bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Ezekiel 36
Ezekiel 36
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 35
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 37 →
1
“Mwana w'omuntu, langa eri ensozi za Yisirayeli, ogambe nti: ‘Wattu ensozi za Yisirayeli, muwulire ekigambo ky'Omukama.
2
Omukama Katonda kino ky'agamba: Omulabe yagamba ku ggwe nti: “Otyo, ensozi ez'edda zifuuse zaffe.” ’
3
Kale nno langa, ogambe nti: ‘Omukama Katonda kino ky'agamba: Kubanga baabavunjaga, ne babawemmenta ku njuyi zonna, ne mufuuka eky'okufuna eky'amawanga amalala, emboozi n'olugambo lw'abantu,
4
kale nno, mmwe nsozi za Yisirayeli, muwulire ekigambo ky'Omukama Katonda: Omukama Katonda kino ky'agamba ensozi n'obusozi, enkonko n'ebiwonvu, amatongo g'ebifulukwa n'ebibuga ebyasigala ettayo, ebyanyagululwa ne bifuuka eky'okusekerera eri amawanga amalala ageetooloddewo;
5
kale nno Omukama Katonda kino ky'agamba: Mu kubabirirwa kw'obuggya bwange nayogerera amawanga amalala ne Edomu abezza ensi yange mu kusanyuka okw'ekitalo n'obunyoomi mu mutima obuyitirivu, ne baaya amalundiro gaayo.’
6
“Awo nno langa ku nsi ya Yisirayeli, ogambe ensozi n'obusozi, enkonko n'ebiwonvu nti:
7
‘Omukama Katonda kino ky'agamba: Ndayira nti: amawanga agabeetoolodde nago gajja kuswazibwa.
8
Naye mmwe, nsozi za Yisirayeli, mujja kutojjeza buto amatabi, mubale n'ebibala olw'abantu bange Yisirayeli, kubanga bajja kudda mu bbanga ttono.
9
Anti nzuuno nzija gye muli, nzija kukyukira gye muli, mujja kulimibwa, musigibwe.
10
Nzija kwaza abantu mu mmwe, ennyumba yonna eya Yisirayeli; ebibuga birisengwamu n'amatongo galiddawo.
11
Nzija kwaza ku mmwe abantu n'ebisolo; biryeyongera obungi ne bizaala. Ndibasenzaako abantu nga bwe gwali mu kusooka, ndibaaliza ebintu n'okusinga nga bwe gwali edda; olwo mulimanya nti nze Mukama.
12
Nzija kuwa abantu, abantu bange Yisirayeli, batambulire ku mmwe; bajja kubafuna ng'abaabwe, mulifuuka busika bwabwe, temuliddayo kubamalako baana baabwe.
13
“ ‘Omukama Katonda kino ky'agamba: Kubanga baboogerako nti: “Olya abantu, n'eggwanga lyo n'olimalako abaana.”
14
Kale nno tojja kuddayo kulya bantu, n'eggwanga lyo toddeyo kulimalako baana, Omukama Katonda y'agamba.
15
Sirikuleka kuwulira nate kujolongebwa kw'amawanga n'okuvumibwa abantu, yadde okuleka eggwanga lyo okuddamu okumalawo abaana baalyo, Omukama Katonda y'agamba.’ ”
16
Ekigambo ky'Omukama kyanzijira nti:
17
“Mwana w'omuntu, ennyumba ya Yisirayeli bwe baasulanga mu nsi yaabwe, bagijaajaamya olw'amakubo gaabwe n'ebikolwa byabwe.
18
Amakubo gaabwe ganfaananira ng'obwonoonefu bw'omukazi mu biseera bye eby'omwezi. Kwe kubamalirako obusungu bwange olw'omusaayi gwe baayiwa ku nsi, n'olw'okugyonoona n'ebifaananyi byabwe ebya balubaale.
19
Nabasaasaanya mu mawanga, ne bamansibwa mu nsi; nabalamula nga nsinziira ku makubo gaabwe ne ku bye baakola.
20
Bwe baagenda eyo mu mawanga, buli gye baalaganga nga boonoona erinnya lyange, kubanga baaboogerangako nti: ‘Bano bantu ba Mukama, naye ate baalina okuleka ensi ye.’
21
Nalumirwa erinnya lyange ettukuvu, ennyumba ya Yisirayeli lye yali eyonoonye mu mawanga gye baagenda.
22
Awo nno gamba ennyumba ya Yisirayeli nti: ‘Omukama Katonda kino ky'agamba: Nnyumba ya Yisirayeli, kye nnaakola siikikole lwa kubeera mmwe, wabula lwa kubeera linnya lyange lye mwayonoona mu mawanga gye mwagenda.
23
Nzija kwoleka obutukuvu bw'erinnya lyange ekkulu eryayonoonebwa mu mawanga, lye mwayonoona mu makkati gaabwe; olwo amawanga galimanya nti nze Mukama,’ Omukama Katonda y'agamba, ‘bwe ndiraga obutukuvu bwange mu mmwe mu maaso gaabwe.
24
“ ‘Anti nzija kubaggyayo mu mawanga, mbakuŋŋaanye okuva yonna mu nsi, mbakomyewo mu nsi yaabommwe.
25
Nzija kubamansirako amazzi agatukula era mulitukula; ndibatukuzaako obujama bwammwe bwonna n'ebifaananyi byammwe ebya balubaale.
26
Nzija kubawa omutima omuggya, mbateekemu omwoyo omuggya; mu mubiri gwammwe nzija kuggyamu omutima ogw'ejjinja mbawe omutima ogw'ennyama.
27
Nzija kubassaamu omwoyo gwange, mbatambulize mu biragiro byange era mukwatenga bulungi amateeka gange.
28
Mulibeera mu nsi gye nawa bajjajjammwe; mulibeera bantu bange nange ndibeera Katonda wammwe.
29
Nzija kubawonya mu bwonoonefu bwammwe bwonna; ndiyita eŋŋano, ndigiwa okwala; siribaleetera njala.
30
Ebibala ku miti ndibiwa okwala, bwe ntyo era ne ku birime by'omu nnimiro, muleme kuddayo kuswala mu mawanga olw'enjala.
31
Mulijjukira amakubo gammwe amabi n'ebikolwa byammwe ebitali birungi; mulyekyawa mwennyini olw'ebibi byamwe n'olw'ebikolwa byammwe ebyeenyinyalwa.
32
Kino mukimanye nti bino sijja kubikola lwa kubeera mmwe, Omukama Katonda y'agamba. Muswale, ensonyi zibakwate olw'enneeyisa yammwe, mmwe nnyumba ya Yisirayeli.
33
“ ‘Omukama Katonda kino ky'agamba: Ku lunaku lwe ndibatukuzaako ebibi byammwe byonna, ebibuga byammwe ndibisenzaamu abantu, ebifulukwa ne mbizimba buggya.
34
Ensi ebadde amatongo eririmibwa, mu kifo ky'okulabika ng'erekeddwa awo ettayo mu maaso ga buli muyise.
35
Baligamba nti: “Ensi eno eyali efuuse amatongo kati eri ng'ennimiro ya Edeni; ebibuga ebyali bifuuse ebifulukwa, ebyalekebwa awo ettayo ne byonooneka, kati kuliko ne bbugwe era bisulwamu.”
36
Amawanga gonna agaali gasigaddewo okwetooloola awo wonna galimanya nti nze Omukama nze nzimbye ebyali bizikiridde, nze nnima n'ebyali amatongo; nze Omukama njogedde, ate nzija kukikola.’
37
“Omukama Katonda kino ky'agamba: Na kino nakyo nzija kuleka ennyumba ya Yisirayeli esabe nkibakolere: okwongera abantu babe ng'endiga obungi.
38
Ng'endiga emponge, ng'endiga mu Yeruzaalemu mu nnaku enkulu, bwe bityo ebibuga ebibadde ebifulukwa bwe birijjula amagana g'abantu; olwo balimanya nti nze Mukama.”
← Chapter 35
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 37 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48