bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Ezekiel 43
Ezekiel 43
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 42
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 44 →
1
Omusajja n'antwala ku mulyango ogutunudde ebuvanjuba,
2
ne ndaba ekitiibwa kya Katonda wa Yisirayeli nga kijja kiva ebuvanjuba. Eddoboozi lye nga liri ng'okuyira okw'amazzi amangi, n'ensi ng'eyakaayakana olw'ekitiibwa kye.
3
Okulabikirwa kwe nafuna nga kuli ng'okulabikirwa kwe nafuna lwe yajja okuzikiriza ekibuga, n'okulabikirwa nga kuli okw'oku mugga Kebari; ne ngwa wansi ku maaso gange.
4
Ekitiibwa ky'Omukama ne kiyingira mu Kiggwa nga kiyita mu mulyango ogutunudde ebuvanjuba.
5
Mwoyo n'ansitula n'annyingiza mu luggya olw'omunda; ekitiibwa ky'Omukama ne kijjula Ekiggwa.
6
Awo ng'omusajja ayimiridde kumpi nange, ne mpulira ayogera nange ng'ayima mu Kiggwa.
7
N'aŋŋamba nti: “Mwana w'omuntu, kino kye kifo kya nnamulondo yange era kye kifo ky'ebigere byange. Wano we nnaasula mu Bayisirayeli wakati emirembe gyonna. Ennyumba ya Yisirayeli teliddayo kwonoona linnya lyange ettukuvu; bo ne bakabaka baabwe tebaliddayo kulyonoona n'obwamalaaya bwabwe n'emirambo gya bakabaka baabwe ku bifo ebigulumivu.
8
Bwe baazimba emiryango gyabwe okumpi n'emiryango gyange n'emyango gyabwe okumpi n'emyango gyange, nga kisenge kyokka kye kyawula nze ku bo, baayonoona erinnya lyange ettukuvu n'ebyenyinyalwa bye baakola; kyennava nsunguwala ne mbawemmenta mu busungu bwange.
9
Kale nno kati banzigyirewo obwamalaaya bwabwe n'emirambo gya bakabaka baabwe, olwo nnaasula mu bo emirembe gyonna.
10
“Naye ggwe, mwana w'omuntu, ennyumba ya Yisirayeli ginnyonnyole Ekiggwa, bekkaanye ekifaananyi byakyo, baswale olw'ebibi byabwe.
11
Ensonyi bwe ziriba zibakutte olw'ebyo byonna bye baakola, babuulire enfaanana y'Ekiggwa: entereeza yaakyo, emiryango gyakyo egifuluma, emiryango gyakyo egiyingira; bamanyise enfaanana yaakyo yonna n'amateeka gaakyo gonna, n'entereeza zaakyo zonna n'ebikiragiddwako byonna. Biwandiike nga balaba, balyoke bakuume enfaanana yaakyo n'amateeka gaakyo gonna; bino babituusenga.
12
Eryo lye tteeka ly'Ekiggwa; entikko y'olusozi n'okwetooloola wonna wanaabanga watukuvu nnyo. Lino lye tteeka ly'Ekiggwa.
13
“Bino bye bipimo by'omwaliiro mu mikono, omukono ogumu nga gwenkana omukono gumu n'oluta, n'omufulejje ogugwetooloola nga gwa mukono gumu okukka wansi n'omukono gumu obugazi, n'omugo ogwetooloola ku mumwa gw'omufulejje nga gwa luta lumu. Buno bwe bugulumivu bw'omwaliiro:
14
okuva ku mufulejje ku ttaka okutuuka ku luzizi olwa wansi emikono ebiri obusimba n'omukono gumu obugazi; ate okuva ku luzizi olwa wansi okutuuka ku luzizi olunene, emikono ena obusimba n'omukono gumu obugazi.
15
Ekyoto kya mikono ena obusimba, ate okuva ku kyoto okutuuka waggulu ku mayembe ana agayimireddeko waliwo emikono ena.
16
Ekyoto kya njuyi nnya ezenkanankana: emikono kkumi n'ebiri obuwanvu ne kkumi n'ebiri obugazi.
17
Oluzizi olwa waggulu nalwo lwa njuyi ezenkanankana: emikono kkumi n'ena obuwanvu n'emikono kkumi n'ena obugazi, nga lwetooloddwa omugo gwa kitundu kya mukono n'omufulejje gwa mukono gumu. Amadaala agambuka ku mwaliiro gatunudde buvanjuba.”
18
N'aŋŋamba nti: “Mwana w'omuntu, Omukama Katonda kino ky'agamba: Gano ge mateeka ku mwaliiro bwe guliba guwedde okuzimbibwa okuweererezaako ekitambiro ekyokye n'okumansirako omusaayi:
19
Bakabona Abaleevi abasibuka mu Zadoki abansemberera okumpeereza, Omukama Katonda y'agamba, olibawa ente ennume ento olw'ekitambiro olw'ekibi.
20
Oliddira ku musaayi gwayo n'oguteeka ku mayembe ana ag'omwaliiro ku nsonda ennya ez'oluzizi olwa waggulu n'okwetoolooza omugo gwonna, otukuze bw'otyo omwaliiro era oddaabirize olw'okubeera gwo.
21
Oliddira ente ennume olw'ekitambiro olw'ekibi n'ogyokera mu kifo ekirondeddwa mu Kiggwa ebweru w'ekitukuvu.
22
Ate ku lunaku olwokubiri oliweereza embuzi ennume eteriiko kamogo ng'ekitambiro olw'ekibi; omwaliiro gulitukuzibwa nga bwe gwatukuzibwa ku nte ennume.
23
Bw'olimala okugutukuza, oliweereza ente ennume ento n'endiga ennume okuva mu kisibo, byombi nga tebiriiko kamogo.
24
Olibiweereza mu maaso g'Omukama, ne bakabona balibimamirirako omunnyo ne babiweereza Omukama ng'ekitambiro ekyokye.
25
Olimala ennaku musanvu nga buli lunaku oweereza embuzi ennume ng'ekitambiro olw'ekibi, era oliweereza n'ente ennume ento n'endiga ennume okuva mu kisibo, zonna nga teziriiko kamogo.
26
Balimala ennaku musanvu nga baddaabiriza olw'omwaliiro ne bagutukuza, bwe batyo ne bagusiiga.
27
Ennaku ezo nga bazimalirizza, ku lunaku olwomunaana n'okweyongerayo bakabona baliweereza ku mwaliiro ebitambiro byammwe ebyokye, n'ebitambiro eby'okussa ekimu. Olwo ndibasiima, Omukama Katonda y'agamba.”
← Chapter 42
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 44 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48