bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Ezekiel 12
Ezekiel 12
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 11
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 13 →
1
Ekigambo ky'Omukama kyanzijira nti:
2
“Mwana w'omuntu, osula mu nnyumba enjeemu, abalina amaaso ag'okulaba naye abatalaba, n'amatu ag'okuwulira naye abatawulira, kubanga bo nnyumba njeemu.
3
Kale nno ggwe, mwana w'omuntu, siba engugu egenda mu buwaŋŋanguse; awo emisana nga balaba, situla ove mu kifo kyo olage awalala; mpozzi banaateegera, kubanga bo nnyumba njeemu.
4
Engugu yo gye wasibidde obuwaŋŋanguse ojja kugifulumya misana nga balaba; ate era akawungeezi nga balaba ogende ng'abo abagenda mu buwaŋŋanguse bwe bakola.
5
Era nga balaba, sima ekituli mu kisenge oyite omwo.
6
Gyetikke ku kibegabega nga balaba ogifulumye nga bukutte. Weebikke mu maaso oleme kulaba nsi, kubanga ggwe nkutaddewo ng'akabonero eri ennyumba ya Yisirayeli.”
7
Ne nkola nga Omukama bwe yandagira: emisana ne nfulumya engugu gye nali nsibidde obuwaŋŋanguse, ate akawungeezi ne nsima n'emikono ekituli mu kisenge, ate nga bukutte ne ngifulumya nga ngyetisse ku kibegabega nga bonna balaba.
8
Ku makya ekigambo ky'Omukama ne kinzijira nti:
9
“Mwana w'omuntu, ennyumba ya Yisirayeli, ennyumba enjeemu, tebakubuuzizza nti: ‘Owange, okola ki?’
10
Bagambe nti: ‘Omukama Katonda kino ky'agamba: Bino bikwata ku mulangira ali mu Yeruzaalemu ne ku nnyumba yonna eya Yisirayeli abali eyo’
11
Bagambe nti ‘Nze ndi kabonero gye muli.’ Kye nkoze kye kiribakolebwa; bagenda kuwaŋŋangusibwa ng'abasibe.
12
Omulangira ali mu makkati gaabwe alyetikka ku kibegabega engugu ye enjuba ng'egwa, n'afuluma; balimusimira ekituli mu kisenge mw'aliyita; alyebikka mu maaso aleme kulaba nsi.
13
Ndimutaayiza n'ekitimba kyange, era alikwatibwa mu mutego gwange; ndimutwala e Babiloni, mu nsi y'Abakaludeya; nayo yennyini taligiraba; eyo gy'alifiira.
14
Na bonna abamubugiriza: abagabe be n'eggye lye, ŋŋenda kubasaasaanya mu buli nsonda; ndibawondera n'ekitala ekisowole.
15
Balimanya nti nze Mukama, bwe ndimala okubasaasaanya mu mawanga, n'okubamansamansa mu nsi.
16
Naye mu bo nditalizaamu abatono ekitala, enjala ne kawumpuli, balyoke babuulire mu mawanga gye baagenda ebyenyinyalwa bye baakola, n'abo bamanye nga nze Mukama.”
17
Era ekigambo ky'Omukama ne kinzijira nti:
18
“Mwana w'omuntu emmere yo girye ng'okankana, n'amazzi go ganywe ng'ojugumira, ng'otidde.
19
Bannansi bagambe nti: ‘Omukama Katonda kino ky'agamba ku abo abasula mu Yeruzaalemu ne mu nsi ya Yisirayeli: Balirya emmere yaabwe nga beeraliikirivu, n'amazzi gaabwe baliganywera mu kutya, kubanga ensi yaabwe egenda kuggyibwako kyonna ky'erina, olw'ebikolobero by'abo bonna abagisulamu.
20
Ebibuga kati omuli abantu birirekebwa ttayo, n'ensi erifuuka matongo; olwo mulimanya nti nze Mukama.’ ”
21
Era ekigambo ky'Omukama kyanzijira nti:
22
“Mwana w'omuntu, lugero ki olwo lwe mugera mu nsi ya Yisirayeli nti: ‘Ennaku zo zeeyerawo, naye buli kulabikirwa temuva kantu’?
23
Kale nno bagambe nti: ‘Omukama Katonda kino ky'agamba: Olwo olugero nzija kulusirissa, teruddemu kugerebwa mu Yisirayeli.’ Bagambe nti: ‘Ennaku zisembedde buli kulabikirwa lwe kulituukirizibwa.
24
Teriddayo kubaawo kulabikirwa kwa bulimba oba okulagula okuguya mu nnyumba ya Yisirayeli.
25
Naye nze Omukama ndyogeranga ekigambo kye ndiba njogedde, era kirituukiriranga; kubanga mu budde bwammwe, mmwe nnyumba enjeemu, ndyogeranga ekigambo ne nkituukiriza, Omukama Katonda y'agamba.’ ”
26
Era Ekigambo ky'Omukama ne kinzijira nti:
27
“Mwana w'omuntu, ennyumba ya Yisirayeli yiino bagamba nti: ‘Ono by'alabikirwa bya nnaku nnyingi mu maaso; alanga bya budde obukyali ewala.’
28
Kale nno bagambe nti: ‘Omukama Katonda kino ky'agamba: Tewali bigambo byange bijja kulwanga; buli kye nnaayogeranga kijjanga kutuukirizibwanga, Omukama Katonda y'agamba.’ ”
← Chapter 11
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 13 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48