bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Ezekiel 41
Ezekiel 41
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 40
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 42 →
1
Awo omusajja n'andeeta ku Ddiiro n'apima emyango; obugazi bw'emyango buli gumu ku njuyi zombi nga bwa mikono mukaaga.
2
Omuzigo gw'omulyango gwali gwa mikono kkumi obugazi, ate ekisenge ekiyitamu ku buli luuyi lwagwo kyali kya mikono etaano obugazi buli kisenge. Yapima Eddiiro, lyali lya mikono amakumi ana obuwanvu, ate obugazi emikono amakumi abiri.
3
N'ayingira mu Kisenge eky'Omunda n'apima emyango gy'omulyango ku njuyi zombi, buli gumu gwali gwa mikono ebiri obugazi. Omulyango gwennyini gwali gwa mikono mukaaga obugazi, ate ekisenge ekiyitamu ku buli luuyi nga kya mikono musanvu obugazi.
4
N'apima obuwanvu bwakyo, kyali kya mikono amakumi abiri obugazi n'emikono amakumi abiri eri gye kisembera ku Ddiiro. N'aŋŋamba nti: “Wano we Watukuvu Ennyo.”
5
N'apima ekisenge ky'Ekiggwa, kyali kya mikono mukaaga obunene, n'obusenge obw'oku mabbali okwetooloola wonna Ekiggwa bwali bwa mikono ena obugazi.
6
Obusenge obw'oku mabbali bwali bwa myaliiro esatu, akamu waggulu wa kanne waako, nga buli mwaliiro gulinako obusenge amakumi asatu okwetooloola wonna. Ku kisenge ky'Ekiggwa okwetooloola kwaliko enzizi eziwaniridde obusenge obw'oku mabbali; naye ng'enzizi ezo tezisonsekeddwa munda mu kisenge kya Kiggwa.
7
Obugazi bw'obusenge obw'oku mabbali bwagendanga bweyongera obugazi ku buli mwaliiro okusinziira ku nzizi nga bwezaagendanga zigaziwa ku buli mwaliiro okwetooloola wonna Ekiggwa. Amadaala gaayambukanga okuva ku mwaliiro ogwa wansi okutuuka ku mwaliiro ogwa waggulu nga gayitira mu mwaliiro ogwa wakati.
8
Ne ndaba ng'Ekiggwa kyalina ebbalaza enzimbe okwetooloola wonna era ng'ekola ng'omusingi gw'obusenge. Yali ya lumuli lumu obugulumivu, gye mikono mukaaga.
9
Ekisenge eky'ebweru eky'obusenge bw'oku mabbali kyali kya mikono etaano obunene. Waaliwo ekkuubo wakati w'obusenge obw'oku mabbali
10
n'ebigango; kyali kya mikono amakumi abiri obugazi okwetooloola wonna Ekiggwa.
11
Obusenge obw'oku mabbali bwalina emiryango awayingirirwa okuva mu kkuubo, ogumu emambuka n'omulala emaserengeta. Olubalaza olwali lugatta ku kkuubo nga lwa mikono etaano obugazi okwetooloola wonna.
12
Ekizimbe ekyali kitunudde mu luggya ku luuyi olw'ebugwanjuba kyali kya mikono nsanvu obugazi; ekisenge ky'ekizimbe ng'obugazi kya mikono etaano okwetooloola wonna, obuwanvu bwakyo, emikono kyenda.
13
Ate n'apima Ekiggwa; kyali kya mikono kikumi obuwanvu. Oluggya n'ekizimbe n'ebisenge byakyo nga bya mikono kikumi obuwanvu.
14
Obugazi mu maaso g'Ekiggwa n'oluggya lu ludda olw'ebuvanjuba bwali bwa mikono kikumi.
15
N'apima obuwanvu bw'ekizimbe ekitunudde mu luggya olw'emmanju, n'ebbalaza yaakyo ku njuyi zombi, byali bya mikono kikumi. Eddiiro, Ekisenge eky'Omunda n'Ekisasi ekitunudde mu luggya,
16
emiryango, amadirisa amafunda, ebbalaza zonsatule okwetooloola wonna, na buli kintu obusukka mulyango n'omulyango gwennyini nga bibembekeddwako embaawo okuva ku ttaka okutuuka ku madirisa, n'amadirisa gaali mabikke.
17
Waggulu ebweru w'omulyango oguyingira mu Kisenge eky'Omunda ne ku kisenge wano na wali okwetooloola wonna mu Ekisenge eky'Omunda n'Eddiiro
18
kwaliko ebifaananyi ebyole eby'abakerubi n'eby'enkindu, nga bitobekeddwa wano olukindu wali omukerubi. Buli mukerubi yalina ebyenyi bibiri:
19
ekyenyi ng'eky'omuntu nga kitunuulidde olukindu ku luuyi luno, n'ekyenyi ng'eky'empologoma nga kitunuulidde olukindu ku luuyi olulala; nga byoleddwa ku Kiggwa okwetooloola wonna.
20
Okuva ku ttaka okutuuka ku bitundu waggulu w'omulyango nga kwoleddwako abakerubi n'enkindu ku kisenge ky'Eddiiro.
21
Emyango gy'enzigi z'Eddiiro gyali gya njuyi nnya ezenkanankana. Mu maaso g'Awatukuvu Ennyo nga waliwo ekifaanana
22
omwaliiro ogw'embaawo, obugulumivu emikono esatu ate obwagaagavu emikono ebiri; ensonda zaayo, entobo yaayo n'embiriizi nga bya mbaawo. N'aŋŋamba nti: “Eno ye mmeeza ebeera mu maaso g'Omukama.”
23
Eddiiro n'Awatukuvu Ennyo byaliko enzigi za nabansasaana.
24
Buli luggi nga lwa nabansasaana, ebiwero bibiri ebiyungiddwa ne ppata ku buli luggi.
25
Ku nzigi z'Eddiiro kwali kwoleddwako bakerubi n'enkindu, ng'era bwe byali byoleddwa ne ku bisenge. Mu maaso g'Ekisasi kwaliko akasasi ak'embaawo.
26
Ku mabbali ekisenge ky'Ekisasi kwaliko amadirisa amafunda nga kwoleddwako ebifaananyi by'enkindu ku buli luuyi. Obusenge obw'oku mabbali ku Kiggwa nabwo bwaliko obusasi.
← Chapter 40
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 42 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48