bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Ezekiel 42
Ezekiel 42
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 41
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 43 →
1
Omusajja n'anfulumya n'antwala mu luggya olw'ebweru ku luuyi olw'emambuka, n'antuusa ku kigango ekitunudde mu luggya lw'Ekiggwa, era ekitunudde mu kisenge eky'ebweru ku luuyi olw'emambuka.
2
Mu maaso gaakyo ku luuyi olw'emambuka kyali kya mikono kikumi obuwanvu, n'emikono amakumi ataano obugazi.
3
Awo we kitunuuliridde mu miryango gy'oluggya olw'omunda era ne we kitunuuliridde mu mwaliro gw'amayinja ogw'oluggya olw'ebweru, nga waliwo ebbalaza etunudde mu bbalaza ku buli myaliiro esatu.
4
Ate mu maaso g'ebigango nga waliwo ekkuubo ery'omunda lya mikono kkumi obugazi n'emikono kikumi obuwanvu; emiryango gy'ebigango nga giri ku luuyi olw'emambuka.
5
Ebigango ebya waggulu byali bifundafunda kubanga ebbalaza zabifunzanga, nga bifunda okusinga eby'oku mwaliiro ogwa wansi ne mu makkati g'ekizimbe.
6
Ebigango byo byali bya myaliiro esatu; temwali mpagi ng'oluggya olw'ebweru ze lwalina. Ebigango ebya waggulu byali bifunda okusinga ebigango eby'oku ttaka ne ku mwaliiro ogwokubiri.
7
Waaliwo ekisenge eky'ebweru ekyagendanga obutereevu nga kigoba ebigango n'oluggya olw'ebweru. Kyagendanga kityo mu maaso g'ebigango emikono amakumi ataano.
8
Olukalala lw'ebigango ku luuyi olw'oluggya olw'ebweru nga lwa mikono amakumi ataano, ate olulala ku luuyi oluliraanye Ekiggwa lwali lwa mikono kikumi.
9
Ebigango ebya wansi byalina emiryango ebuvanjuba ng'ofulumidde mu luggya olw'ebweru.
10
Ku luuyi olw'emaserengeta ng'ekisenge eky'oluggya olw'ebweru bwe kigenda, mu maaso g'ekizimbe n'oluggya, waaliwo ebigango,
11
n'ekkuubo mu maaso gaabyo. Byali bifaanagana n'ebigango eby'emambuka. Byalina obuwanvu bwe bumu n'obugazi; nga birina emiryango egifuluma n'ebipimo ebifaanagana,
12
n'emiryango egy'emambuka gyali gifaanagana n'emiryango gy'ebigango by'emaserengeta. Waaliwo omulyango ekkuubo we litandikira, eryali ligenda ligoba obutereevu ekisenge ekidda ebugwanjuba. Mu guno we waayingirirwanga mu bigango.
13
Awo n'agamba nti: “Ebigango eby'emambuka n'ebigango eby'emaserengeta ebiri mu maaso g'oluggya lw'Ekiggwa, ebyo bigango bya bakabona, abo abasemberera Omukama, gye banaaliiranga ebiweerezebwa ebitukuvu ennyo; eyo gye banaateekanga ebitone ebitukuvu ennyo: ebitone eby'obuwunga, ebitone eby'ekitambiro olw'ekibi n'olw'ekitambiro olw'omusango, kubanga ekifo kitukuvu.
14
Bakabona bwe banaayingiranga mu kifo ekitukuvu, tebaafulumenga kujja mu luggya lw'ebweru, wabula nga bamaze okuggyako ebyambalo byabwe mwe baweerereza, kubanga bitukuvu; banaayambalanga ebyambalo ebirala, olwo ne balyoka balaga mu bifo awabeera abantu.”
15
Bwe yamala ebipimo by'oluggya olw'omunda w'Ekiggwa, n'anfulumya ng'ampisa mu kkubo ery'omulyango ogw'ebuvanjuba; nayo n'apimayo okwetooloola wonna.
16
N'apima oluuyi olw'ebuvanjuba n'olumuli, lwali lwa mikono ebikumi bitaano egy'olumuli.
17
N'apima n'oluuyi olw'emambuka, lwali lwa mikono ebikumi bitaano egy'olumuli.
18
N'apima oluuyi olw'emaserengeta, lwali lwa mikono ebikumi bitaano egy'olumuli.
19
N'apima oluuyi olw'ebugwanjuba, lwali lwa mikono ebikumi bitaano egy'olumuli.
20
Bw'atyo n'akipima ku njuyi zonna ennya; kwaliko bbugwe okwetooloola wonna, obuwanvu emikono ebikumi bitaano n'obugazi emikono ebikumi bitaano, ng'ayawula ekitukuvu ku kitali kitukuvu.
← Chapter 41
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 43 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48