bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Ezekiel 7
Ezekiel 7
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 8 →
1
Ekigambo ky'Omukama kyanzijira nti:
2
“Mwana w'omuntu, Omukama Katonda kino ky'agamba ensi ya Yisirayeli: Enkomerero! Enkomerero etuukiridde ensonda ennya ez'ensi.
3
Enkomerero ekutuukiridde; ŋŋenda kukuteera obusungu bwange era nkulamule nga ngerera ku makubo go, nkuvunaane n'ebyenyinyalwa byonna bye wakola.
4
Sijja kukuttira ku liiso, sijja kukusaasira, wabula nzija kukuvunaana amakubo go n'ebikolwa byo ebyenyinyalwa ebiri mu ggwe. Olwo mulimanya nti nze Mukama.
5
“Omukama Katonda kino ky'agamba: Akabenje! Akabenje akatabangawo kaakano kajja.
6
Enkomerero etuuse! Enkomerero etuuse! Ekutuukiridde; etuuse!
7
Kazigizigi abatuukiridde, mmwe abali mu nsi; obudde butuuse, olunaku lusembedde, olunaku olw'akasattiro, sso si olw'essanyu ku nsozi.
8
Ndi kumpi okukuteera obusungu bwange, nkumalireko obuswandi bwange; ndikulamula nga ngerera ku makubo go, ndikuvunaana ebyenyinyalwa byonna bye wakola.
9
Sijja kukutunuuliza kisa, sijja kukusaasira, wabula nzija kukuvunaana amakubo go n'ebikolwa byo ebyenyinyalwa ebiri mu ggwe; olwo mulimanya nti nze Mukama akuba.
10
“Olunaku luuluno! Lutuuse! Kazigizigi atuuse! Ddamula ayanyizza, olunkulu lutumbudde.
11
Obukambwe bukuze ne bufuuka omuggo ogw'okubonereza obugwenyufu; tewali mu bo anaasigalawo, mpaawo n'omu mu bbiina lyabwe, yadde akantu okuva mu bugagga bwamu, yadde eky'omuwendo kyonna.
12
“Obudde butuuse, olunaku lusembedde: omuguzi tasanyuka, n'omutunzi tanakuwala, kubanga obusungu buli ku kibiina kyonna;
13
kubanga atunda talinunula ky'atunze bwe baliba bakyali balamu, anti okulabikirwa kuli ku kibiina kyonna, tekujja kusazibwamu. Olw'okubeera ebibi byabwe, tewali aliwonya bulamu bwe.
14
Bafuuye ekkondeere, bategese byonna, naye tewali agenda ku lutalo, kubanga obusungu bwange buli ku kibiina kyonna.
15
Ebweru kitala, ate munda kawumpuli na njala; abali mu byalo balifa kitala, abali mu kibuga kawumpuli n'enjala biribakavvula.
16
Bakaawonawo abaliba basumattuse, balibeera mu nsozi nga basindogoma ng'amayiba g'omu biwonvu, buli omu olw'ebibi bye.
17
Emikono gyonna giriragaya, n'entegetege zirinafuwa ng'amazzi.
18
Balyesiba ebikutiya, okutya ne kubabikka; ensonyi ziribajjula ku maaso, n'emitwe gyonna girimwebwa.
19
Ffeeza waabwe balimukasuka mu nguudo, zaabu aliba afuuse ekintu ekijama. Ffeeza ne zaabu waabwe tebirisobola kubawonya ku lunaku lw'obusungu bw'Omukama. Tebiribawonya njala era tebalijjuza mbuto zaabwe nabyo, kubanga bye byali ekyesittazo ekyabaleetera okwonoona.
20
Beetenderanga mu mayinja gaabwe ag'omuwendo ag'ettendo; baageeyambanga okukola ebifaananyi byabwe ebyenyinyalwa n'ebibumbe byabwe omutali nsa. N'olw'ekyo nzija kugabafuuliramu ekintu ekitali kirongoofu.
21
Ndigawaayo ng'omunyago mu mikono gy'abagwira, ng'olwayo mu mikono gy'ababi mu nsi, bagajaajaamye.
22
Ndyetunuulira eri, siribatunuulira nga bajaajaamya ekifo kyange ekitukuvu; abanyazi balikiyingiramu ne bakijaajaamya.
23
“Mukole enjegere kubanga ensi ejjudde okuyiwa omusaayi n'ekibuga kijjudde obukambwe.
24
Ndireeta eggwanga erisinga gonna obubi ne litwala amayumba gaabwe; ndikomya okwekuza kw'ab'amaanyi n'ebifo byabwe ebitukuvu bijja kujaajaamizibwa.
25
Entiisa bw'erijja, balinoonya eddembe naye teriba kantu.
26
Akabi kaliddirira akabi, n'olugambo luliddirirwa olugambo; balinoonya okulabikirwa okuva ew'omulanzi; okuyigiriza kwa bakabona ku tteeka kulibula, era kye kimu ne ku bibuuliriro by'abakadde.
27
Kabaka alikungubaga, n'omulangira alyebungululwa entiisa, n'emikono gy'abantu b'omu nsi girikankana. Ndibayisa ng'amakubo gaabwe bwe gali; ndibalamula ng'empisa zaabwe bwe ziri. Olwo balimanya nti nze Mukama.”
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 8 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48