bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Ezekiel 16
Ezekiel 16
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 15
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 17 →
1
Ekigambo ky'Omukama kyanzijira nti:
2
“Mwana w'omuntu yatulira Yeruzaalemu ebyenyinyalwa bye.
3
Bagambe nti: ‘Omukama Katonda kino ky'agamba ku Yeruzaalemu: Ensibuko n'obuzaale bwo bya mu nsi y'e Kanaani; kitaawo yali Mwamori ne nnyoko Mukitti.
4
Ku lunaku lwe wazaalibwa, akalira ko tekaasalibwa, era tewanaazibwa mu mazzi otukule, tewasiigibwa na munnyo era tewazingibwa mu ngozi.
5
Tewali yakutunuulira n'akukwatirwa ekisa, oba ekisaasaazi waakiri ekitono kiti, n'akukolera ebyo, wabula wasuulibwa awo otyo ebweru, kubanga weenyinyalwa okuva ku lunaku lwe wazaalirwako.
6
“ ‘Mba mpitawo, ne nkulaba ng'ovuyira mu musaayi gwo, ne nkugamba ng'oli awo nti: “Ba mulamu.”
7
Ne nkuwa okukula ng'ekimera eky'omu nnimiro. Wakula n'ovubuka, n'ofuuka ejjinja ery'omuwendo. Wasuna amabeere n'enviiri zo ne zikula; kyokka ng'oli bwereere, oli busa.
8
Nayitawo ne nkulaba; bwe nalaba nga wali otuuse okuganza, ne nkwanjululizaako ekiwenge ky'omunagiro gwange ne mbikka obwereere bwo. Nakulayirira, ne nkola endagaano naawe, Omukama Katonda y'agamba, n'ofuuka wange.
9
Ne nkunaaza n'amazzi, ne nkunaazaako omusaayi, ne nkusiiga omuzigo.
10
Ne nkwambaza ekyambalo ekya langi entobeke, ne nkunaanika engatto ez'eddiba, ne nkwambaza olugoye olwa bafuta, ne nkwambaza n'engoye eza siliki.
11
Nakuwoomya n'eby'okwetona, ne nkwambaza obukomo ku mikono n'omukuufu mu bulago bwo.
12
Nakutungako empeta mu nnyindo n'endala ku matu go, ne nkutikkira omuge omulungi ku mutwe gwo.
13
N'otonebwatonebwa ne zaabu ne ffeeza; engoye zo nga za bafuta, eza kitaani, eza siliki n'eza langi entobeke. Walyanga butta obulungi, omubisi gw'enjuki n'omuzigo gw'oliva. Wafuuka mubalagavu nnyo nnyo n'osaanira obwannaabakyala.
14
Ettutumu lyo ne lisaasaana mu mawanga olw'obulungi bwo, kubanga wali oteredde bulungi olw'ekitangaala kyange kye nali nkozesezza okukuwunda, Omukama Katonda y'agamba.
15
“ ‘Naye weeyinula obulungi bwo, ne weeyamba ettutumu lyo okukola obwamalaaya, obwenzi bwo n'obugabulira buli eyayitangawo.
16
Waddira ku byambalo byo ne weekolera ebifo ebigulumivu ebitimbe, eyo gye wakoleranga obwamalaaya. Ekifaanana kityo tekyandiguddewo era tekibangawo.
17
Waddira n'amagemu ag'omuwendo ge nakuwa, aga zaabu wange ne ffeeza wange, ne weekolera ebifaananyi bya balubaale abasajja n'okola nabyo obwamalaaya.
18
Waddira engoye eza langi entobeke n'obyambaza, n'obiwongera omuzigo n'obubaani.
19
Waddira n'emmere gye nakuwa ey'obutta obulungi, omuzigo gw'oliva n'omubisi gw'enjuki n'obiwongera ng'obubaani obuwunya akawoowo. Ekyo kye kyakolebwa, Omukama Katonda y'agamba.
20
“ ‘Waddira batabani bo ne bawala bo be wanzaalira n'obabitambirira bibalye. Awo obwenzi bwo bwali tebumala?
21
Wasanjaga abaana bange n'obawongera ebifaananyi mu muliro.
22
Bwe walinga okola ebyenyinyalwa ebyo byonna mu bwenzi bwo, tewajjukira nnaku za buvubuka bwo lwe wali obwereere, oli busa, oli awo ovuyira mu musaayi gwo.
23
“ ‘Okwongereza ku buseegu bwo (zikusanze, zikusanze! Omukama Katonda y'agamba),
24
weezimbira ekituuti, ne weekolera ekifo ekigulumivu mu buli luggya.
25
Ku buli masaŋŋanzira weezimbirayo ekifo ekigulumivu, obubalagavu bwo n'obufuula ekyenyinyalwa, ne weegabulira buli ayitawo, obwenzi bwo n'obwongera obungi.
26
Wakola obwamalaaya n'Abamisiri, baliraanwa bo ab'amaddu amayitirivu, obwenzi bwo n'obwongera obungi onnyiize.
27
Kyennava nkugololerako omukono gwange, ne nkendeeza ku mugabo gwo, ne nkuwaayo mu buluvu bw'abalabe bo, bawala b'Abafilisitiini, abaakwatibwa ensonyi olw'enneeyisa yo eŋŋwenyufu.
28
Era wakola obwamalaaya n'Abassuri kubanga ggwe tomatira; ne bwe wakola obwamalaaya era tewamatira,
29
obwenzi bwo n'obwongera obungi okutuusa ne mu nsi y'abasuubuzi eya Kaludeya, naye era ne ku luno tewamatira.
30
“ ‘Omutima gwo nga munafu, Omukama Katonda y'agamba, n'okola bino byonna ng'omukazi malaaya lukulwe!
31
Bwe wessiza ekituuti mu buli masaŋŋanzira, n'ekifo ekigulumivu mu buli luggya, tewakola nga malaaya, kubanga okusasulibwa wakunyooma.
32
Wattu omukazi omwenzi, akwana abasajja ab'ebweru mu kifo ky'owuwe!
33
Bamalaaya bonna basasulwa, naye ate ggwe ebirabo byo wabigabira baganzi bo bonna, okubaseemyaseemya okuva wonna bayingire gy'oli eri obwenzi bwo.
34
Mu bwenzi bwo oli wa ngeri ku bakazi abalala; teri ajja akunoonyaako bwamalaaya bwo; ggwe oli wa ngeri, ggwe osasula, teri kikusasulibwa.
35
“ ‘Kale nno, ggwe malaaya, wulira ekigambo ky'Omukama.
36
Omukama Katonda kino ky'agamba: Kubanga wayiwaayiwa obugagga bwo ne weereka bwereere mu bwenzi bwo ne baganzi bo, n'olw'ebifaananyi byo byonna ebya balubaale ebyenyinyalwa n'olw'omusaayi gw'abaana bo gwe wabawa,
37
nzija kukuŋŋaanya baganzi bo bonna, be weesanyusizangako, bonna be wayagala wamu n'abo bonna be wakyawa. Nzija kubaggya yonna mbakukuŋŋaanyizeeko, nkuleke bwereere mu maaso gaabwe, balabe obwereere bwo bwonna.
38
Nzija kukulamula n'ennamula eweebwa abakazi abakola obwenzi n'abakazi abayiwa omusaayi; nzija kukumalirako omusaayi gw'obusungu n'obuggya bwange.
39
Ndikuwaayo mu mikono gy'abaganzi bo; balizikiriza akatunnumba ko ne bamenyawo ebifo byo ebigulumivu; balikwambulamu ebyambalo byo ne batwala amagemu go ag'omuwendo, ne bakuleka bwereere, busa.
40
Balikukuŋŋaanyizaako eggye ne bakukuba amayinja, ne bakusanjaga n'ebitala byabwe.
41
Ennyumba zo balizookya omuliro, ne bakubonereza mu maaso g'abakazi abangi. Obwamalaaya bwo ndibukomya, era toliddayo kusasula baganzi bo.
42
Olwo obusungu bwange ku ggwe bulikkakkana, n'obuggya bwange buligenda ne bukuvaako, nditeeka nga sikyasunguwala.
43
Kubanga tewajjukira nnaku za buvubuka bwo, onsunguwazza na bino byonna; by'okoze bino byonna nzija kubissa ku mutwe gwo, Omukama Katonda y'agamba. Ku bikolwa byo byonna ebyenyinyalwa tewagattako n'obugwenyufu bwo?
44
“ ‘Buli yenna aligera olugero, alirugerera ku ggwe nti: “Omwana yafaanana nnyina.”
45
Oli muwala wa nnyoko ddala akuzaala, oyo eyanyooma bba n'abaana be; era oli ddala muganda wa bawala banno, abo abaanyooma babbaabwe n'abaana baabwe. Nnyoko yali Mukitti, ate kitaawo Mwamori.
46
Muganda wo omukulu ye Samariya ne bawala be, eyabeeranga ku luuyi lwo olw'emambuka; ate muganda wo omuto ye Sodoma ne bawala be, eyabeeranga ku luuyi lwo olw'emaserengeta.
47
Tewakoma ku kya kugoberera makubo gaabwe mabi n'okola n'ebyenyinyalwa byabwe kyokka, naye wayisa nawo empisa zo ne ziba mbi n'okubasinga.
48
Nze nga ndi mulamu, Omukama Katonda y'agamba, muganda wo Sodoma ne bawala be tebakolanga ggwe ne baganda bo kye mwakola.
49
Kino kye kibi kya muganda wo Sodoma: Ye ne bawala be baali beekuza, abekkusa bokka, abeetuulidde entende; bw'atyo bwe yali ne bawala be. Yali omunaku n'omwavu tabasuula mukono.
50
Beewanika, era ne bakola ebyenyinyalwa mu maaso gange, kyennava mbaggyawo, nga bwe mwalaba.
51
Samariya ebibi bye yakola tebituuka kyakubiri kya bibi byo; wakola ebyenyinyalwa bingi okumusinga; okulabira ku byenyinyalwa byonna bye wakola, baganda bo obafudde abatuukirivu.
52
Kale nno fa ensonyi, ggwe eyejjeereza baganda bo olw'okubeera nga mu kwonoona kwo weeyisa mu ngeri eyeenyinyalwa n'okubasinga. Awo nno swala, ofe ensonyi, kubanga baganda bo wabawa okuba abatuukirivu.
53
“ ‘Ndikomyawo abasibe ba Sodoma ne bawala be, n'abasibe ba Samariya ne bawala be, n'abasibe bo wamu n'abaabwe,
54
olyoke ofe ensonyi, oswale olwa byonna bye wakola bwe wababeerera ekikubagizo.
55
Ne muganda wo Sodoma ne bawala be baliddamu okuba nga bwe baabanga mu kusooka, ne Samariya ne bawala be baliddamu okuba nga bwe baabanga mu kusooka, naawe ne bawala bo muliddamu okuba nga bwe mwabanga mu kusooka.
56
Bwe wali okyewanise, Sodoma muganda wo nga tosobola kumwatula
57
obugwenyufu bwo bwe bwali tebunneeyerula. Kati mufaanana; osekererwa bawala ba Edomu n'emiriraano gye, n'abawala b'Abafilisitiini, na bonna abakwetoolodde abakunyooma.
58
Kati osasulira obugwenyufu bwo n'ebyenyinyalwa byo, Omukama Katonda y'agamba.
59
“ ‘Omukama Katonda kino ky'agamba: Nzija kukuyisa nga ggwe bwe wakola, kubanga wagaya ekirayiro ng'omenya endagaano.
60
Naye nzija kujjukira endagaano yange gye nakola naawe mu nnaku ez'obuvubuka bwo, ndissaawo endagaano naawe ey'olubeerera.
61
Olijjukira amakubo go ensonyi ne zikukwata bw'oliddamu okufuna baganda bo, bakulu bo ne bato bo. Ndibakuwa babe bawala bo, naye si lwa ndagaano yo gye nakola naawe.
62
Nzija kukola endagaano yange naawe; olimanya nti nze Mukama,
63
olwo ojjukire, ensonyi zikukwate, olwo toliddamu kwasamya kamwa ko olw'ensonyi bwe ndimala okukusonyiwa byonna bye wakola, y'agamba Omukama Katonda.’ ”
← Chapter 15
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 17 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48