bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Ezekiel 37
Ezekiel 37
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 36
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 38 →
1
Omukono gw'Omukama gwandiko, mu Mwoyo w'Omukama n'anfulumya, n'anzisa wakati mu kiwonvu ekyali kijjudde amagumba.
2
Yampisaayisaamu okuganneetoolooza wonna; gaali mangi nnyo ku ntobo y'ekiwonvu; gaali magumba makalu nnyo.
3
N'aŋŋamba nti: “Mwana w'omuntu, olowooza gano amagumba gayinza okulamuka?” Ne nziramu nti: “Mukama wange, ggwe wekka gw'omanyi.”
4
N'aŋŋamba nti: “Langa eri amagumba gano ogagambe nti: ‘Mmwe amagumba amakalu, muwulire ekigambo ky'Omukama.
5
Omukama Katonda kino ky'agamba amagumba gano: Ŋŋenda okubayingizaamu omukka mulamuke
6
Nzija kubassaako ebinywa; mbamezeeko ennyama, mbabikke n'olususu; nzija kussa mu mmwe omukka mulamuke, olwo mulimanya nti nze Mukama.’ ”
7
Ne nnanga nga bwe nali ndagiddwa. Mba nnanga, ne wabaawo eddoboozi, eddoboozi ery'okugolongotana, amagumba ne gayungagana, ggumba ku ggumba linnaalyo.
8
Mba nkyatunudde, ne kujjako ebinywa n'ennyama, n'olususu ne lubibikka; naye mu byo temwali mukka.
9
Awo n'aŋŋamba nti: “Langa eri omukka; langa, mwana w'omuntu nti: ‘Omukama Katonda kino ky'agamba: Owange mukka, vva mu nsonda ennya, ofuuwe ku battibwa bano balamuke.’ ”
10
Ne nnanga nga bwe yali andagidde, omukka ne gubayingiramu, ne balamuka, ne bayimirira ku bigere byange, eggye eddene ennyo.
11
Awo n'aŋŋamba nti: “Mwana w'omuntu, amagumba gano gonna ye nnyumba ya Yisirayeli. Bo bagamba nti: ‘Amagumba gaffe gaakala; tekyali ssuubi; twakutulwako.’
12
Kale nno, langa obagambe nti: ‘Omukama Katonda kino ky'agamba: Nzija kwasamya amalaalo gammwe, mbaggyeyo mu ntaana zammwe, mmwe bantu bange; ndibakomyawo mu nsi ya Yisirayeli.
13
Olwo mmwe mulimanya nti nze Mukama, mmwe bantu bange, bwe ndyasamya amalaalo gammwe, ne mbaggya mu ntaana zammwe.
14
Nzija kubassaamu Mwoyo wange mulamuke; nzija kubateeka mu nsi yammwe; olwo mulimanya nti nze Mukama nze njogedde, ate nkikoze, Omukama Katonda y'agamba.’ ”
15
Ekigambo ky'Omukama kyanzijira nti:
16
“Mwana w'omuntu, ddira omuggo ogw'omuti oguwandiikeko nti ‘gwa Yuda n'abantu ba Yisirayeli mikwano gye’. Oddire n'omuggo omulala ogw'omuti owandiikeko nti ‘omuggo gwa Efurayimu: gwa Yozefu n'ennyumba ya Yisirayeli mikwano gye’.
17
Emiggo gyombi giyunge ogumu ku gunnaagwo gifuuke omuggo gumu mu mikono gyo, olwo gibeere omuggo gumu.
18
Abantu b'eggwanga lyo bwe banaakubuuza nti: ‘Tootubuulire ky'oyagala kutegeeza na bino?’
19
Onoobagamba nti: ‘Omukama Katonda kino ky'agamba: Nzija kuddira omuggo gwa Yozefu, gwe muggo gwa Efurayimu n'abantu ba Yisirayeli mikwano gye, nguyunge ku muggo gwa Yuda, ngifuulemu omuggo gumu; girifuuka omuggo gumu mu mikono gyange.’
20
“Emiggo gy'oliba owandiiseeko ng'ogikutte mu mikono gyo mu maaso gaabwe,
21
bagambe nti: ‘Omukama Katonda kino ky'agamba: Abayisirayeli nzija kubakwata mbaggye mu mawanga gye baalaga. Nzija kubakuŋŋaanya eyo yonna, mbaleete mu nsi yaaboobwe.
22
Nzija kubafuulamu eggwanga limu mu nsi yaabwe ku nsozi za Yisirayeli; kabaka omu y'aliba afuga bonna; tebaliddayo kubeera mawanga abiri, yadde okwawulwamu obwakabaka obubiri.
23
Tebaliddayo kwegwagwawaza na bifaananyi byabwe ebya balubaale n'ebyenyinyalwa byabwe n'emisango gyabwe gyonna; nzija kubawonyaayo mu kuddirira kwabwe kwonna kwe baagwamu; nzija kubatukuza; balibeera bantu bange nange ndibeera Katonda waabwe.
24
Omuweereza wange Dawudi y'aliba kabaka waabwe; baliba n'omusumba omu bonna. Baligobereranga ebiragiro byange, n'amateeka gange baligakwatanga ne bagatuusa.
25
Balisula mu nsi gye nawa omuweereza wange Yakobo, ensi bajjajjammwe mwe baasulanga; baligisulamu bo n'abaana baabwe ne bazzukulu baabwe emirembe gyonna, ne Dawudi omuweereza wange nga ye mulangira waabwe emirembe gyonna.
26
Ndikola nabo endagaano ey'eddembe; endagaano ey'olubeerera. Ndibatebenkeza ne mbawa okwala; ekifo kyange ekitukuvu nzija kukissa mu makkati gaabwe emirembe gyonna.
27
Ekisulo kyange kiribeera mu bo; ndibeera Katonda waabwe nabo balibeera bantu bange.
28
Olwo amawanga galimanya nti nze Mukama atukuza Yisirayeli, ekitukuvu kyange bwe kiribeera mu makkati gaabwe emirembe gyonna.’ ”
← Chapter 36
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 38 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48