bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Ezekiel 44
Ezekiel 44
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 43
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 45 →
1
Omusajja n'ankomyawo ku mulyango ogw'ebweru ogw'Ekiggwa ogutunudde ebuvanjuba; gwali muggale.
2
Omukama n'aŋŋamba nti: “Omulyango guno gujja kusigalanga nga muggale, si gwa kuggulibwanga, era tewali muntu wa kuguyingirirangamu, kubanga Omukama Katonda wa Yisirayeli mw'ayise okuyingira; gwa kusigalanga nga muggale.
3
Ye omulangira akyayinza okugutuulamu n'aliira mu maaso g'Omukama. Ajja kuyingiriranga awali ekisasi ky'omulyango era afulumire eyo.”
4
Ate n'ampisa mu mulyango ogw'emambuka, n'andeeta mu maaso g'Ekiggwa. Bwe natunula, ne ndaba ekitiibwa ky'Omukama nga kijjuzizza Ekiggwa ky'Omukama, ne ngwa wansi ku maaso gange.
5
Omukama n'aŋŋamba nti: “Mwana w'omuntu, weetegereze, laba bulungi era wulira n'obwegendereza byonna bye nkunnyonnyola ebifa ku ntereeza y'omu Kiggwa ky'Omukama n'amateeka gaakyo gonna; weetegereze ennyingira y'omu Kiggwa n'enfuluma okuva mu Kitukuvu.
6
Gamba ennyumba ya Yisirayeli enjeemu nti: ‘Omukama Katonda kino ky'agamba: Ebyenyinyalwa byammwe byonna mubimale, mmwe nnyumba ya Yisirayeli.
7
Kubanga mwaleeta ab'amawanga abatali batayirire mu mutima ne mu mubiri ne mubayingiza mu kifo kyange ekitukuvu, Ekiggwa kyange ne mukijaajaamya ate eno nga bwe mumpeereza emmere, amasavu n'omusaayi; ne mumemya endagaano yange.
8
Temwatuukiriza mirimu gyammwe ku bitukuvu byange, wabula ate ne mussaawo abagwira balabirire Ekitukuvu kyange.
9
Omukama Katonda kino ky'agamba: Tewabanga mugwira atali mutayirire mu mutima ne mu mubiri ayingiranga mu Kitukuvu kyange, newandibadde omugwira yenna abeera mu Bayisirayeli.
10
“ ‘Abaleevi abaneesuuba, luli Abayisirayeli lwe banjawukanako ne bagoberera ebifaananyi byabwe ebya balubaale, balyetikka omusango gw'ekibi kyabwe.
11
Banaabanga baweereza mu Kiggwa kyange; banaakolanga ogw'obuggazi ku miryango gyakyo; banaaweerezanga mu Kiggwa. Banattanga ebitone eby'ekitambiro ekyokye, ne batambira ku lw'abantu, era banaayimiriranga mu maaso gaabwe babaweereze.
12
Naye kubanga baabaweerezanga mu maaso g'ebifaananyi byabwe ebya balubaale, ennyumba ya Yisirayeli ne bagifuukira kyesittazo eky'ekibi, nange ndayira, Omukama Katonda y'agamba, bajja kwetikka omusango gw'ekibi kyabwe.
13
Awo nno tebalinsemberera kumpeereza nga bakabona, yadde okusemberera ebintu byange n'ebitone byange ebitukuvu ennyo; basaanye bafe ensonyi olw'ebyenyinyalwa byabwe bye baakola.
14
Naye nzija kubawa obuvunaanyizibwa ku mirimu gy'omu Kiggwa, ne ku kuweereza kwonna ne ku byonna ebikolebwamu.
15
“ ‘Bakabona Abaleevi, bazzukulu ba Zadoki, abaakola n'obwesigwa emirimu gy'omu Kitukuvu kyange luli Abayisirayeli lwe banjawukanako, bo ba kusembera bampeerezenga; bajja kuyimiriranga mu maaso gange, bampeereze ebitambiro eby'amasavu n'omusaayi, Omukama Katonda y'agamba.
16
Bokka be baliyingiranga mu Kitukuvu kyange; bokka be banaasembereranga emmeeza yange, baweerezenga mu maaso gange, bakole bye nkuutidde.
17
Bwe banaayingiranga mu miryango egy'omu luggya olw'omunda, bambalanga ebyambalo mu ngoye eza kitaani; tebassangako ngoye nkole mu byoya bya ndiga bwe banaabanga baweereza ku miryango egy'omu luggya olw'omunda ne munda mu Kiggwa.
18
Beesibanga ebitambaala ebya kitaani ku mitwe gyabwe, era n'empale eza kitaani mu biwato byabwe, tebambalanga kintu kibatuuyanya.
19
Bwe banaafulumanga okugenda mu luggya olw'ebweru abantu gye bali, beeyambulanga ebyambalo byabwe bye babadde baweererezaamu, era ba kubirekanga mu bigango ebitukuvu, ne bambala ebyambalo ebirala, ne batatukuza bantu na byambalo byabwe.
20
Emitwe gyabwe tebagimwanga, naye ate tebalekanga mivumbo gyabwe kuwanvuwa, wabula bagikendeezangako.
21
Tebanga kabona yenna anywa mwenge ng'agenda okuyingira mu luggya olw'omunda.
22
Tebawasanga bannamwandu oba abakazi abagobeddwa; wabula bawasanga bawala mbeerera abasibuka mu nnyumba ya Yisirayeli oba bannamwandu ba bakabona.
23
Ba kuyigirizanga abantu bange enjawulo wakati w'ekitukuvu n'ekya bulijjo, ne babalaga enjawulo wakati w'ekitali kirongoofu n'ekirongoofu.
24
“ ‘Bwe wabangawo empaka, bakabona be banaalamulanga nga bagoberera amateeka gange. Bakwatanga amateeka gange n'ebiragiro byange ku mbaga zange zonna enkulu eziragiddwa, era batukuzanga Sabbaato zange.
25
Kabona teyeeyonoonanga ng'agenda eri omulambo, naye singa abadde kitaawe oba nnyina, mutabani we oba muwala we, muganda we oba mwannyina atannafumbirwa, kabona ayinza okuleka ne yeeyonoona olw'okubeera bo.
26
Bw'amalanga okulongoosebwa, abalirwangayo ennaku musanvu.
27
Ku lunaku lw'aliyingira mu luggya olw'omunda olw'Ekitukuvu, ampeereze mu Kitukuvu, aweerezanga ekitambiro olw'ekibi kye, Omukama Katonda y'agamba.
28
“ ‘Nze ndiba obusika bwabwe bwokka bwe balina; tobawanga busika mu Yisirayeli, kubanga nze ndiba ekyabwe ekyabowo.
29
Banaalyanga ebiweerezebwa olw'ekitone eky'obuwunga n'ebitambiro olw'ekibi n'olw'omusango, na buli kyonna mu Yisirayeli ekisingiddwayo enkomeredde nakyo kinaabanga kyabwe.
30
Byonna ebisinga mu bibala ebisooka byonna, ne mu byammwe eby'empooza n'ebya buli bitambiro byammwe, binaabanga bya bakabona. Era mubawanga n'ekitundu ekisooka eky'obutta omukisa gulyoke gubeere ku nnyumba yo.
31
Bakabona si ba kulyanga ku buli kintu oba kalannamye oba ebitaaguju by'ekinyonyi oba ensolo.’ ”
← Chapter 43
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 45 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48