bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Ezekiel 39
Ezekiel 39
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 38
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 40 →
1
“Mwana w'omuntu, langa ng'oyogerera Gogi ogambe nti: ‘Omukama Katonda kino ky'agamba: Nkuli bukiika, ggwe Gogi omulangira ow'oku ntikko ow'e Meseki ne Tubali.
2
Nzija kukukyusa otunule ennyuma nkuwaleewale. Ndikuggya ewala eyo emambuka ne nkuleeta ku nsozi za Yisirayeli.
3
Ndikuba omusaale gwo okuva mu mukono gwo ogwa kkono, n'obusaale bwo ndibukusuuza mu gwa ddyo.
4
Oligwa ku nsozi za Yisirayeli: ggwe, eggye lyo n'amawanga agali naawe; ndikugabula ennyonyi enkwakkuzi eza buli kika n'ebisolo eby'ettale.
5
Oligwa eyo ku ttale, kubanga nze njogedde, Omukama Katonda y'agamba.
6
Nditeekera Magogi omuliro n'abo abeetuulidde entende; olwo balimanya nti nze Mukama.
7
N'erinnya lyange ettukuvu ndirimanyisa mu bantu bange Yisirayeli; siriddayo kuleka linnya lyange ettukuvu kwonoonebwa, n'amawanga galimanya nti nze Mukama, Omutukuvu wa Yisirayeli.
8
Kijja; kijja kugwaawo, Omukama Katonda y'agamba; luno lwe lunaku lwe nayogerako.
9
“ ‘Olwo abasula mu bibuga bya Yisirayeli balibifuluma ne bateekera omuliro ne bookya ebyokulwanyisa: engabo empaala n'engabo entono, emisaale, obusaale, embuukuuli n'amafumu; balibyokera emyaka musanvu.
10
Tebalisennya nku mu ttale oba okuzitema mu kibira, kubanga ebyokulwanyisa bye balyokya ng'enku. Balinyagulula abo abaabanyagululanga, ne baaya abo abaabaayanga, Omukama Katonda y'agamba.
11
“ ‘Ku olwo Gogi ndimuwa ekifo eky'erinnya mu Yisirayeli w'aliziikibwa, kye Kiwonvu Obarimu mu buvanjuba bw'ennyanja, ekiyimiriza n'abatambuze; eyo gye baliziika Gogi n'ebbiina lye lyonna; ekiwonvu kyekiriva kiyitibwa Amoni-Gogi.
12
Ennyumba ya Yisirayeli erimala emyezi musanvu nga baziika balyoke batukuze ensi.
13
N'abantu bonna ab'ensi balibaziika; luliba lunaku lwa ttendo gye bali lwe ndigulumizibwako, Omukama Katonda y'agamba.
14
Waliteekebwawo abantu ab'olubeerera abaligenda nga bayitaayita wonna mu nsi nga baziika abo abaliba bakyasigadde ku ngulu, ensi bagitukuze. Oluvannyuma lw'emyezi omusanvu balitandika ogw'okunoonya.
15
Baliyitaayita wonna mu nsi; omu bw'aligwikirizanga eggumba ly'omuntu, ng'assaawo akabonero we liri okutuusa abaziisi nga baliziise mu Kiwonvu kya Amoni-Gogi.
16
Walibaawo n'ekibuga Amona, bwe batyo balitukuza ensi.
17
“ ‘Mwana w'omuntu, Omukama Katonda kino ky'agamba: Yita buli kinyonyi kya buli kika na buli kisolo kya ttale nti: “Mujje okuva wonna, mukuŋŋaanire awali ekitambiro kyange kye mbategekedde, ekitambiro ekinene ku nsozi za Yisirayeli, mulye ennyama, munywe n'omusaayi.
18
Munaalya ennyama y'abazira ne munywa n'omusaayi gw'abafuzi b'ensi nga bwe bandibadde endiga ennume, obuliga, embuzi ennume n'ente ennume, zonna ensolo ensava ez'omu Basani.
19
Ku kitambiro kye mbategekedde mujja kulya amasavu mwekkye, munywe n'omusaayi mutamiire.
20
Ate ku lujjuliro lwange mujja kulya mwekkye embalaasi, abeebagazi, abazira, na buli kika kya mutabaazi, Omukama Katonda y'agamba.”
21
“ ‘Ekitiibwa kyange nzija kukyolesa mu mawanga, n'amawanga gonna galiraba engeri gye mbonerezaamu n'omukono gwe mbagololeddeko.
22
Okuva ku olwo ne gye bulijja ennyumba ya Yisirayeli erimanya nti nze Mukama Katonda waabwe,
23
n'amawanga galimanya nti ennyumba ya Yisirayeli yagenda mu buwaŋŋanguse lwa bibi byabwe, tebaali beesigwa gye ndi; nange kwe kubakweka amaaso gange ne mbawaayo mu mikono gy'abalabe baabwe, bonna ne bafa ekitala.
24
Nabayisa bwe ntyo nga ngerera ku kwejaajaamya kwabwe ne ku misango gyabwe, ne mbakweka amaaso gange.
25
“ ‘Kale nno Omukama Katonda kino ky'agamba: Nzija kukomyawo abasibe ba Yakobo, nzija kusaasira ennyumba ya Yisirayeli, ndikwatirwanga obuggya erinnya lyange ettukuvu.
26
Balyerabira okuswala kwe baaswalamu n'obutali bwesigwa bwe bandaga bwe balimala okutuula entende mu nsi awatali n'omu abakanga.
27
Bwe ndimala okubaggyayo mu mawanga ne mbakuŋŋaanya wamu okuva mu nsi y'abalabe baabwe, mu bo ndiragiramu obutukuvu bwange mu maaso g'amawanga amangi.
28
Olwo balimanya nti nze Mukama Katonda waabwe, nti newandibadde nga nabawaŋŋangusiza mu mawanga, naye ndibakuŋŋaanyiza mu nsi yaaboobwe, era sirirekayo yadde omu ku bo.
29
Sigenda kuddayo kubakweka maaso gange, kubanga ndiyiwa Mwoyo wange ku nnyumba ya Yisirayeli, Omukama Katonda y'agamba.’ ”
← Chapter 38
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 40 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48