bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Ezekiel 40
Ezekiel 40
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 39
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 41 →
1
Mu mwaka ogw'abiri mu etaano ogw'okuwaŋŋangusibwa kwaffe, mu masooka g'omwaka, ku lw'ekkumi olw'omwezi, mu mwaka ogw'ekkumi n'ena bukya kibuga kizikirizibwa, mu lunaku luno lwennyini omukono gw'Omukama ne gunzijako, ne guntwala eyo.
2
Mu kulabikirwa Katonda, yantwala mu nsi ya Yisirayeli, n'anteeka ku lusozi oluwanvu ennyo okwali ekizimbe ng'eky'ekibuga ku ludda olw'emaserengeta.
3
Yantwala eyo, ne ndaba omusajja, endabika ye ng'eri ng'ey'ekikomo; yali ayimiridde mu mulyango, ng'alina mu mikono gye omuguwa omulange mu wuzi eza kitaani n'olumuli olupima mu mikono gye.
4
Omusajja n'aŋŋamba nti: “Mwana w'omuntu, tunuulira n'amaaso go, wulira n'amatu go, byonna bye ŋŋenda okukwoleka bisseeko omutima, ye nsonga ekuleesezza wano. Byonna by'onoolaba bibuulire ennyumba ya Yisirayeli.”
5
Laba, bbugwe ebweru nga yeebunguludde ekizimbe wonna; olumuli mu mukono gw'omusajja lwaliko emikono mukaaga obuwanvu, omukono nga gupima omukono gumu n'oluta. N'apima bbugwe; yali wa lumuli lumu obunene n'olumuli lumu obugulumivu.
6
N'agenda ku mulyango ogutunudde ebuvanjuba, n'ayambuka ku madaala gaagwo, n'apima omwango gwagwo; gwali gwa lumuli lumu obugazi.
7
Obuzigo bw'abakuumi bwali bwa lumuli lumu obuwanvu, n'olumuli lumu obugazi; ekisenge ekiyitamu wakati w'obuzigo bw'abakuumi kyali kya mikono etaano obunene, ate omwango gw'omulyango gw'ekisasi ekitunudde mu Kiggwa nga gwa lumuli lumu obunene.
8
N'apima ekisasi ky'omulyango, kyali kya mikono munaana obugazi.
9
Emyango gyakyo nga gya mikono ebiri obunene. Ekisasi ky'omulyango nga kitunudde mu Kiggwa.
10
Munda w'omulyango gw'ebuvanjuba waaliyo obuzigo busatu ku buli luuyi, bwonsatule nga bwa bipimo bye bimu, n'ebisenge ebiyiseemu ku njuyi zombi nga bya bunene bwe bumu.
11
N'apima obugazi bw'oluggi lw'omulyango, emikono kkumi, n'obuwanvu emikono kkumi n'esatu.
12
Mu maaso ga buli kazigo waaliwo ekisenge nga kya mukono gumu obuwanvu; obuzigo bwali bwa njuyi ezenkanankana, emikono mukaaga ku mukaaga.
13
N'apima omulyango okuva ku kasolya k'ekisenge ky'akamu ku buzigo okutuusa ku kasolya k'ekisenge ekikitunuddemu, obuwanvu emikono abiri mu etaano okuva ku mulyango ogumu okutuusa ku gugutunuddemu.
14
Yapima n'ebisenge ebiyitamu, emikono nkaaga, n'okwetooloola wonna w'ekisasi ky'omulyango gw'oluggya.
15
Okuva mu maaso g'omulyango okutuusa eri ekisasi kyagwo gye kiggweerako waaliwo emikono amakumi ataano.
16
Obuzigo n'ebisenge ebiyitamu munda w'omulyango kwaliko amadirisa amafunda okwetooloola wonna, era n'ekisasi kyali bwe kityo; amadirisa gaali gatunuulidde munda. Ebisenge ebiyitamu byali byoleddwako enkindu.
17
N'antwala mu luggya olw'ebweru, eyo ng'eriyo ebigango, ne wansi awo nga waaliriddwa amayinja okwetooloola wonna oluggya; ebigango byali amakumi asatu okwetooloola omwaliiro ogw'amayinja.
18
Omwaliiro ogw'amayinja gwagendanga gugoba emiryango era nga mugazi okwenkana obuwanvu bwagyo; guno gwe gwali omwaliiro gw'amayinja ogw'emmanga.
19
N'apima obuwanvu okuva munda mu mulyango ogw'emmanga okutuuka ku luggya olw'omunda we lukoma. Waaliwo emikono kikumi, ebuvanjuba n'emambuka nga kye kimu.
20
Awo n'apima obuwanvu n'obugazi bw'omulyango ogwali gutunudde emambuka ogutwala ebweru w'oluggya olw'omunda.
21
Obuzigo bwagwo, obusatu ku buli luuyi, empagi n'ekisasi byonna byali bya bipimo bye bimu n'omulyango ogusooka. Gwali gwa mikono amakumi ataano obuwanvu, ate n'obugazi emikono abiri mu etaano.
22
Amadirisa, ekisasi, n'enkindu ezooleddwako byalina ebipimo bye bimu n'eby'omulyango ogutunudde ebuvanjuba; amadaala musanvu nga ge gambukayo, ekisasi nga kitunudde munda.
23
Waaliyo omulyango ogw'oluggya olw'omunda olutunuulidde omulyango ogw'emambuka era nga bwe kyali n'ebuvanjuba; n'apima okuva ku mulyango ogumu okutuuka ku mulyango omulala, waaliwo emikono kikumi.
24
N'antwala ku ludda olw'emaserengeta, waaliyo omulyango ogutunudde emaserengeta. N'apima emyango gyagwo n'ekisasi kyagwo; byali bya bipimo bye bimu na giri.
25
Omulyango n'ekisasi byalina amadirisa okwetooloola wonna okufaanana amadirisa amalala gali. Gwali gwa mikono amakumi ataano obuwanvu, ate obugazi emikono abiri mu etaano.
26
Amadaala musanvu nga ge gambukayo, ekisasi kyali eno munda; ku mpagi ku buli luuyi nga kwoleddwako enkindu.
27
Oluggya olw'omunda kwaliko omulyango ogutunudde emaserengeta, n'apima okuva ku mulyango guno okutuuka ku mulyango ogw'oku luuyi olw'emaserengeta, waaliwo emikono kikumi.
28
N'annyingiza mu luggya olw'omunda ng'ampisa mu mulyango ogw'emaserengeta, n'apima omulyango ogw'emaserengeta. Gwalina ebipimo bye bimu na giri emirala.
29
Obuzigo bwagwo, empagi zaagwo n'ekisasi kyagwo, by'alina ebipimo bye bimu n'ebya biri. Omulyango n'ekisasi kyagwo by'alina amadirisa okwetooloola wonna. Byali bya mikono amakumi ataano obuwanvu n'obugazi emikono amakumi abiri mu etaano.
30
Waaliwo ebisasi okwetooloola wonna oluggya nga bya mikono abiri mu etaano obuwanvu n'obugazi emikono abiri mu etaano.
31
Ekisasi kyalwo kyali kitunudde mu luggya olw'ebweru; emyango gyakyo gyali gyoleddwako enkindu, amadaala munaana nga ge gambukayo.
32
Ate n'annyingiza mu luggya olw'omunda ku ludda olw'ebuvanjuba, n'apima omulyango; gwalina ebipimo bye bimu na giri emirala.
33
Obuzigo bwagwo, empagi zaagwo, n'ekisasi byalina ebipimo bye bimu ng'ebirala. Omuzigo n'ekisasi byalina amadirisa okwetooloola wonna. Gwali gwa mikono ataano obuwanvu n'emikono abiri mu etaano obugazi.
34
Ekisasi kyagwo nga kitunudde mu luggya olw'ebweru, enkindu nga zooleddwa ku myango gyagwo ku njuyi zombi, amadaala munaana nga ge gambukayo.
35
N'antwala ku mulyango ogutunudde emambuka n'agupima. Gwalina ebipimo bye bimu n'emirala.
36
Era n'obuzigo bwagwo, n'empagi zaagwo, n'ekisasi kyagwo. Gwalina amadirisa okwetooloola wonna. Gwali gwa mikono amakumi ataano obuwanvu, ate obugazi emikono amakumi abiri mu etaano.
37
Ekisasi kyagwo nga kitunudde mu luggya olw'ebweru; enkindu nga zooleddwa ku myango gyakwo ku njuyi zombi; amadaala munaana nga ge gambukayo.
38
Waaliwo ekigango ng'omuzigo gwakyo guli ku kisasi ky'omulyango, eyo ebitone by'ebitambiro ebyokye nga gye byolezebwa.
39
Mu kisasi ky'omulyango nga waliwo emmeeza bbiri ku njuyi zombi okwattirwanga ebitone eby'ekitambiro ekyokye, ekitambiro olw'ekibi n'ekitambiro olw'omusango.
40
Ku kisenge ky'ekisasi ky'omulyango, okumpi n'amadaala agambuka ku muzigo gw'omulyango ogw'emambuka, waaliyo emmeeza bbiri, ate ne ku luuyi olulala olw'ekisasi ng'eriyo era emmeeza bbiri.
41
Kwe kugamba nti waaliwo emmeeza nnya ku luuyi olumu olw'omulyango n'endala nnya ku luuyi olulala, ze mmeeza munaana okwattirwanga ebyonziira.
42
Waaliwo era emmeeza ennya ez'amayinja amabajje olw'ebitambiro ebyokye, buli emu nga ya mukono gumu n'ekitundu obuwanvu, obugazi omukono gumu n'ekitundu n'obusimba omukono gumu; okwo kwe baatekanga eby'okukola ku bitone by'ebitambiro ebyokye n'ebyonziira.
43
N'amalobo, nga ga luta lumu obuwanvu, gaali gakomereddwa wonna okwetooloola wonna. Emmeeza zaali za nnyama y'ebitambiro.
44
Ate ebweru w'omulyango ogw'omunda, mu luggya olw'omunda, ng'eriyo ebigango bibiri: ekimu kyalinga ku luuyi lw'omulyango ogutunudde emambuka nga kitunudde emaserengeta, ekirala nga kiri ku luuyi olw'omulyango nga kitunudde emambuka.
45
N'aŋŋamba nti: “Ekigango ekitunudde emaserengeta kya bakabona abalabirira Ekiggwa.
46
Ate ekigango ekitunudde emambuka kya bakabona abalabirira omwaliiro, be bo bazzukulu ba Zadoki, bazzukulu ba Leevi bokka abasobola okusemberera Omukama okumuweereza.”
47
N'apima oluggya, lwali lwa njuyi ezenkanankana, obuwanvu emikono kikumi n'obugazi emikono kikumi; omwaliiro gwo gwabeeranga mu maaso ga Kiggwa.
48
Yandeeta ku Kisasi ky'Ekiggwa n'apima emyango gy'Ekisasi; gyali gya mikono etaano obugazi ku buli luuyi; ate obugazi bw'omulyango bwali emikono kkumi n'ena, ate ebisenge ebiyitamu nga bya mikono esatu obugazi erudda n'erudda.
49
Ekisasi kyali kya mikono amakumi abiri obuwanvu, ate obugazi emikono kkumi n'ebiri; amadaala kkumi nga ge gambukayo; ku buli ludda lw'omwango nga waliyo empagi.
← Chapter 39
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 41 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48