bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Ezekiel 20
Ezekiel 20
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 19
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 21 →
1
Mu mwaka ogwomusanvu, mu mwezi ogwokutaano, ku lunaku olw'ekkumi, abamu ku bakadde ba Yisirayeli bajja okwebuuza ku Mukama, ne batuula awo mu maaso gange.
2
Ekigambo ky'Omukama ne kinzijira nti:
3
“Mwana w'omuntu, yogera eri abakadde ba Yisirayeli obagambe nti: ‘Omukama Katonda kino ky'agamba: Kazzi muzze kunneebuuzaako? Nze nga ndi mulamu, sijja kubakkiriza kunneebuuzaako, Omukama Katonda y'agamba.’
4
“Onoobalamula? Mwana w'omuntu, onoobalamula? Awo nno balage ebyenyinyalwa bya bajjajjaabwe.
5
Ojja kubagamba nti: ‘Omukama Katonda kino ky'agamba: Ku lunaku lwe nalonda Yisirayeli, nalayira eri ezzadde ly'ennyumba ya Yakobo, ne mbalabikira mu nsi y'e Misiri. Nagolola omukono ne ndayira, ne mbagamba nti: “Nze Mukama Katonda wammwe.”
6
Ku olwo nabalayirira nti ndibaggya mu nsi y'e Misiri mbatwale mu nsi gye nali mbalabidde, ekulukuta amata n'omubisi gw'enjuki, etejjika bulungi mu mawanga gonna.
7
Ne mbagamba nti: “Buli omu asuule eri ebyenyinyalwa kw'asimbye amaaso ge, temwegwagwawaza na bifaananyi bya balubaale eby'e Misiri, nze Mukama Katonda wammwe.”
8
Naye banjeemera bujeemezi, tebampulira, tebaggyawo byenyinyalwa kwe baali basimbye amaaso gaabwe, n'ebifaananyi bya balubaale b'e Misiri tebaabireka. Ne ŋŋamba nti nzija kubamalirako obusungu bwange, obuswandi bwange nzija kububamalirako eyo gye bali mu Misiri.
9
Naye ku lw'obulungi bw'erinnya lyange nabaggya mu Misiri, kino nakikola okuziyiza erinnya lyange okwonoonebwa mu mawanga gye baali, era agaali gandabye nga mbeeyoleka mu Misiri.
10
Nabaggya mu nsi y'e Misiri, ne mbaleeta mu ddungu,
11
ne mbawa amateeka gange, ne mbamanyisa ebiragiro byange, alibikwata alibeera mulamu olw'okubeera byo.
12
Ne mbaweerako ne Sabbaato zange, kabeere akabonero wakati wange nabo, bamanye nti nze Mukama abatukuza.
13
Naye ennyumba ya Yisirayeli yanjeemera mu ddungu: sibaatambulira mu biragiro byange, n'amateeka gange ne bagasambajja, sso ng'omuntu abikwata aliba mulamu olw'okubeera byo; Sabbaato zange ne bazoonoona nnyo. Kyennava ŋŋamba nti nzija kubamalirako obusungu bwange, mbawemmentere mu ddungu.
14
Naye ku lw'obulungi bw'erinnya lyange nabaggya mu Misiri, kino nakikola okuziyiza erinnya lyange okwonoonebwa mu mawanga gye nabaggya nga bali balaba.
15
Nalayira gye bali nga bali mu ddungu nti siribayingiza mu nsi gye nabawa, ensi ekulukuta amata n'omubisi gw'enjuki, etejjika bulungi mu mawanga gonna,
16
kubanga baasambajja ebiragiro byange, tebaagoberera mateeka gange, ne boonoona Sabbaato zange; anti omutima gwabwe gwali gwesibidde ku bifaananyi bya balubaale.
17
Naye nabatunuulira n'ekisa, ne sibatta, ne sibawemmentera mu ddungu.
18
“Nagamba abaana baabwe mu ddungu nti: ‘Temugobereranga biragiro bya bajjajjammwe, temukwatanga mpisa zaabwe, era temwegwagwawazanga na bifaananyi byabwe ebya balubaale.
19
Nze Mukama Katonda wammwe; mugobererenga amateeka gange, mukwatenga butiribiri ebiragiro byange.
20
Sabbaato zange muzitukuzenga, ke kaba kaba akabonero wakati wange nammwe. Olwo mulimanya nti nze Mukama Katonda wammwe.’
21
Naye abaana banjeemera; tebaatambulira mu mateeka gange; tebaakuuma biragiro byange, sso ng'omuntu abikwata n'abituusa aba mulamu olw'okubeera byo; ne Sabbaato zange ne bazoonoona. Ne ŋŋamba nti nzija kubamalirako obusungu bwange, mbafukumulireko obuswandi bwange mu ddungu.
22
Naye neekomako, olw'obulungi bw'erinnya lyange nakola ekyo ekyandiriziyizza okwonooneka mu maaso g'amawanga gye nali mbaggye.
23
Era nalayira gye bali nga bali mu ddungu nga bwe nali ŋŋenda okubasaasaanya mu mawanga, mbasanse mu nsi,
24
kubanga tebaatuusa biragiro byange, amateeka gange ne bagasambajja, Sabbaato zange ne bazoonoona n'amaaso gaabwe ne gakwatirwa ebifaananyi bya bajjajjaabwe ebya balubaale amaddu.
25
Nange kyennava mbawaayo eri ebiragiro ebitali birungi n'amateeka mwe bataasange bulamu.
26
Nabaleka ne beejaajaamya n'ebirabo byabwe – nga bawonga buli muggulanda w'olubuto mu muliro - ndyoke mbaleetere okwetamwa, bamanye nti nze Mukama.
27
“Olw'ekyo nno, mwana w'omuntu, yogera eri ennyumba ya Yisirayeli obagambe nti: ‘Omukama Katonda kino ky'agamba: Ne mu kino bajjajjammwe banvuma, bwe banjabulira.
28
Anti bwe nabayingiza mu nsi gye nabalayirira okubawa, bwe baalaba buli kasozi akagulumivu na buli muti oguggumiza, nga batambirirayo ebitambiro, nga baweereza eby'okunnyiiza, nga bassa eyo obuwoowo obulungi n'ebitone byabwe eby'okuyiwa.
29
Ne mbagamba nti: “Kigulumivu ki ekyo gye mugenda?” N'okutuusa ku lunaku lwa leero kiyitibwa Bama.’
30
“Kale nno, gamba ennyumba ya Yisirayeli nti: ‘Omukama Katonda kino ky'agamba: Mwegwagwawaza nga bajjajjammwe bwe baakola, ne mukwatirwa ebyenyinyalwa byabwe amaddu?
31
Bwe muweereza ebirabo byammwe nga muwonga abaana bammwe mu muliro, mwegwagwawaza n'ebifaananyi byammwe byonna ebya balubaale n'okutuusa ku lunaku lwa leero. Awo nno nze mbakkirize okunneebuuzaako, mmwe nnyumba ya Yisirayeli? Nze nga ndi mulamu, Omukama Katonda y'agamba, sigenda kubakkiriza kunneebuzaako.
32
“ ‘Kye mulowooza mu mitima gyammwe si bwe kiriba, bwe mugamba nti: “Tube ng'abantu abalala, ng'amawanga ag'omu nsi, tusinze emiti n'amayinja.”
33
“ ‘Nze nga ndi mulamu, Omukama Katonda y'agamba, nzija kubafuga n'omukono ogw'amaanyi, n'omukono omugolole, ko n'obuswandi bwonna.
34
Nzija kubaggyayo mu mawanga, mbakuŋŋaanye eyo yonna mu nsi gye musaasaanidde n'omukono ogw'amaanyi, ko n'omukono omugolole, n'obuyinza ko n'obuswandi obufukumule.
35
Ndibaleeta mu ddungu ly'abantu, eyo, maaso ku maaso, mbalamule.
36
Nga bwe nalamula bajjajjammwe mu ddungu ly'omu Misiri, bwe ntyo bwe ndibalamula, Omukama Katonda y'agamba.
37
Ndibayisa wansi w'omuggo gwange, ne mbaleeta ne mukola endagaano.
38
Ndibagogolamu abo abajeemu, abamenyi b'amateeka gange. Newandibadde ndibaggya mu nsi kati mwe bali, naye tebaliyingira mu nsi ya Yisirayeli; olwo mulimanya nti nze Mukama Katonda.
39
“ ‘Nammwe ennyumba ya Yisirayeli, Omukama Katonda kino ky'agamba: Buli omu mu mmwe agende agoberere ebifaananyi byammwe ebya balubaale, abiweereze. Naye oluvannyuma mulimpulira, ne mulekera awo okwonoona erinnya lyange n'ebirabo byammwe n'ebifaananyi byammwe ebya balubaale.
40
Kubanga ku lusozi lwange olutukuvu, ku katemyo k'olusozi lwa Yisirayeli, Omukama Katonda y'agamba, eyo ennyumba yonna eya Yisirayeli, bonna mu nsi, balimpeereza, nange ndibasanyukira; eyo gye ndibasabira ebitambiro byammwe, n'ebibala ebisooka bye muweereza n'ebyonziira byammwe byonna ebitukuvu.
41
Ndibasanyukira ng'obubaani obw'akawoowo, bwe ndimala okubaggya mu mawanga n'okubakuŋŋaanya okuva mu mawanga gye mwasaasaanyizibwa; awo mu maaso g'amawanga gonna ndyeraga nga bwendi omutukuvu mu mmwe.
42
Olwo mulimanya anti nze Mukama, bwe ndibayingiza mu nsi ya Yisirayeli, ensi gye nalayira okuwa bajjajjammwe.
43
Eyo mulijjukira amakubo gammwe n'ebibi byammwe byonna bye mweyonoonamu; olwo mulyekyawa mwennyini olw'ebibi byammwe byonna bye mwakola.
44
Mulimanya nti nze Mukama, mmwe nnyumba ya Yisirayeli, bwe ndibakolako olw'obulungi bw'erinnya lyange, naye nga sisinziira ku makubo gammwe amabi n'ebikolwa byammwe ebikyamu, Omukama Katonda y'agamba.’ ”
← Chapter 19
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 21 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48