bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Ezekiel 48
Ezekiel 48
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 47
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
1
“Gano ge mannya g'ebika: “Ku nsalo emambuka ku kkubo ly'e Ketuloni okutuuka e Lebo-Kamati ne Kazari-Enani ku nsalo za Damasiko emambuka okuliraana Kamati, okuva ku nkingi ey'ebuvanjuba okutuuka ku y'ebugwanjuba, kye kitundu kimu, ye Daani.
2
“Okusalagana n'ekitundu kya Daani, okuva ku luuyi olw'ebuvanjuba okutuuka ku lw'ebugwanjuba, kye kitundu kimu, ye Aseeri.
3
“Okusalagana n'ekitundu kya Aseeri, okuva ku luuyi olw'ebuvanjuba okutuuka ku lw'ebugwanjuba, kye kitundu kimu, ye Nafutali.
4
“Okusalagana n'ekitundu kya Nafutali, okuva ku luuyi olw'ebuvanjuba okutuuka ku lw'ebugwanjuba, kye kitundu kimu, ye Manasse.
5
“Okusalagana n'ekitundu kya Manasse, okuva ku luuyi olw'ebuvanjuba okutuuka ku lw'ebugwanjuba, kye kitundu kimu, ye Efurayimu.
6
“Okusalagana n'ekitundu kya Efurayimu, okuva ku luuyi olw'ebuvanjuba okutuuka ku lw'ebugwanjuba, kye kitundu kimu, ye Rubeni.
7
“Okusalagana n'ekitundu kya Rubeni, okuva ku luuyi olw'ebuvanjuba okutuuka ku lw'ebugwanjuba, kye kitundu kimu, ye Yuda.
8
“Okusalagana n'ekitundu kya Yuda, okuva ku luuyi olw'ebuvanjuba okutuuka ku lw'ebugwanjuba, kye kitundu kye mulyawulako, nga kya mikono emitwalo ebiri mu enkumi ttaano mu bugazi, ate mu buwanvu okuva ebuvanjuba okutuuka ebugwanjuba nga kyenkana buli kimu ku bitundu by'ebika; Ekitukuvu kiriba mu kyo wakati.
9
“Ekitundu kye mulyawulirako Omukama kiriba kya mikono emitwalo ebiri mu enkumi ttaano obuwanvu, ate obugazi omutwalo gumu.
10
Kino kye kiriba ekitundu ekitukuvu, ekya bakabona: ku luuyi olw'emambuka kiriba kya mikono emitwalo ebiri mu enkumi ttaano obuwanvu, ate ku luuyi olw'ebugwanjuba kiriba kya mikono omutwalo gumu obugazi; ku luuyi olw'ebuvanjuba emikono omutwalo gumu obugazi; ate ku luuyi olw'emaserengeta, emikono emitwalo ebiri mu enkumi ttaano obuwanvu; mu kyo wakati we waliba Ekitukuvu ky'Omukama.
11
Kiriba kya bakabona abasiige, bazzukulu ba Zadoki abampeereza n'obwesigwa, abatanjabulira ng'Abaleevi bwe bannesuuba luli Abayisirayeli lwe banjawukanako.
12
Kiriba kitundu kyabwe ekivudde ku kitundu ekisinga obutukuvu eky'ensi nga kisalagana n'ekitundu ky'Abaleevi.
13
“N'Abaleevi baliweebwa ekitundu ekisalagana n'obutaka bwa bakabona, nga kya mikono emitwalo ebiri mu enkumi ttaano obuwanvu, ate obugazi omutwalo gumu. Obuwanvu bwonna awamu buliba emikono ebiri n'ekitundu, n'obugazi emikono omutwalo gumu.
14
Tebakitundangako yadde okukiwaanyisamu; lino lye ttaka erisinga obulungi era si lya kuweebwa mulala, kubanga ttukuvu eri Omukama.
15
“Ekitundu ekisigadde eky'emikono enkumi ttaano obugazi n'emitwalo ebiri mu enkumi ttaano obuwanvu, kiriba kya kweyambisibwa kibuga mu ngeri eya bulijjo, ne ku lw'okusengamu n'olw'amalundiro. Ekibuga kiribeera mu kyo wakati;
16
Era bino bye bipimo byakyo: ku luuyi olw'emambuka, emikono enkumi nnya mu ebikumi bitaano; ku luuyi olw'ebuvanjuba, emikono enkumi nnya mu ebikumi bitaano; ku luuyi olw'emaserengeta, emikono enkumi nnya mu ebikumi bitaano, ne ku luuyi olw'ebugwanjuba emikono enkumi nnya mu ebikumi bitaano.
17
Amalundiro g'ekibuga ga kubeera n'emikono, emambuka ebikumi bibiri mu ataano, emaserengeta ebikumi bibiri mu ataano, ebuvanjuba ebikumi bibiri mu ataano, n'ebugwanjuba ebikumi bibiri mu ataano.
18
Ekitundu ekiriba kisigaddewo, ekisalagana n'obutaka obutukuvu, nga kigenda kisalagana nakyo, kiriba kya mikono omutwalo gumu ku luuyi olw'ebuvanjuba n'omutwalo ku luuyi olw'ebugwanjuba. Ebirimibwamu bye birisakirira abatuuze b'omu kibuga emmere.
19
Abakozi b'omu kibuga, abaggyibwa mu bika byonna ebya Yisirayeli, be balikirimanga.
20
Ekitundu kyonna kye mwawulangako kya kubeera n'enjuyi ezenkanankana: emikono emitwalo ebiri mu enkumi ttaano ku buli luuyi. Kye ky'okubaamu ekitundu ekitukuvu n'ekibanja ky'ekibuga.
21
“Ekiriba kifisseewo ku njuyi zombi olw'ekitundu ekitukuvu n'olw'ekibanja ky'ekibuga, kiriba kya mulangira. Kirigenda ebuvanjuba ku mikono emitwalo ebiri mu enkumi ttaano egy'ekitundu ekitukuvu ne kikwata ku nsalo ez'ebuvanjuba; ate ne kigenda ebugwanjuba okuva ku mikono emitwalo ebiri mu enkumi ttaano okutuuka ku nsalo ey'ebugwanjuba. Ebitundu bino byombi birigenda bisalagana n'ebitundu by'ebika; biriba bya mulangira; ate byo, ekitundu ekitukuvu n'Ekiggwa, biriba mu kyo wakati.
22
Awo nno obutaka bw'Abaleevi n'ettaka ly'ekibuga biriba mu makkati g'ekitundu ky'omulangira. Ekitundu ky'omulangira kiriba mu makkati g'ensalo ya Yuda n'eya Benyamiini.
23
“Ebika ebirala: Okuva ku luuyi olw'ebuvanjuba okutuuka ku lw'ebugwanjuba kye kitundu kimu, ye Benyamiini.
24
“Okusalagana n'ekitundu kya Benyamiini, okuva ku luuyi olw'ebuvanjuba okutuuka ku lw'ebugwanjuba kye kitundu kimu, ye Simewoni.
25
“Okusalagana n'ekitundu kya Simewoni, okuva ku luuyi olw'ebuvanjuba okutuuka ku lw'ebugwanjuba kye kitundu kimu, ye Yissakari.
26
“Okusalagana n'ekitundu kya Yissakari, okuva ku luuyi olw'ebuvanjuba okutuuka ku lw'ebugwanjuba kye kitundu kimu, ye Zebuluni.
27
“Okusalagana n'ekitundu kya Zebuluni, okuva ku luuyi olw'ebuvanjuba okutuuka ku lw'ebugwanjuba kye kitundu kimu, ye Gaadi.
28
“Okusalagana n'ekitundu kya Gaadi, ku luuyi olw'emaserengeta, ensalo zirigenda okuva e Tamari okutuuka ku mazzi ge Meriba-Kadesi n'okukoota Ekiwonvu Misiri okutuukira ddala ku Nnyanja Ennene.
29
“Eyo ye nsi gye munaagabira ebika bya Yisirayeli ng'obusika, era ebyo bye binaaba ebitundu byabwe,” Omukama Katonda y'agamba.
30
“Gino gye miryango gy'ekibuga egifuluma: ku luuyi olw'emambuka, oluweza emikono enkumi nnya mu ebikumi bitaano obuwanvu,
31
emiryango gy'ekibuga girituumibwa amannya g'ebika bya Yisirayeli, kuliko emiryango esatu: omulyango gwa Rubeni, omulyango gwa Yuda n'omulyango gwa Leevi.
32
Ku luuyi olw'ebuvanjuba, oluweza emikono enkumi nnya mu ebikumi bitaano obuwanvu, kuliko emiryango esatu: omulyango gwa Yozefu, omulyango gwa Benyamiini n'omulyango gwa Daani.
33
Ku luuyi olw'emaserengeta, oluweza emikono enkumi nnya mu ebikumi bitaano obuwanvu, kuliko emiryango esatu: omulyango gwa Simewoni, omulyango gwa Yissakari n'omulyango gwa Zebuluni.
34
Ate ku luuyi olw'ebugwanjuba oluweza emikono enkumi nnya mu ebikumi bitaano obuwanvu kuliko emiryango esatu: omulyango gwa Gaadi, omulyango gwa Aseeri n'omulyango gwa Nafutali.
35
Obwetooloovu bwonna buliba bwa mikono omutwalo gumu mu kanaana. “Erinnya ly'ekibuga okuva ku olwo liriba 'Omukama Ali Eyo'.”
← Chapter 47
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48