bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Ezekiel 13
Ezekiel 13
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 12
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 14 →
1
Ekigambo ky'Omukama kyanzijira nti:
2
“Mwana w'omuntu, langa ovumirire abalanzi ba Yisirayeli abalanga; gamba abo abalanga nga baggya mu birowoozo byabwe nti: ‘Muwulire ekigambo ky'Omukama.
3
Omukama Katonda kino ky'agamba: Zibasanze abalanzi abasiru abagoberera ebirowoozo byabwe, nga tebalabikiddwa na kulabikirwa!
4
Yisirayeli, abalanzi bo bali ng'ebibe mu bifulukwa by'amayumba.
5
Awaabomolwa temwambuseeyo, n'ekisenge ky'ennyumba ya Yisirayeli temukiddaabirizza kisangibwe nga kinywevu mu lutalo ku lunaku lw'Omukama.
6
Bye balabikirwa bya sswakaba ne bye balagula bya bulimba. Bagamba nti “Omukama agamba,” sso ng'Omukama tabatumanga; ne balowooza nti anaatuukiriza bye boogera.
7
Bye mwalabikirwa tebyali bya sswakaba ne bye mwalagula tebyali bya bulimba bwe mwagamba nti: “Omukama y'agamba,” sso nga nze soogeranga?
8
“ ‘Kale nno Omukama Katonda kino ky'agamba: Olw'okubeera ebigambo byammwe ebya sswakaba n'okulagula kwammwe okw'obulimba, mbali bukiika, Omukama y'agamba.
9
Omukono gwange gujja kubeera ku balanzi abalabikirwa ebya sswakaba, ne balagula eby'obulimba; tebalibeera mu lukiiko lwa bantu bange, ne mu kitabo ky'ennyumba ya Yisirayeli tebaliwandiikibwamu, ne mu nsi ya Yisirayeli tebaliyingirayo; olwo mulimanya nti nze Mukama Katonda.
10
Kubanga baalimba abantu bange nga bagamba nti “Ddembe,” sso ng'eddembe teryaliyo, era kubanga abantu bwe baazimba ekisenge, bo ne bakimaalako ennoni.
11
Gamba abo abakimaalako ennoni nti: “Kya kugwa; enkuba nnamuttikwa eritonnya, ndiwanula amayinja g'omuzira ne gagwa, n'omuyaga ogw'amaanyi gulikunta.”
12
Ekisenge bwe kirigwa, tebalibabuuza nti: “Ennoni gye mwamaalako eruwa?”
13
Kale nno Omukama Katonda kino ky'agamba: Mu busungu bwange nzija kuleeta omuyaga ogw'amaanyi, n'enkuba nnamuttikwa mu buswandi bwange, n'amayinja ag'omuzira mu busungu bwange, nkisaanyeewo.
14
Nzija kumenya ekisenge kwe mwamaala ennoni, nkituusize ddala ku ttaka, n'omusingi gwakyo gulabike; mulitokomokera omwo; olwo mulimanya nti nze Mukama.
15
Obusungu bwange nzija kubumalira ku kisenge ne ku abo abaakimaala ennoni, ndibagamba mmwe nti: “Ekisenge tewakyali era n'abo abaakimaala ennoni tebakyaliwo,
16
abo abalanzi ba Yisirayeli abaalanga eri Yeruzaalemu, abaafuna ku lulwe okulabikirwa okw'eddembe sso nga tewaali ddembe.” ’
17
“Kale nno, mwana w'omuntu, amaaso go gakanulire bawala b'abantu bo abalanga nga baggya mu birowoozo byabwe; langa oboogerere.
18
Bagambe nti: Omukama Katonda kino ky'agamba: ‘Zibasanze abakazi abo abatunga enzinga mu biseke byabwe, abakolera emitwe gyabwe ebitambaala ebya buli buwanvu okukwasa abantu! Mugamba munaakwasa emyoyo gy'abantu bange egyammwe ne mugireka nga miramu?
19
Mumpeebudde mu bantu bange olw'olubatu lwa sayiri n'olw'obukunkumuka bw'omugaati; musse abantu abatandifudde ne muwonya abandifudde bwe mulimba abantu bange abakkiriza eby'obulimba.
20
Olw'ekyo nno, Omukama Katonda kino ky'agamba: saagala nzinga ezo ze mweyamba okukwasa abantu ng'abatega ennyonyi, nzija kuzikutula ku mikono gyammwe; abantu be mukwasa ku mutego ng'ennyonyi nzija kubata beetaaye.
21
Nzija kubayuzaako ebitambaala ku mitwe abantu bange mbanunule mu mikono gyammwe; tebaliddayo kubeera munyago gwa buyinza bwammwe; olwo mulimanya nti nze Mukama.
22
Kubanga mwaterebula n'obulimba bwammwe emitima gy'abatuukirivu, nze be nali sinakuwazizza, era kubanga mwawa ababi amaanyi baleme kuva mu makubo gaabwe amabi bawonye batyo obulamu bwabwe,
23
kale nno temukyaddayo kulabikirwa bya sswakaba na kulagula; abantu bange nzija kubanunula mu mikono gyammwe; olwo mulimanya nti nze Mukama.’ ”
← Chapter 12
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 14 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48