bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Ezekiel 33
Ezekiel 33
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 32
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 34 →
1
Ekigambo ky'Omukama kyanzijira nti:
2
“Mwana w'omuntu, yogera eri abantu b'eggwanga lyo obagambe nti: ‘Singa nsindika ekitala mu nsi, abantu mu nsi bamala balonda omusajja omu mu nsi yaabwe abeere omukuumi waabwe,
3
ye n'alaba ekitala nga kijjira ensi, n'afuuwa eŋŋombe okulabula abantu,
4
ne wabaawo awulidde eŋŋombe naye n'atafaayo, ekitala kimala kijja ne kimutwala, omusaayi gwe guliba ku mutwe gwe.
5
Kubanga yawulira eŋŋombe n'atafaayo, omusaayi gwe guliba ku mutwe gwe. Naye bw'aliba afuddeyo, oyo aliba awonyezza obulamu bwe.
6
Naye omukuumi bw'aliba alabye ekitala nga kijja, n'atafuuwa ŋŋombe kulabula bantu, ekitala ne kijja ne kibatwalako omu ku bo, oyo aliba atwaliddwa lwa kibi kya mukuumi, era omukuumi ndimubanja omusaayi gwe.’
7
“Mwana w'omuntu, ggwe ntaddewo ng'omukuumi w'ennyumba ya Yisirayeli; bw'owuliranga ekigambo okuva mu kamwe kange, kibabuulire ku lwange.
8
Bwe ŋŋamba omubi nti: ‘Owange mubi ggwe, oli wa kufa,’ ggwe n'otoyogera kukoma ku mubi oyo ave mu makubo ge, n'amala afiira mu kibi kye, omusaayi gwe ndigubanja ggwe.
9
Naye singa olabula omubi ave mu makubo ge, n'atagavaamu, alifa olw'ekibi kye, naye ggwe oliba owonyezza obulamu bwo.
10
“Mwana w'omuntu, gamba ennyumba ya Yisirayeli nti: ‘Kino kye mugamba nti: “Emisango gyaffe gituzitooweredde, tukenena olw'okubeera gyo, tunaasobola tutya okuba abalamu?” ’
11
Bagambe nti: ‘Nze nga ndi mulamu, Omukama Katonda y'agamba, sisanyukira kufa kwa mubi, wabula njagala yeddemu ave mu makubo ge amabi abeere mulamu. Mweddemu! Mweddemu muve mu makubo gammwe amabi, lwaki mwandifudde, mmwe nnyumba ya Yisirayeli?’
12
“Mwana w'omuntu, yogera eri abantu b'eggwanga lyo nti: ‘Obutuukirivu bw'omutuukirivu tebulimuwonya bw'alikola ekisobyo, n'obubi bw'omubi tebulimuleetera kugwa kasita alyeddamu n'ava mu bugwenyufu bwe. Omutuukirivu kasita alikola ekibi, tagenda kulama olw'obutuukirivu bwe yalina.’
13
Bwe ndiba ŋŋambye omutuukirivu nti ojja kubeera mulamu, ye amala yeeyinula obutuukirivu bwe, n'akola obubi, byonna eby'obutuukirivu bye yakola bigenda kwerabirwa, alifa olw'obubi bw'aliba akoze.
14
Sso bwe ndiba ŋŋambye omubi nti: ‘Oli wa kufa,’ amala yeenenya ekibi kye n'akola ebikolwa eby'obutuufu n'obutuukirivu,
15
n'azzaayo omusingo gwe yatwala olw'okwewolwako, ne bye yanyaga n'abizzaayo, n'atambulira mu mateeka agawa obulamu, n'atakola bubi, aliba mulamu, tagenda kufa;
16
Ebibi bye byonna by'aliba akoze, tebigenda kujjukirwa ku ye; yakola ebikolwa eby'obutuufu n'obutuukirivu, oyo aliba mulamu.
17
“Naye abantu b'eggwanga lyo bagamba nti: ‘Amakubo g'Omukama si matuufu.’ Sso eryabwe lyennyini lye litali ttuufu.
18
Omutuukirivu bw'alireka obutuukirivu bwe, n'akola obubi, alifa olw'okubeera kyo;
19
naye omubi singa alireka obugwenyufu bwe, n'akola ebikolwa eby'obutuufu n'obutuukirivu, aliba mulamu okubeera kyo.
20
Ate mmwe, nnyumba ya Yisirayeli, mugamba nti: ‘Amakubo g'Omukama si matuufu.’ Naye buli omu ŋŋenda kumulamula nga ngerera ku makubo ge.”
21
Mu mwaka ogw'ekkumi n'ebiri ogw'okuwaŋŋangusibwa kwaffe, mu mwezi ogw'ekkumi, ku lunaku olwookutaano olw'omwezi, eyali atolose e Yeruzaalemu yajja gye ndi ng'agamba nti: “Ekibuga kiwambiddwa.”
22
Kyokka akawungeezi akaakulembera okujja kw'eyatoloka, omukono gw'Omukama gwali gunzizeeko, n'anzigula akamwa ng'eyatoloka tannajja wange enkeera. Olwo akamwa kange ne kagguka, saddayo kusirika.
23
Ekigambo ky'Omukama kyanzijira nti:
24
“Mwana w'omuntu, abasula mu matongo gano ag'omu nsi ya Yisirayeli bagamba nti: ‘Yiburayimu yali bw'omu naye ensi n'emuweebwa ebeere yiye; ffe tuli bangi, awo nno ensi yatuweebwa ebeere yaffe.’
25
Kale nno bagambe nti: ‘Omukama Katonda kino ky'agamba: Mmwe abalya ennyama omuli omusaayi n'amaaso gammwe ne mugasitulira ebifaananyi byammwe ebya balubaale, ne muyiwa omusaayi, mmwe mwandifunye ensi ebeere yammwe?
26
Mmwe abeesiga ebitala byammwe, abakola ebyenyinyalwa, buli omu mu mmwe agwagwawaza muka munne, mmwe mwandifunye ensi ebeere yammwe?’
27
Bagambe kino nti: ‘Omukama Katonda kino ky'agamba: Nze nga ndi mulamu, abo abasigadde mu matongo balifa ekitala; ate abali mu byalo nzija kubawa ebisolo bibalye; abali mu bwekwekero ne mu mpuku balifa kawumpuli.
28
Ensi nzija kugireka matongo, ddungu ssa; okwekuza kw'amaanyi ge kujja kukkakkana; ensozi za Yisirayeli zirisigala matongo omutali n'omu ayitamu.
29
Olwo balimanya nti nze Mukama, ensi bwe ndimala okugifuula amatongo, eddungu essa, olw'ebyenyinyalwa bonna bye baakola.’
30
“Naawe ggwe, mwana w'omuntu, abantu b'eggwanga lyo bakwogerako eyo ku bisenge ne ku miryango gy'amayumba gaabwe nga bagambagana nti: ‘Mujje muwulire ekigambo ekivudde ew'Omukama.’
31
Abantu bange bajja gy'oli nga bwe batera okukola, ne batuula awo w'oli, ne bawulira by'oyogera, naye tebabissa mu nkola. N'akamwa kaabwe balaga nga baagala, naye emitima gyabwe girulunkanira kufuna na bulyazaamaanyi.
32
Obafaananira bufaanaanyirizi ng'oli ayimba oluyimba olw'omukwano n'eddoboozi eddungi, ng'okubirako bulungi ekivuga, kubanga bawulira ebigambo byo naye tebabissa mu nkola.
33
Kino bwe kirituukirira, ate ddala kya kutuukirira, olwo lwe balimanya nti omulanzi yaliko mu bo.”
← Chapter 32
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 34 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48