bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Ezekiel 24
Ezekiel 24
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 23
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 25 →
1
Mu mwaka ogwomwenda, mu mwezi ogw'ekkumi, ku lunaku olw'ekkumi, ekigambo ky'Omukama ne kinzijira nti:
2
“Mwana w'omuntu olunaku luno lutonnyeze, olunaku luno lwennyini, olwa leero kabaka w'e Babiloni azinze Yeruzaalemu.
3
Ojja kuyisiza ennyumba eno enjeemu olugero obagambe nti: ‘Omukama Katonda kino ky'agamba: “ ‘Ssaako entamu, gisseeko; gifukeemu amazzi.
4
Suulamu ebifi by'ennyama, buli kitundu ekirungi: ekisambi n'omukono; kijjuze n'amagumba amalungi.
5
Labayo endiga esinga mu kisibo. Wansi waayo tuumayo enku; tokoseza ddala ebifi ebirimu, fumba amagumba agali muli.’
6
“Awo nno Omukama Katonda kino ky'agamba: “ ‘Zikusanze, ggwe ekibuga ekiyiwa omusaayi, entamu omuli obutalagge, ate obutalagge bwayo obutaliggwaamu! Ggyamu kifi ku kifi awatali kulobozaamu.
7
“ ‘Kubanga omusaayi gwe kyayiwa gukirimu wakati; kyaguyiwa ku lwazi olwereere; tekyaguyiwa ku ttaka enfuufu we yandigubikkidde.
8
Olw'okusiikuula obusungu bwange, mpoolere eggwanga, omusaayi kwe kugussa ku lwazi olwereere, guleme kubikkibwa.’
9
“ Olw'ekyo Omukama Katonda kino ky'agamba: “ ‘Zikusanze, ekibuga eky'omusaayi! Nange enku nzija kuzituuma.
10
Naawe tuuma enku, koleeza omuliro; fumba bulungi ennyama, tabulamu ebirungo, n'amagumba gaggyiire ddala.
11
“ ‘Entamu ŋŋenda kugissa ku manda nga nkalu okutuusa ng'ekikomo kyayo kyengeredde, kisiridde, obujama obubaddemu busiriire, n'obutalagge buggweemu.
12
Naye kutuuyanira bwereere, obutalagge bwayo obungi bugaanyi okugenda n'omuliro.
13
Obujama bwo bwe bugwenyufu bwo; kubanga nayagala okukutukuza nga tokkiriza kutukuzibwako bujama bwo; tolitukula okutuusa ng'obusungu bwange ku ggwe bukkakkanye.
14
Nze Omukama nze njogedde; kijja kutuukirira, nzija kukikola. Sijja kwejjulula, sijja kusonyiwa, sijja kweddamu. Balikulamula nga basinziira ku makubo go n'ebikolwa byo nga bwe biri, y'agamba Omukama.’ ”
15
Ate ekigambo ky'Omukama ne kinzijira nti:
16
“Mwana w'omuntu, n'olukuba lumu luti ŋŋenda okukuggyako byonna ebisanyusa amaaso go, sso ate totemanga emiranga yadde okukaaba yadde okuttulukusa amaziga.
17
Osindiranga muli, tokuma lumbe lwa mufu; ettambaala lyo ery'oku mutwe lyesibe, ne mu bigere naanikamu engatto, n'amaaso togabikka kiremba, tolya mmere ya bakungubazi.”
18
Ku makya nayogera eri abantu, ate akawungeezi mukazi wange n'afa. Enkeera nakolera ddala nga bwe nalagirwa.
19
Abantu ne bambuuza nti: “Lwaki okola bw'otyo? Tootubuulire bino kye bigenderera kututegeeza?”
20
Ne mbaddamu nti: “Ekigambo ky'Omukama kyanzijira nga kigamba nti:
21
‘Gamba ennyumba ya Yisirayeli nti Omukama Katonda kino ky'agamba: Nzija kujaajaamya Ekitukuvu kyange, okwekuza kw'amaanyi gaabwe, essanyu ly'amaaso gammwe, kye musuuta okuzaama. Batabani bammwe ne bawala bammwe be mwaleka emabega bajja kufa ekitala.
22
Nammwe mulikola nga bwe nkoze: amaaso temuligabikka na kiremba, temulirya mmere ya bakungubazi,
23
mulirekako ebitambala byammwe ku mitwe, mulinaanika engatto mu bigere; temulitema miranga yadde okukaaba, muliyenjebuka olw'ebibi byammwe, buli omu ng'asindira muganda we.
24
Ezekyeli y'anaabeera akabonero gye muli. Mukolanga nga bw'akoze. Kino bwe kirigwawo, olwo mulimanya nti nze Mukama Katonda.’
25
“Naawe, mwana w'omuntu, ku olwo lwe ndibaggyako ettendo ly'amaanyi gaabwe, essanyu n'ekitiibwa kyabwe, ekisanyusa amaaso gaabwe, omutima gwabwe kye gusuuta, ne batabani baabwe ne bawala baabwe;
26
ku olwo aliba awonyeewo alijja akubuulire ebifuddeyo.
27
Ku olwo akamwa ko kaligguka eri aliba awonyeewo, olyogera era toliddayo kubeera kasiru. Bw'otyo bw'olibeera akabonero gye bali, nabo balimanya nti nze Mukama Katonda.”
← Chapter 23
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 25 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48