bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Ezekiel 30
Ezekiel 30
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 29
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 31 →
1
Ekigambo ky'Omukama kyanzijira nti:
2
“Mwana w'omuntu, langa ogambe nti: ‘Omukama Katonda kino ky'agamba: “ ‘Mukube ebiwoobe nti: “Olunaku olwo zirusanze!”
3
Kubanga olunaku luli kumpi, olunaku lw'Omukama lusembedde; olunaku olwa kalenge; akadde akakeereredde amawanga.
4
Ekitala kirijjira Misiri, n'ennaku eriba mu Kuusi, abattiddwa lwe baligwa mu Misiri, obugagga bwe ne butwalibwa, n'emisingi gye ne gimenyebwa.
5
Kuusi, Puti, Ludi, Arabiya yenna, Kubu n'abantu b'ensi ey'endagaano balifa ekitala wamu nabo.
6
“ ‘Omukama Katonda kino ky'agamba: “ ‘Abawagira Misiri baligwa; n'okwewanika kw'amaanyi ge kulifeeba. Okuva e Migudoli okutuuka e Siyene battibwa n'ekitala mu makkati go, Omukama Katonda y'agamba.
7
Baliba matongo mu mawanga agafuuse amatongo, n'ebibuga byabwe ebizikiridde biriba mu bibuga ebyazikirizibwa.
8
Olwo balimanya nti nze Mukama, bwe nditeekera Misiri omuliro; na bonna abamuyamba nga babetenteddwa.
9
“ ‘Ku olwo ababaka ndibasindika mu maato bagende bakube entiisa Kuusi aliba teyeefiirayo; ennaku eribakwata ku lunaku Misiri lwe zirimusanga, kubanga lwo okujja lujja.
10
Omukama Katonda kino ky'agamba: “ ‘N'omukono gwa Nebukadurezzari kabaka w'e Babiloni ndikomya ebbiina ly'omu Misiri.
11
Ye n'abantu be, eggwanga erisinga mu gonna obukambwe, bajja kuleetebwa bazikirize ensi. Balisowolera Misiri ebitala, ensi ne bagijjuza abattiddwa.
12
Emmangamanga za Kiyira ndizifuula nkalu, ensi ne ngitunda mu mikono gy'ababi; ensi nzija kugifuula matongo na buli kigijjuzizza n'omukono gw'abagwira, nze Omukama njogedde.
13
“ ‘Omukama Katonda kino ky'agamba: Ebifaananyi bya balubaale nzija kubizikiriza, nzija kukomya ebifaananyi bya balubaale eby'e Memfi, mu Misiri temuliddayo kubaamu mulangira; n'ensi ya Misiri nzija kugibunya entiisa,
14
nzija kuleka matongo ensi Paturosi, nzija kuteekera omuliro Zowani, nzija kubonereza No.
15
Obusungu bwange nzija kubumalira ku Sini, empagi luwaga eya Misiri; nzija kutta ebbiina lya No.
16
Misiri nzija kumuteekera omuliro; Sini alyenyoola olw'obulumi, No alyabizibwa ne Memfi aliba mu nnaku buli lukya.
17
Abavubuka b'e Aveni ne Pi-Beseti balifa ekitala; n'ebibuga byennyini birigenda mu busibe.
18
Mu Takupanikesi olunaku luliddugala, lwe ndimenya ebikoligo bya Misiri, okwepanka kw'amaanyi ge lwe kulikoma. Ekire kirimubuutikira, n'ebibuga bye birigenda mu busibe.
19
Bwe ntyo bwe ndibonereza Misiri, olwo balimanya nti nze Mukama.’ ”
20
Mu mwaka ogw'ekkumi n'ogumu, mu mwezi ogusooka ku lunaku olwomusanvu, ekigambo ky'Omukama ne kinzijira nti:
21
“Mwana w'omuntu, mmenye omukono gwa Faraawo kabaka w'e Misiri, tegusibiddwa kiwero guwone yadde okusibibwa akannyo guddemu amaanyi gusobole okukwata ekitala.
22
Awo nno Omukama Katonda kino ky'agamba: Faraawo kabaka w'e Misiri mmuli bukiika. Emikono gye gyombi nzija kugimenya, omukono omulamu n'omukono ogwamenyeka, mmusuuze ekitala mu mukono gwe.
23
Nzija kusaasaanya Abamisiri mu mawanga, mbasanse mu nsi.
24
Omukono gwa kabaka w'e Babiloni nzija kugufuula gwa maanyi, mmenyeemenye emikono gya Faraawo, alisindira mu maaso ge ng'afumitiddwa obubi bw'asinda.
25
Nzija kussa amaanyi mu mikono gya kabaka w'e Babiloni, naye emikono gya kabaka w'e Misiri gijja kulagaya. Bwe ndissa ekitala kyange mu mukono gwa kabaka w'e Babiloni, n'akigalulira ku Misiri, olwo balimanya nti nze Mukama.
26
Abamisiri nzija kubasaasaanya mu mawanga, nzija kubamansa mu nsi; olwo balimanya nti nze Mukama.”
← Chapter 29
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 31 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48