bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Ezekiel 11
Ezekiel 11
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 12 →
1
Awo omwoyo ne gunsitula, ne guntwala ku mulyango gw'ennyumba y'Omukama ogutunudde ebuvanjuba; awo ku muzigo gw'omulyango waaliwo abasajja amakumi abiri mu bataano. Mu bo ne ndabamu Yaazaniya mutabani wa Azzuri ne Pelatiya mutabani wa Benaaya, abakulembeze mu ggwanga.
2
Omukama n'aŋŋamba nti: “Mwana w'omuntu, bano be basajja abateesa eby'akabi era abawa amagezi amabi mu kibuga kino.
3
Bagamba nti ‘Buno si bwe budde obw'okuzimba amayumba; Kino kye kitamu, ffe nnyama.’
4
Kale nno langa oboogerere, langa, mwana w'omuntu.”
5
Omwoyo gw'Omukama ne gunzijako, ne guŋŋamba ŋŋambe nti: “Omukama kino ky'agamba: Bwe mutyo bwe mulowooza, mmwe nnyumba ya Yisirayeli! Mmanyi bye mulowooza mu mitima gyammwe.
6
Musse abantu bangi mu kibuga kino; amakubo gaamu mwagajjuzizza abattiddwa.
7
Awo nno Omukama Katonda kino ky'agamba: Abantu mmwe be mwatta ne mumansa mu kibuga wakati ye nnyama ate ekibuga kye kitamu; naye nzija kukibagobamu.
8
Mutya ekitala, naye ekitala kye nzija okubaleetera, Omukama Katonda y'agamba.
9
Nzija kubagoba mu kibuga, mbaweeyo mu mikono gy'abagwira, bo balibabonereza.
10
Mulifa kitala, era nzija kubalamulira ku nsalo ya Yisirayeli; mulimanya nti nze Mukama.
11
Kino ekibuga tekiribabeerera kitamu, nammwe mu kyo wakati temuliba nnyama; wabula ndibalamulira ku nsalo ya Yisirayeli.
12
Mulimanya nti nze Mukama, kubanga ebiragiro byange temwabigoberera n'amateeka gange temwagakwata, wabula empisa z'amawanga agabeetoolodde ze mwatwala ng'ekyokulabirako.”
13
Mba nkyalanga, Pelatiya mutabani wa Benaaya n'afa; ne ngwa nga neevuunise ku maaso gange, ne ndeekaana nti: “Yii, ayi Mukama Katonda, onoomalirawo ddala bonna abaasigalawo mu Yisirayeli?”
14
Ekigambo ky'Omukama ne kinzijira nti:
15
“Mwana w'omuntu, baganda bo, abo ab'oluganda lwo, ab'omusaayi gwo, ennyumba ya Yisirayeli yonna, be bo abasula mu Yeruzaalemu, be boogera nti: ‘Beesuubye Omukama; ffe ensi eyo yatuweebwa ng'eyaffe.’
16
Awo nno Omukama Katonda kino ky'agamba: ‘Newandibadde nabatwala wala mu mawanga ne mbasaasaanya mu nsi, naye okumala akabanga nze mbadde ekitukuvu kyabwe mu mawanga gye baalaga.’
17
Kale nno gamba nti: ‘Omukama Katonda kino ky'agamba: Nzija kubakuŋŋaanya mbaggyeyo eyo yonna mu mawanga gye mwasaasaanira, ndiddamu okubawa ensi ya Yisirayeli.
18
Baligiddamu, ne baggyamu byonna ebigwagwa n'ebyenyinyalwa.
19
Ndibawa omutima gumu, ndibassaamu omwoyo omuggya; ndibaggyamu omutima ogw'ejjinja ne mbawa omutima ogw'ennyama.
20
Olwo baligoberera amateeka gange ne bakwata ebiragiro byange; balibituusa. Balibeera bantu bange nange ndibeera Katonda waabwe.
21
Naye abo ab'omutima ogutambulira mu bigwagwa byabwe n'ebyenyinyalwa, ndissa ku mitwe gyabwe ebyo bye baakola, Omukama Katonda y'agamba.’ ”
22
Abakerubi ne basitula ebiwaawaatiro byabwe ne nnamuziga nga ziri mu mbiriizi zaabwe, ekitiibwa kya Katonda wa Yisirayeli kyali waggulu ku bo.
23
Ekitiibwa ky'Omukama ne kyambuka nga kiva mu kibuga wakati, ne kiyimirira ku lusozi oluli mu buvanjuba bw'ekibuga.
24
Mwoyo w'Omukama n'ansitula, mu kulabikirwa okwo okwampeebwa mwoyo w'Omukama, n'antwala mu Kaludeya eri abawaŋŋangusibwa; awo n'okulabikirwa kwe nali ndabye ne kuva we ndi.
25
Abawaŋŋangusibwa ne mbagamba Omukama bye yali andaze.
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 12 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48