bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Ezekiel 26
Ezekiel 26
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 25
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 27 →
1
Mu mwaka ogw'ekkumi n'ogumu, ku lusooka mu mwezi, ekigambo ky'Omukama ne kinzijira nti:
2
“Mwana w'omuntu, kubanga Tiiro yayogera ku Yeruzaalemu nti: “ ‘Ka alabe, omulyango gw'amawanga gumenyeddwa, enzigi bazimmanduliddewo, kati ng'afuuse matongo, nzija kugaggawala!’
3
Omukama Katonda kyava agamba nti: ‘Owange Tiiro, nkuli bukiika! Nzija kukuwendulira amawanga mangi okwenkana ng'ennyanja bw'esunda amayengo gaayo.’
4
Balisaanyaawo bbugwe wa Tiiro, ne basuula eminaala gyakyo, n'amafunfugu gaakyo ndigeerawo, ne nkirekera ddala olwazi olwereere.
5
Mu makkati g'ennyanja kirifuuka wa kwanika butimba, kubanga nze njogedde, y'agamba Omukama Katonda; kirifuuka kya kwenyagira eri amawanga,
6
n'ebyalo byakyo ku lukalu birivunjagwa ekitala, olwo balimanya nti nze Mukama.
7
“Kubanga Omukama Katonda kino ky'agamba: Nze nzija kusindikira Tiiro okuva emambuka Nebukadurezzari kabaka w'e Babiloni, kabaka wa bakabaka, ng'ali n'embalaasi n'ebigaali n'abeebagazi n'eggye ddene.
8
“Alivunjaga ebyalo byo ku lukalu n'ekitala; alituuma embibiro ez'okukuzindirako, alikuzimbako ekikomera, n'akwolekeza engabo okukulwanyisa.
9
Alyolekeza n'akoona bbuggwe n'endoddo ez'entwe ezibomola, eminaala gyo n'agisuula n'ebyokulwanyisa bye.
10
Akeesedde k'embalaasi ze kalikubikka enfuufu, bbugwe wo alikankana olw'omusinde gw'embalaasi, n'encaako y'amagaali n'ebigaali, bw'aliyingira emiryango gyo, ng'ayingira mu kibuga ekyabiziddwa.
11
Ebiganja by'embalaasi ze biririnnyirira amakubo go gonna; alitta abantu bo n'ekitala, n'empagi zo ez'amaanyi ziryeyirimula ku ttaka.
12
Balinyaga obugagga bwo bwonna, by'olina ne babyaya; bbugwe wo balimwabya n'ennyumba zo amakula ne bazimenya; amayinja go n'emiti, n'amafunfugu balibikasuka mu nnyanja.
13
Nzija kukomya oluyoogaano lw'ennyimba zo, n'amaloboozi g'entongooli zo tegaliddayo kuwulirwa.
14
Nzija kukufuula olwazi olwereere, ofuuke ekifo aw'okwanika obutimba; toliddayo kuzimbibwa, kubanga nze njogedde, Omukama Katonda y'agamba.
15
“Omukama Katonda kino ky'agamba Tiiro: Embalama teziriyuuguuma nga ziwulidde bw'ogudde, abafumitiddwa nga basindogoma n'okusanjaga nga kugenda mu maaso mu makkati go?
16
Abakungu bonna ab'oku lubalama baliva ku ntebe zaabwe ne bakka, ne beeyambula eminagiro gyabwe n'ebyambalo byabwe ebya langi entobeke, ne babisuula eri. Nga bajjudde okuwuniikirira, balituula mu ttaka ne babeera awo nga bakankana butamala, beewuunya ekikutuuseeko.
17
Olwo balikuyimbira oluyimba olw'okukungubaga nga bagamba nti: “ ‘Ozikiridde otya ggwe asula ku nnyanja, ekibuga ekitutumufu, ekyali eky'amaanyi ku nnyanja, ggwe na bonna abakusulamu abaakubanga entiisa abatuuze b'eyo!
18
Kati ebizinga bijugumira ku lunaku lw'okugwa kwo, ebizinga mu nnyanja biwuniikiridde olw'enkomerero yo.’
19
“Kubanga Omukama Katonda kino ky'agamba: Bwe ndikufuula ekibuga amatongo, ng'ebibuga omutabanga asulamu, era bwe ndikusitulirako eddubi, amazzi enkumu ne gakubikka,
20
ndikukkiriza n'abo abakkirira mu bunnya eri abantu abaasooka; ndikuteeka n'osula mu nnyanga y'ensi, nga mu matongo ag'emirembe n'emirembe, awamu n'abo abakkirira mu bunnya, oleme kudda na kuddamu kufuna kifo mu nsi y'abalamu.
21
Nzija kukusaanyaawo mu ngeri ey'entiisa; toliddamu kubaawo. Balikunoonya naye tebalikuzuula emirembe gyonna, Omukama Katonda y'agamba.”
← Chapter 25
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 27 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48