bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Ezekiel 21
Ezekiel 21
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 20
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 22 →
1
Ekigambo ky'Omukama kyanzijira nti:
2
“Mwana w'omuntu, amaaso go goolekeze emaserengeta olange ng'oyogerera amaserengeta, oyogerere ebibira by'omu Negevu.
3
Gamba ekibira ky'e Negevu nti: ‘Wulira ekigambo ky'Omukama: Omukama Katonda kino ky'agamba: Nzija kukuteekera omuliro, gwokye mu ggwe buli muti, omubisi n'omukalu. Omuliro ogulituntumuka tegulizikira; wonna kungulu wagenda kuggya, okuva emaserengeta okutuuka emambuka.
4
Buli muntu yenna aliraba nti nze Mukama nze nguteekedde; tegulizikizibwa.’ ”
5
Ne ŋŋamba nti: “Yii! Ayi Mukama Katonda! Banjogerako nti: ‘Oyo ayisa buyisa ngero!’ ”
6
Ekigambo ky'Omukama ne kinzijira nti:
7
“Mwana w'omuntu, amaaso go gatunuulize Yeruzaalemu, oyogerere Ekitukuvu, langa ng'oyogerera ensi ya Yisirayeli.
8
Gamba ensi ya Yisirayeli nti ‘Omukama kino ky'agamba: Nkuli bukiika; nzija kusowola ekitala kyange mu kiraato kyakyo, nkuttemu omutuukirivu n'omubi;
9
Kubanga ŋŋenda kutta omutuukirivu n'omubi, ekitala kyange kijja kusowolerwayo buli muntu, okuva emaserengeta okutuuka emambuka.
10
Olwo buli muntu alimanya nti: nze Omukama nze nsowodde ekitala kyange mu kiraato kyakyo, ate si kya kuzzaamu.’
11
“Mwana w'omuntu, mu maaso gaabwe sinda olw'obwennyifu bw'omutima, sinda olw'ennaku.
12
Bwe banaakubuuza nti: ‘Lwaki osinda?’ bagambe nti: ‘Olw'ebyo bye mpulidde; buli mutima gujja kutenguka na buli mukono gujja kulagaya; buli mutima gujja kutekemuka, n'entegetege zirinafuwa ng'amazzi. Kijja! Kijja kubaawo, Omukama Katonda y'agamba.’ ”
13
Ekigambo ky'Omukama kyanzijira nti:
14
“Mwana w'omuntu, langa ogambe nti: ‘Omukama Katonda kino ky'agamba.’ Gamba nti: “ ‘Ekitala, ekitala kiwagaddwa, kiwawuddwa;
15
Kiwagaddwa okusanjaga; kiwawuddwa kimyanse nga laddu…
16
Yakiwaayo kiwawulwe kikwatike mu mukono; kiwagaddwa, kiwawuddwa, kissibwe mu mukono gw'omusanjazi.’
17
Mwana w'omuntu, leekaana, kuba ebiwoobe, kubanga kijjidde abantu bange; kijjidde bonna abakungu ba Yisirayeli, bagabuddwa eri ekitala, bo wamu n'abantu bange. Awo nno weesansabage.
18
Kubanga kino kijja kubeera kigezo… Omukama Katonda y'agamba.”
19
“Kale nno, Mwana w'omuntu, langa; kuba mu ngalo. Ekitala kikube emirundi ebiri, kikube esatu. Kino kitala kya kusanjaga, kya kusanjaga okunene okubeetoolodde wonna.
20
Emitima gimerenguke, abattibwa beeyongere obungi; ntadde ekitala ekisanjaga ku buli mulyango, kimyansa nga laddu, kiwawuddwa okusanjaga.
21
Saawa ku ddyo, bw'otyo ne ku kkono wonna obwogi gye butunuziddwa.
22
Nange nzija kukuba mu ngalo, n'obuswandi bwange bulikkakkana, nze Omukama nze njogedde.”
23
Ekigambo ky'Omukama kyanzijira nti:
24
“Mwana w'omuntu lamba enguudo bbiri ekitala kya kabaka w'e Babiloni ze kinaakwata; zombi nga zitandikira mu nsi emu; teeka ekipande mu masaŋŋanzira oluguudo we lugendera mu kibuga.
25
Oluguudo olumu lulambire ekitala ekinaalaga e Rabba eky'Abammoni, n'olulala olulambire ekitala ekinaalaga mu Yuda ne Yeruzaalemu okuli bbugwe omugumu.
26
Kubanga kabaka w'e Babiloni ayimiridde mu masaŋŋanzira enguudo ebbiri we zaawukanira ng'ayagala okulagulwa: akyanga obusaale, yeebuuza ku bulubaale bwe obw'awaka, yeekebejja ekibumbe.
27
Ebigwa mu gwa ddyo bya Yeruzaalemu: wa w'anassa endoddo ezikoona, aw'okuduumirira okusanjaga, ow'okulayiriza enduulu, ow'okussa endoddo z'okukoona enzigi, aw'okutuuma embibiro n'okuzimba ekikomera.
28
Mu maaso gaabwe ali ng'alaguuliriza obwereere, balayira n'ebirayiro, naye alibajjukiza ekibi kyabwe n'abawamba.
29
Awo nno Omukama Katonda kino ky'agamba: Kubanga muleetedde ebibi byammwe okujjukirwa nga mwoleka emisango gyammwe, n'ebibi byammwe ne birabika mu byonna bye mukola, mugidde ne mukola mutyo mujjukirwe, mujja kuwambibwa.
30
Naye ggwe, omulangira wa Yisirayeli, omubi kalibugwagwa, ennaku gwe zikeereredde, obw'okulamulibwa gwe butuukiridde,
31
Omukama Katonda kino ky'agamba: Ettambaala liggye ku mutwe, n'engule gyetikkule. Ebintu tebijja kusigala nga bwe byali; ekitene kijja kugulumizibwa, n'ekigulumivu kissibwe wansi.
32
Kifulukwa! Kifulukwa! Kifulukwa bwe nzija okukifuula; tekiridda buggya okutuusa lw'anajja oyo nnannyini kyo mu butuufu, oyo gwe ndikiwa.
33
“Naawe, mwana w'omuntu, langa, ogambe nti: ‘Omukama Katonda kino ky'agamba ku Bammoni ne ku bivumo byabwe.’ Olibagamba nti: “ ‘Ekitala, ekitala, kisowoddwa kusanjaga, kiwawuddwa kuzikiriza, kumyansa nga laddu!’
34
Newandibadde baalabikirwa bya bulimba ku lulwo, nga n'ebyalagulwa ku lulwo byali bya sswakaba, birissibwa ku nsingo z'ababi, olunaku be lukeereredde, obw'okulamulibwa kwabwe be lutuukiridde.
35
Kizzeeyo mu kiraato kyakyo. Mu kifo mwe watonderwa, mu nsi y'obuzaale bwo, mwe nzija okukulamulira.
36
Nzija kukumalirako obusungu bwange, ndikufuuyira omuliro gw'obuswandi bwange; ndikuwaayo mu mikono gy'abantu abakambwe, abamanyirivu mu kuzikiriza.
37
Oliba nku za muliro, omusaayi gwo guliyiibwa mu nsi yo; toliddayo kujjukirwa, kubanga nze Omukama nze njogedde.”
← Chapter 20
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 22 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48