bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Ezekiel 17
Ezekiel 17
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 16
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 18 →
1
Ekigambo ky'Omukama kyanzijira nti:
2
“Mwana w'omuntu, yisa olugero, ennyumba ya Yisirayeli ginyumize olufumo;
3
bagambe nti: ‘Omukama Katonda kino ky'agamba: “ ‘Empungu ennene, ey'ebiwaawaatiro eby'amaanyi, ey'ebyoya ebyegoogodde, ey'omwoya ogwa langi entobeke, yajja ku Lebanoni, n'ewamba essanso ly'entolookyo.
4
Yanojjolako akasanso n'ekatwala mu nsi y'abasuubuzi, n'ekateeka mu kibuga ky'abatunzi.
5
Era yatwala ku nsigo z'ensi, n'egiteeka mu ttaka eggimu; yagisimba ng'enzibaziba ku mazzi amangi, n'egissa awo.
6
Yaleeta omutunsi n'efuuka omuzabbibu ogulandira wansi; amatabi gaagwo ne gagitunuulira, gyo emirandira gyagwo ne gisigala we gwali. Gweyongera amatabi, ne gufuuka omuzabbibu, ne gussaako amakoola.
7
“ ‘Ne wabaawo n'empungu endala ennene, ey'ebiwaawaatiro eby'amaanyi, ebukadde omwoya. Omuzabbibu emirandira gyagwo ne gugitunuuliza empungu, n'amatabi ne gugagisitulira egufukirirenga, nga gusinziira mu kalimiro we gwali gusimbiddwa.
8
Gwasimbibwa mu ttaka ddungi, ku mazzi mangi, guleete amatabi, gubale, gufuuke muzabbibu ogw'ekitiibwa.’
9
“Bagambe nti: ‘Omukama Katonda kino ky'agamba: Gulirama? Terigukuula n'ebibala n'ebikunkumula, n'amakoola agatojjedde ne gawotoka? Okugukuulirawo ddala tekiryetaagisa mukono gwa maanyi, oba bantu bangi?
10
Laba, ne bwe gunaasimbulizibwa, gulirama? Empewo y'ebuvanjuba bw'erigukwatako, tegulikala bukazi, awo mu kalimiro we gwamera?’ ”
11
Awo ekigambo ky'Omukama ne kinzijira nti:
12
“Gamba ennyumba eno enjeemu nti: ‘Mumanyi ebyo kye bitegeeza?’ Bagambe nti: ‘Kabaka w'e Babiloni wuuyo yajja e Yeruzaalemu n'akwata bakabaka n'abakungu be, n'abaleeta ewuwe e Babiloni.
13
N'addira omu ku b'omu nnyumba ya kabaka n'akola naye endagaano, n'amulayiza, naye abakungu mu nsi n'abatwala,
14
obwakabaka abuserebye buleme kuddamu kusituka, wabula buyimirirewo ku lw'okukuuma endagaano ye.
15
Naye kabaka n'amujeemera bwe yatuma ababaka e Misiri bamuwe embalaasi n'eggye eddene. Naye anaawangula? Akola ebintu ng'ebyo awona? Anaamenya endagaano n'aluwona?
16
Nze nga ndi mulamu, Omukama Katonda kino ky'agamba, alifiira mu Babiloni, mu nsi ya kabaka oyo eyamufuula kabaka, ow'ekirayiro kye yanyooma, olw'endagaano gye yamenya gye yali akubye naye.
17
Faraawo newandibadde ng'alina ebbiina ddene n'abatabaazi nkumu, talimuyamba mu lutalo, embibiro ne bwe zinaatuumwa n'ekikomera ne kizimbibwa okutta abantu enkumu.
18
Kubanga yagaya ekirayiro n'amenya endagaano, n'olw'okubeera nga yali yeeyamye n'omukono gwe ate n'akola ebyo byonna, si wa kuluwona.
19
“ ‘Awo nno Omukama Katonda kino ky'agamba: Nze nga ndi mulamu, ekirayiro kyange kye yagaya n'endagaano yange gye yamenya nzija kubissa ku mutwe gwe.
20
Nzija kumutaayiza n'ekitimba kyange, alikwatibwa mu mutego gwange, ndimutwala e Babiloni, eyo gye ndimusalira omusango olw'obutabeera mwesigwa gye ndi.
21
Bonna abalondobe ab'omu ggye lye balifa ekitala, ate abaliwonawo balisaasaanyizibwa mu nsonda zonna; olwo mulimanya nti nze Omukama njogedde.
22
“ ‘Omukama Katonda kino ky'agamba: “ ‘Nange kennyini ndinojjola akasanso okuva ku ssanso ly'entolookyo, ne nkasimba. Ndinokola akatabi okuva mu busanso ku mutwe ne nkasimba ku lusozi oluwanvu, olutumbiivu.
23
Nzija kukasimba ku katemyo k'olusozi lwa Yisirayeli; kalisuuliza amatabi ne kabala ebibala; kalifuuka ntolookyo ey'ekitiibwa. Buli kinyonyi kirisula wansi waayo; buli kibuuka kiribudama mu kittuluze kyayo.
24
Emiti gyonna egy'ettale girimanya nti nze Omukama omuti omuwanvu nguyimpawaza, omumpi ne nguwanvuya; nkaza omuti omubisi, ate omukalu ne nguwa okutojjera. Nze Omukama nze njogedde, ate nzija kukikola.’ ”
← Chapter 16
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 18 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48