bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Ezekiel 23
Ezekiel 23
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 22
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 24 →
1
Ekigambo ky'Omukama kyanzijira nti:
2
“Mwana w'omuntu, waaliwo abawala babiri, nga bazaalibwa nnyabwe omu.
3
Baakolera obwamalaaya mu Misiri, nga bamalaaya okuva mu buvubuka bwabwe; eyo ennywanto zaabwe gye zaanyigirwanyigirwa n'amabeere g'obuwala bwabwe gye gaatogererwa.
4
Amannya gaabwe, omukulu ye Ola, ate muganda we ye Oliba. Baali bange ne bazaala abaana abalenzi n'abawala. Amannya, Ola ye Samariya, ne Oliba ye Yeruzaalemu.
5
Ola yatandika obwamalaaya ng'akyali wange, n'akwatirwa baganzi be amaddu, Abassuri abatabaazi,
6
abambala kakobe, abaamasaza n'abaami, bonna nga bavubuka abeegombebwa, abeebagazi b'embalaasi.
7
Yakola obwenzi n'Abassuri ab'ebika ebya waggulu, ne yeegwagwawaza n'ebifaananyi byabwe byonna ebya balubaale, eby'abo bonna be yakwatirwa amaddu.
8
Teyaleka bwenzi bwe yaliko mu Misiri, abasajja gye beebakanga naye mu buvubuka bwe, ne bakwatirira amabeere g'obuwala bwe, ne bamumalirako obwenzi bwabwe.
9
“Kyennava mmuwaayo mu mikono gya baganzi be, mu mikono gy'Abassuri be yakwatirwa amaddu.
10
Bano baamuleka bwereere, batabani be ne bawala be ne babatwala, naye yennyini ne bamutta n'ekitala. Yafuuka mboozi mu bakazi olw'ekibonerezo ekyamussibwako.
11
Muganda we Oliba kino yakiraba, naye ye n'alaluka n'okumusinga mu bugwenyufu ne mu bwenzi bwe, n'akola obwamalaaya n'okukira muganda we.
12
Naye yakwatirwa Abassuri amaddu: be baamasaza, abaami n'abatabaazi abambadde ne baggumira, abeebagazi b'embalaasi, n'abavubuka bonna abeegombebwa.
13
Ne ndaba nga naye yeegwagwawazza; bombi ekkubo baakwata limu.
14
Obwenzi bwe yabwongera mu maaso; bwe yalaba abasajja aboole ku kisenge, ebifaananyi by'Abakaludeya, abooleko mu langi emmyufu,
15
nga beesibye ebimyu mu biwato, ku mitwe gyabwe ng'ebitambaala biweeba, bonna nga bafaanana ng'abagabe ab'oku bigaali Abakaludeya abazaaliranwa b'omu Kaludeya,
16
olwabalaba ati, n'abakwatirwa amaddu, nabatumira ababaka mu Kaludeya.
17
Abakaludeya ne bajja gy'ali ku kitanda eky'omukwano, ne bamugwagwawaza mu bwenzi bwabwe. Bwe baamala okumwonoona, n'akyukira eri ng'abeetamiddwa.
18
Bwe yayongera mu maaso obwenzi bwe mu kyeere, ne yeereka bwereere, nze ne nkyukira eri nga mmwetamiddwa, nga bwe nakyukira eri nga neetamiddwa muganda we.
19
Obwenzi bwe yabwongera bwongezi obungi, ng'ajjukira ebbanga ery'obuvubuka bwe lwe yakolanga obwamalaaya mu nsi y'e Misiri.
20
Eyo gye yakwatirwa baganzi be amaddu, ab'obusolo obwali ng'obw'endogoyi, n'amazzi gaabwe agaali ng'ag'embalaasi.
21
“Weegomba obugwenyufu bw'omu buvubuka bwo, mu Misiri ennywanto zo gye baazinyigiranyigira n'amabeere g'omu buvubuka bwo gye baagakwatirira.
22
Kati nno, Oliba, Omukama Katonda kino ky'agamba: Baganzi bo nzija kubagira bakwefuulire, abo be wakuba amabega ng'obeeetamiddwa, nzija kubakuwendulira ku njuyi zonna.
23
Ab'e Babiloni, Abakaludeya bonna, abantu b'e Pekodi, Sowa ne Kowa. Bonna Abassuri nga bali nabo, abavubuka bonna abeegombebwa, abaamasaza, abagabe ab'oku bigaali, na bonna abayitibwa abeebitiibwa abeebagala embalaasi
24
balikujjira nga bava emambuka n'ebigaali n'amagaali n'abantu nfaafa; balikuzinda ku njuyi zonna nga babagalidde engabo ennene n'entono n'enkufiira. Ndibawa ne balamula, balikulamula okusinziira ku nnamula yaabwe.
25
Nzija kukumalirako ekiruyi kyange; balikuyisa na bukambwe. Balikusalako ennyindo n'amatu; abaliba basigaddewo mu mmwe balifa ekitala. Batabani bo ne bawala bo balibatwala; abaliba basigadde mu mmwe omuliro gulibasenkenya.
26
Balikwambula ebyambalo byo ne batwala n'amagemu go ag'omuwendo.
27
ndikomya obugwenyufu bwo n'obwamalaaya bwo bye watandikira mu Misiri. Amaaso go toliddamu kugatunuuliza bintu ebyo, ne Misiri toliddamu kumujjukira.
28
Kubanga Omukama Katonda kino ky'ayogera: Nzija kukuwaayo mu mikono gy'abo b'okyawa ne mu gy'abo be wakuba amabega ng'obeetamiddwa.
29
Balikuyisa na bukambwe, era balitwala buli kye wateganira, balikuleka bwereere, busa, n'ensonyi z'obwamalaaya bwo ziryanikibwa; obugwenyufu bwo n'obwenzi bwo
30
bwe bukuleetedde bino, kubanga wakwatirwa amawanga amaddu, ne weegwagwawaza n'ebifaananyi byabwe ebya balubaale.
31
Wakwata ekkubo lya muganda wo, nange nno ekikompe kye nzija kukikussa mu ngalo.
32
Omukama Katonda kino ky'agamba: “ ‘Ojja kunywa ekikompe kya muganda wo, ekinene ate ekiwanvu; - kirikuleetera okusekererwa, kirikunyoomeesa - anti kijjuddemu bingi.
33
Olijjula obutamiivu n'ennaku, ekikompe eky'entiisa n'okuzikirira, ekikompe kya muganda wo Samariya.
34
Olikinywa n'okikaliza kyonna; olikyasaayasa obulere, n'otaagulataagula amabeere go; kubanga nze njogedde,’ Omukama Katonda y'agamba.
35
“Awo nno Omukama Katonda kino ky'agamba: Kubanga nze wanneerabira, n'onkasuka emabega wo, naawe ojja kuvunaanibwa obugwenyufu bwo n'obwenzi bwo.”
36
Omukama n'aŋŋamba nti: “Mwana w'omuntu, onoolamula Ola ne Oliba? Kale balage ebyenyinyalwa byabwe,
37
kubanga baakola obwenzi, n'omusaayi guli ku mikono gyabwe; baakola obwenzi n'ebifaananyi byabwe ebya balubaale; ne batabani baabwe be banzaalira baabawongera ebifaananyi bya balubaale mu muliro ng'ekyokulya.
38
Na kino baakinkola: baajaajaamya Ekitukuvu kyange, ate mu kaseera ke kamu nga boonoona Ekitukuvu kyange, baayonoona ne Sabbaato zange.
39
Ku lunaku olwo lwennyini lwe baatambiranga batabani baabwe eri ebifaananyi byabwe ebya balubaale, bayingira Ekitukuvu kyange ne bakijaajaamya. By'ebyo bye baakolanga mu nnyumba yange.
40
“Baatumiranga n'abasajja abava ewala obubaka; bwe bajjanga, ng'obeeyonjeza, amaaso ng'ogaziga, nga weewoomya n'amayinja ag'omuwendo.
41
Olwo n'otuula ku kitanda eky'omuwendo, awo mu maaso nga wategekeddwawo emmeeza, n'ossa okwo obubaani n'omuzigo ebyali ebyange.
42
Oluyoogaano lw'ebbiina eriri emirembe nga lumwetoolodde; abasajja abatamiivu abaggyibwa okuva mu ddungu, n'abasajja batyo batyo, ne bambaza obukomo ku mikono gy'abakazi, ne babassa n'emige ku mitwe gyabwe.
43
Ne ŋŋamba nti: ‘Omukazi ono obwenzi bwe bumumazeewo, kati na bano bagenda kwebaka naye?’
44
Ne beebaka. Ng'abasajja bwe beebaka n'omukazi malaaya, bwe batyo bwe beebakanga n'abakazi ababiri abo, Ola ne Oliba, abagwenyufu.
45
Kyokka abasajja abatuukirivu balibalamula n'ennamula eweebwa abakazi abakola obwenzi n'abakazi abayiwa omusaayi, kubanga bakola obwenzi n'omusaayi gubali ku mikono gyabwe.
46
“Omukama Katonda kino ky'agamba: Mubakuŋŋaanyizeeko ekibiina, obaleke mu buyinza bw'entiisa n'okunyagibwa.
47
Ekibiina kiribakuba amayinja, ne babatemaatema n'ebitala byabwe; batabani baabwe ne bawala baabwe balibatta bonna n'ennyumba zaabwe ne bazookya omuliro.
48
Bwe ntyo nzija kukomya obugwenyufu bwonna mu nsi, abakazi bayige; baleme kukola bugwenyufu ng'obubwo
49
Ojja kukola ekibonerezo ky'obugwenyufu bwo, olivunaanibwa n'ebibi by'obukafiiri bwo. Olwo olimanya nti nze Mukama Katonda.”
← Chapter 22
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 24 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48