bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Ezekiel 10
Ezekiel 10
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 9
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 11 →
1
Bwe natunula, ne ndaba nga waggulu ku lubaale, olwali waggulu ku mitwe gya bakerubi, waliyo ekiri ng'ejjinja lya saffiro, nga kyefaanaanyiriza nnamulondo.
2
Omukama n'agamba omusajja eyali ayambadde engoye eza kitaani nti: “Yingira mu makkati ga nnamuziga eziri wansi wa bakerubi, emikono gyo ogijjuze amanda ag'omuliro agali wansi wa bakerubi, ogamanse ku kibuga.” N'ayingira nange nga ntunula bwe nti.
3
Omusajja bwe yali ayingira, ekire ne kijjula oluggya olw'omunda, bakerubi baali bayimiridde ku ludda olw'emaserengeta olw'Ekiggwa.
4
Ekitiibwa ky'Omukama ne kisituka okuva waggulu w'abakerubi ne kidda ku mulyango gw'Ekiggwa. Ekiggwa ne kijjula ekire, n'oluggya ne lujjula okwakaayakana kw'ekitiibwa ky'Omukama.
5
Okupaapaala kw'ebiwaawaatiro by'abakerubi kwali kuwulirwa n'eri mu luggya olw'ebweru, ng'eddoboozi lya Katonda Omuyinza wa buli kantu bw'aba ayogera.
6
Bwe yalagira omusajja eyali ayambadde engoye eza kitaani nti: “Ggya omuliro mu makkati ga nnamuziga wakati mu bakerubi,” oli n'ayingira, n'ayimirira okumpi ne nnamuziga.
7
Omukerubi omu n'agolola omukono n'atuuka ku muliro ogwali wakati w'abakerubi, n'agussa mu mikono gy'oli eyali ayambadde engoye eza kitaani, ye n'agukwata, n'afuluma.
8
Ku bakerubi nga walabikayo ekifaanana ng'omukono gw'omuntu wansi w'ebiwaawaatiro byabwe.
9
Bwe natunula, ne ndaba nnamuziga nnya okumpi ne bakerubi, nnamuziga emu ng'eri kumpi n'omukerubi omu, ne namuziga endala kumpi n'omulala; mu nfaanana namuziga nga zitemagana ng'ejjinja lya kirusolito.
10
Mu nfaanana yaazo, zonna ennya zaali zifaanagana; buli nnamuziga yali ng'omukiikiddwa nnamuziga ginnaayo.
11
Bwe zaatambulanga, nga zigenda ku njuyi ennya bakerubi gye baabanga batunudde; nnamuziga tezaawetanga bakerubi bwe baatambulanga. Bakerubi bagendanga ku ludda emitwe gyabwe gye gyabanga gitunudde, nga tebamala kukyuka nga bagenda.
12
Omubiri gwabwe gwonna n'omugongo n'emikono n'ebiwaawaatiro ne nnamuziga zonna ez'abana byali bijjudde maaso wonna.
13
Nawulira nga nnamuziga ezo baziyita “Namuziga ezeetooloola.”
14
Buli mukerubi yalina ebyenyi bina: ekyenyi ekisooka nga kyenyi ng'ekya kerubi, ekyokubiri nga kyenyi ng'eky'omuntu, ekyokusatu nga kyenyi ng'eky'empologoma, n'ekyokuna nga kyenyi ng'eky'empungu.
15
Abakerubi ne basituka, bano be baali ebiramu biri bye nali ndabye ku mugga Kebari.
16
Bakerubi bwe baatambulanga, nga ne nnamuziga eziri okumpi nabo zitambula; bakerubi bwe baasitulanga ebiwaawaatiro byabwe, basitule okuva ku ttaka, nnamuziga zo nga tezikyuka awo okumpi nabo.
17
Bwe baayimiriranga, nga ziyimirira; bwe baasitukanga, nga zisituka wamu nabo, kubanga omwoyo gw'ebiramu gwabeeranga mu zo.
18
Awo ekitiibwa ky'Omukama ne kiva ku mulyango gw'Ekiggwa ne kiyimirira waggulu ku bakerubi.
19
Nali nkyatunuulidde, bakerubi ne basitula ebiwaawaatiro byabwe ne bava ku ttaka. Bwe baagenda, ne nnamuziga ne zibagoberera. Ne bayimirira mu muzigo gw'omulyango ogw'ebuvanjuba ogw'Ekiggwa ky'Omukama; ekitiibwa kya Katonda wa Yisirayeli kyali waggulu waabwe.
20
Bano be baali ebiramu bye nali ndabye wansi wa Katonda wa Yisirayeli ku mugga Kebari, olwo ne ntegeera nti byali bakerubi.
21
Buli kimu kyalina ebyenyi bina n'ebiwaawaatiro bina, ate wansi w'ebiwaawaatiro byabyo nga waliyo ekifaanana ng'omukono gw'omuntu.
22
Enfaanana yaabyo mu maaso ng'eri ng'eya biri bye nalaba ku mugga Kebari. Ate buli kimu kyatambulanga butereevu.
← Chapter 9
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 11 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48