bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Ezekiel 22
Ezekiel 22
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 21
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 23 →
1
Ekigambo ky'Omukama kyanzijira nti:
2
“Naawe mwana w'omuntu, onoolamula, onoolamula ekibuga eky'omusaayi? Awo nno mulage ebyenyinyalwa bye byonna,
3
mugambe nti: ‘Omukama Katonda kino ky'agamba: Wattu ekibuga ekiyiwa omusaayi mu kyo wakati, okwezimbiriza obudde, ekikola ebifaananyi bya balubaale okwegwagwawaza.
4
Ozzizza omusango olw'omusaayi gwo gwe wayiwa n'olw'ebifaananyi byo ebya balubaale bye wakola ebyakwonoona; ennaku zo ozisembezezza n'enkomerero y'emyaka gyo etuuse. Kyennava nkufuula ekisekererwa mu mawanga n'eky'okunyooma mu nsi yonna.
5
Abakuli okumpi n'abakuli ewala balikunyooma, ggwe ow'erinnya ebbi, ajjudde obutabanguko.
6
“ ‘Laba, abakungu ba Yisirayeli abali mu ggwe buli omu yeeyamba obuyinza bwe okuyiwa omusaayi.
7
Mu makkati go omuzadde omusajja n'omuzadde omukazi baanyoomebwa, mu ggwe omugwira n'anyigirizibwa; mulekwa ne nnamwandu baabonyaabonyezebwa.
8
Mugayizza ebintu byange ebitukuvu ne Sabbaato zange ne muzoonoona.
9
Mu ggwe mulimu abantu abakonjera, abagenderera okuyiwa omusaayi; mu ggwe mulimu abaliira ku nsozi, n'abakola eby'obugwenyufu.
10
Mu ggwe mulimu abeebaka ne baka bakitaabwe, mu ggwe mulimu abatoowaza abakazi nga bakyali boonoonefu mu biseera byabwe eby'omwezi.
11
Mu ggwe omu akola eby'obugwenyufu ne muka munne, omulala n'agwagwawaza mukaamwana; omulala mu ggwe n'ayonoona mwannyina, muwala wa kitaawe ddala.
12
Mu ggwe abantu bakkiriza okulya enguzi bayiwe omusaayi; okkiriza okuwola n'obuliika n'okutwala amagoba agayitiridde n'ofunira ku munno ng'omulyazaamaanyi; nange onneerabidde, Omukama Katonda y'agamba.
13
“ ‘Engalo zange nzija kuzikubamu olw'amagoba agayitiridde ge wakola ne ku lw'omusaayi gwe wayiwa mu makkati go.
14
Omutima gwo guliguma n'emikono gyo giribaamu otwanyi ku lunaku lwe ndikukwatamu? Nze Omukama njogedde era nzija kukikola.
15
Nzija kukusaasaanya mu mawanga, nkusanse mu nsi; ndikomya obwonoonefu bwo.
16
Olw'ensobi zo zennyini olyeyonoona mu maaso g'amawanga, olwo olimanya nti nze Mukama.’ ”
17
Ate ekigambo ky'Omukama ne kinzijira nti:
18
“Mwana w'omuntu, ennyumba ya Yisirayeli enfuukidde ssengere; bino byonna: ekikomo, ebbaati, essasi ne ffeeza bifuuse ssengere mu kabiga wakati.
19
N'olw'ekyo Omukama Katonda kino ky'agamba: Kubanga mwenna mufuuse ssengere, nzija kubakuŋŋaanyiza mu Yeruzaalemu wakati.
20
Ng'abantu bwe bakuŋŋaanyiza ffeeza n'ekikomo, ekyuma, essasi n'ebbaati mu kabiga, omuliro ne gukumwa wansi ne bisaanuuka, bwe ntyo mu buswandi ne mu busungu bwange bwe ndibakuŋŋaanya ne mbassaamu musaanuuke.
21
Ndibakuŋŋaanya ne mbateekera n'omuliro ogw'obuswandi bwange; mulisaanuukira omwo munda.
22
Nga ffeeza bw'asaanuukira mu kabiga, nammwe bwe mulisaanuuka mutyo mu ye. Mulimanya nti nze Omukama mbamaliddeko obusungu bwange.”
23
Era ekigambo ky'Omukama kyanzijira nti:
24
“Mwana w'omuntu, mugambe nti: ‘Ggwe oli ttaka okutatonnye nkuba yadde oluwandaggirize ku lunaku olw'obusungu.
25
Abakungu mu ye bali ng'empologoma ewuluguma, egajambula omuyiggo; bakavvula abantu, batwala n'eby'obugagga, ne bannamwandu babongedde obungi mu ye.
26
Bakabona batyobodde etteeka lyange ne bajaajaamya ebintu byange ebitukuvu; tebaawula kitukuvu na kitali kitukuvu; tebayigiriza njawulo wakati w'ekitali kirongoofu n'ekirongoofu; eky'okutuukiriza Sabbaato zange bakizibira amaaso, ne mpeebuuka mu bo.
27
Abakungu baabwe mu ye, bali ng'emisege egigajambula omuyiggo gwagyo; bayiwa omusaayi n'okuzikiriza obulamu olw'okufuna mu bulyazaamaanyi.
28
Abalanzi be byonna ebyo babimaalako ennoni n'okulabikirwa omutaali butuufu n'okulanga ebya sswakaba nga bagamba nti: “Omukama Katonda kino ky'agamba,” sso ng'Omukama tannayogera.
29
Abantu b'ensi eno balyazaamaanya, banyaga n'eryanyi, babonyaabonya omunkuseere n'omunaku, banyigiriza omugwira awatali kubalira.
30
Mu bo nanoonyaamu omusajja eyandizimbye bbugwe, eyandiyimiriddewo n'obuzira mu maaso gange ataase ensi nneme kugisaanyaawo, naye saamusanga.
31
Awo nno nzija kubamalirako obusungu bwange, mbasenkenye n'omuliro gw'obuswandi bwange, nzise ku mitwe gyabwe bye baakola, Omukama Katonda y'agamba.’ ”
← Chapter 21
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 23 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48