuuka ku bukadde.
32
Oliraba ennaku mu kisulo kyange, sso nga wonna mu Yisirayeli bali mu kwesiima; mu nnyumba yo mulibulamu atuuka ku bukadde.
33
Kyokka ku mwaliiro gwange sijja kuggyirawo ddala buli muntu ava mu ggwe, amaaso go ndyoke ngazibye amaziga, nkulabye ennaku, naye bangi ab'ezzadde ly'ennyumba yo bonna banaafanga bavubuka.
34
“ ‘Kino ekinaagwira batabani bo ababiri Kofuni ne Finekasi kaliba kabonero gy'oli; bombi bajja kufa ku lunaku lumu.
35
Nzija kwesitusizaawo kabona omwesigwa, aligendera ku kye nteesa ne ku kye njagala. Ndimuzimbira ennyumba eŋŋumu, era aliweereza mu maaso g'omusiige wange ennaku zonna.
36
Buli yenna aliba akyasigaddewo mu nnyumba yo alijja n'avunnama mu maaso ge olw'akasente n'akatundu k'omugaati ogw'oluwewere ng'awanjaga nti: “Nkwegayiridde, mpaayo ku kalimu k'obwakabona nsobole okufunayo akookulya.” ’ ”
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 3 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31