bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Ezekiel 18
Ezekiel 18
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 17
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 19 →
1
Ekigambo ky'Omukama kyanzijira nti:
2
“Kiki kye mutegeeza bwe mugera olugero ku nsi ya Yisirayeli nti: “ ‘Bakitaabwe baalya emizabbibu emibisi, amannyo g'abaana ne ganyenyeera’?
3
“Nze nga ndi mulamu, Omukama y'agamba, temuliddayo kugera lugero olwo mu Yisirayeli.
4
Kubanga buli muntu wange; omuzadde n'omwana bombi bange; anaakolanga ekibi y'anaafanga.
5
“Omuntu bw'aliba omutuukirivu, ng'akola ebikolwa eby'obutuufu n'obutuukirivu,
6
taliira ku nsozi, amaaso ge tagatunuuliza bifaananyi bya balubaale eby'ennyumba ya Yisirayeli, tagwagwawaza muka munne, tasemberera mukazi ali mu biseera bye eby'omwezi,
7
tanyigiriza muntu, azza omusingo gwe yatwala olw'okwewolwako, takola bunyazi, emmere ye agigabirako ku muyala, ayita obusa amuwaayo ku kagoye;
8
tawola na buliika, tatwala magoba gayitiridde, omukono gwe agutangira obutabeera mwenkanya, asala mu mazima wakati w'ono n'oli,
9
agoberera amateeka gange, n'ebiragiro byange abikwata obutiribiri, oyo ye mutuukirivu, aliba mulamu, Omukama Katonda y'agamba.
10
“Singa alizaala omwana nga munyazi, ayiwa omusaayi, oba akola ekimu ku biri,
11
sso nga ye kitaawe ebyo byonna tabikolanga: ng'omwana aliira ku nsozi, agwagwawaza muka munne,
12
anyigiriza omunaku n'omwavu, anyakula ebya bandi, omusingo taguzzaayo, asitulira amaaso ebifaananyi bya balubaale, akola ebyenyinyalwa,
13
awola n'obuliika n'atwala amagoba agayitiridde, oyo alirama? Talirama. Nga bwe yamala n'akola ebyo byonna ebyenyinyalwa, wa kuttibwa, n'omusaayi gwe gulibeera ku mutwe gwe.
14
“Naye singa azaala omwana, n'alaba ebibi byonna ebya kitaawe by'akola, naye ye n'atya, n'atakola kye kimu,
15
n'ataliira ku nsozi, n'atasitulira maaso ge bifaananyi bya balubaale eby'ennyumba ya Yisirayeli, n'atagwagwawaza muka munne,
16
n'atanyigiriza muntu, n'atasaba musingo, n'atanyakula bintu, emmere ye n'agigabirako ku muyala, n'ayita obusa n'amuwaayo ku kagoye,
17
n'ataganya mukono gwe kukola bubi, n'atawola na buliika yadde okutwala amagoba agayitiridde, n'akwata amateeka gange, n'atambulira mu biragiro byange, oyo talifa olw'ebibi bya kitaawe, oyo alirama.
18
Naye kitaawe kubanga yakumpanya, yanyakula munne, n'atakola kalungi mu bantu banne, oyo y'alifa olw'ebibi bye.
19
“Mugamba nti: ‘Lwaki omwana teyeetikka musango gwa kibi kya kitaawe?’ Lwa kubeera ng'omwana yakola ebikolwa eby'obutuufu n'obutuukirivu, amateeka gange gonna n'agakwata butiribiri, aliba mulamu.
20
Omuntu aliba akoze ekibi y'alifa; omwana talyetikka musango gwa kibi kya kitaawe, ne kitaawe talyetikka musango gwa kibi kya mutabani we. Obutuukirivu bw'omutuukirivu buliba ku ye, n'ekibi ky'omubi kiriba ku ye.
21
“Naye omubi bw'akyuka n'ava ku bibi bye byonna bye yali akoze, n'akwata amateeka gange gonna, n'akola ebikolwa eby'obutuufu n'obutuukirivu, oyo alirama, talifa.
22
Emisango gye gyonna gye yazza tegirijjukirwa kumuvuunaanibwa; olw'obutuukirivu bwe yakola alibeera mulamu.
23
Kazzi nsanyukira okufa kw'omubi, Omukama Katonda y'agamba, oba nsinga kusanyukira eky'omubi okuva mu makubo ge abeere mulamu?
24
“Naye omutuukirivu bw'aliwaba n'ava mu butuukirivu bwe, n'akola obubi, n'akola ebyenyinyalwa byonna omubi by'akola, alirama? Ebikolwa byonna eby'obutuukirivu by'aliba akoze tebirijjukirwa. Olw'okubeera obulyake bwe obumuvunaanibwa olw'ebibi bye yakola, alifa.
25
“Kati mugamba nti: ‘Ekkubo ly'Omukama si ttuufu.’ Kale, ennyumba ya Yisirayeli, wulira: Ekkubo eryange lye litali ttuufu, sso si gammwe ge gatali matuufu?
26
Singa omutuukirivu awaba n'ava mu butuukirivu bwe, n'akola obubi, alifa olw'ekyo; olw'obubi bw'akoze, alifa.
27
Naye omubi akyuka n'aleka obugwenyufu bwe, n'akola ebikolwa eby'obutuufu n'obutuukirivu, aliwonya obulamu bwe.
28
Kubanga yalowooza ku nsobi ze zonna ze yakola n'azireka, aliba mulamu, talifa.
29
Naye ennyumba ya Yisirayeli egamba nti: ‘Ekkubo ly'Omukama si ttuufu.’ Amakubo agange ge gatali matuufu, nnyumba ya Yisirayeli, sso si gammwe ge gatali matuufu?
30
Awo nno, nnyumba ya Yisirayeli, buli omu ndimulamula nga ngerera ku makubo ge, Omukama Katonda y'agamba. Mwenenye, muve mu bisobyo byammwe byonna, ekibi kireme kubeera nsonga ya kuzikirira kwammwe.
31
Mweggyeko emisango gyammwe gyonna gye mwazza, mufune omutima omuggya n'omwoyo omuggya. Lwaki mwandifudde, mmwe nnyumba ya Yisirayeli?
32
Kubanga nze sisanyukira kufa kwa muntu, Omukama Katonda y'agamba. Mwenenye mubeere balamu.”
← Chapter 17
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 19 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48