bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
1 Samuel 5
1 Samuel 5
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 6 →
1
Abafilisitiini bwe baawamba Ssanduuku ya Katonda, ne bagiggya e Ebeni Azeri ne bagitwala e Asudodi.
2
Ne bagiyingiza mu kiggwa kya Dagoni, ne bagiteeka mu mbiriizi za Dagoni.
3
Enkeera ab'e Asudodi bwe baazuukuka, kyababuukako okulaba nga Dagoni yali agudde ku ttaka ku maaso ge mu maaso g'Essanduuku y'Omukama; ne baddira Dagoni ne bamuzza mu kifo kye.
4
Era enkeera, bwe baazuukuka, laba era baasanga Dagoni ng'agudde ku ttaka ku maaso ge mu maaso g'Essanduuku y'Omukama. Omutwe gwa Dagoni n'ebibatu byombi nga bikutuseeko, biri awo ku mwango, Dagoni ng'asigadde kiwuduwudu.
5
Olw'okubeera ekyo, bakabona ba Dagoni, na bonna abayingira mu kiggwa kye e Asudodi, tebalinnya ku mwango, n'okutuusa ku lunaku lwa leero.
6
Omukono gw'Omukama ne gunyigiriza n'amaanyi ab'omu Asudodi n'ebitundu byakyo; n'abaleetera ebintu byabwe okwonooneka, n'abakuba ebizimba.
7
Abasajja b'e Asudodi bwe baalaba nga biri bityo, ne bagamba nti: “Ssanduuku ya Katonda w'Abayisirayeli tejja kusigala mwaffe, kubanga omukono gwe gutunyigiriza, gunyigiriza ne Dagoni lubaale waffe.”
8
Kwe kutuma ne bakuŋŋaanya abafuzi b'Abafilisitiini bonna, ne babagamba nti: “Ssanduuku ya Katonda wa Yisirayeli tugikolere ki?” Ne baanukula nti: “Ssanduuku ya Katonda wa Yisirayeli etwalibwe e Gati.” Ne batwala Ssanduuku ya Katonda wa Yisirayeli.
9
Bwe baagituusaayo, Omukama ne yeefuulira ekibuga, n'akireetamu akasattiro kanene nnyo; abantu bonna abakulu n'abato n'abaleetera ebizimba.
10
Ssanduuku ya Katonda ne bagiiweereza e Ekuroni. Ssanduuku ya Katonda bwe yajja mu Ekuroni, abaayo ne baleekaana nti: “Batuleetedde Ssanduuku ya Katonda wa Yisirayeli etutte, ffe n'abantu baffe.”
11
Awo kwe kutuma ne bakuŋŋaanya abafuzi b'Abafilisitiini bonna ne bagamba nti: “Muleke Ssanduuku ya Katonda wa Yisirayeli eddeyo mu kifo kyayo, ereme kututta, ffe n'abantu baffe.” Kubanga mu kibuga wonna mwalimu akasattiro olw'okutya okufa; Katonda yali abanyigiriza nnyo eyo.
12
Abaali batafudde ne bafuna ebizimba; okuwanjaga mu kibuga ne kwambuka eri eggulu.
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 6 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31